bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Ezekiel 32
Ezekiel 32
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 31
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 33 →
1
Mu mwaka ogw'ekkumi n'ebiri ku lusooka mu mwezi ogw'ekkumi n'ebiri, ekigambo ky'Omukama ne kinzijira nti:
2
“Mwana w'omuntu, yimba oluyimba olukungubagira Faraawo kabaka w'e Misiri, omugambe nti: “ ‘Oli ng'empologoma mu mawanga; oli ssessota mu nnyanja, ng'ofubutukayo mu migga, ng'osambattula amazzi n'ebigere byo, emigga n'ogisiikuula.
3
“ ‘Omukama kino ky'agamba: “ ‘Nzija kukusuulako ekitimba kyange, nga ndi n'ebbiina ly'abantu; balikusika ne bakuleeta mu kiragala kyange.
4
Ndikukuba ettale ne nkusuula mu kyererezi ku lukalu; ndikusuzaako ebinyonyi eby'omu bbanga, n'ebisolo byonna eby'ensi ku ggwe kwe ndibikkusiza.
5
Ennyama yo nzija kugisuulasuula ku nsozi, ebiwonvu ndibijjuza n'ebisigala byo.
6
Ensi nzija kugijonjobaza n'omusaayi gwo ogutiiriika, okutuukira ddala ku nsozi, n'enkonko zirikujjula.
7
Bwe ndikuzikiza, eggulu ŋŋenda kulibikka, n'emmunyeenye zaakwo ndiziddugaza; enjuba ndigibikka ekire n'omwezi teguliwa kitangaala kyagwo.
8
Byonna ebyaka eby'eggulu ndibiddugaza waggulu ku ggwe, ku nsi yo ndireetako enzikiza, Omukama Katonda y'agamba.
9
“ ‘Ndinyiigombya emitima gy'abantu bangi, bwe ndituusa okuzikirizibwa kwo mu mawanga, mu nsi z'otomanyi.
10
Ndireetera abantu bangi okuwuniikirira ku ggwe, ne bakabaka baabwe ne beekanga; balikankana ne batya olw'ekikutuuseeko, bwe ndigalula ekitala kyange mu maaso gaabwe; ku olwo lw'olizikirira, buli omu alijugumira buli kaseera ng'atiiririra obulamu bwe.
11
Kubanga Omukama Katonda kino ky'agamba: Ekitala kya kabaka w'e Babiloni kirikujjira.
12
Ebbiina lyo lyonna nzija kulimalawo n'ebitala by'abatabaazi ab'amaanyi, abo abasinga obukambwe mu mawanga gonna. “ ‘Balimenya amampaati ga Misiri, ne nnasiisi w'abantu be bonna alisaanyizibwawo.
13
Ndizikiriza amagana ge gonna okuva ku mazzi amangi; ekigere ky'omuntu tekiriddayo kugasiikuula, yadde ekiganja ky'ensolo okugasambattula.
14
Olwo amazzi gaabwe ndigateesa, emigga gyabwe ne gikulukuta ng'omuzigo, Omukama Katonda y'agamba.
15
Ensi y'e Misiri bwe ndimala okugifuula eddungu, ebirimu byonna nga bimaliddwamu, bwe ndikuba bonna abasulamu, olwo balimanya nti nze Mukama.’
16
“Olwo lwe luyimba lw'okukungubaga lwe balimuyimbira; bawala b'amawanga balimukungubagira; balikungubagira Misiri n'ebbiina lye lyonna, Omukama Katonda y'agamba.”
17
Ate mu mwaka ogw'ekkumi n'ebiri, ku lw'ekkumi n'ettaano olw'omwezi, ekigambo ky'Omukama ne kinzijira nti:
18
“Mwana w'omuntu, kungubagira ebbiina lya Misiri, ye ne bawala b'amawanga ag'amaanyi, obakkirize eyo mu nnyanga y'ensi wamu n'abo abakkirira mu bunnya.
19
“Gamba nti: ‘Ani gw'okira mu bulungi? Serengeta ogalamire n'abo abatali batayirire.’
20
Baligwa wakati mu battiddwa n'ekitala; ekitala kisowoddwa, awalwewalwe n'ebbiina lye lyonna.
21
Abafuzi ab'amaanyi, banywanyi be, baliyima emagombe ne bamugamba nti: ‘Bakkiridde, bagalamidde, abatali batayirire, abattibwa n'ekitala!’
22
“Assuri ali eyo ne nnasiisi yenna ow'abantu be, yeebunguluddwa amalaalo gaabwe. Bonna bano battibwa, baafa ekitala.
23
Entaana zaabwe ziri ku ntobo y'obunnya, eggye lye lyonna lyebunguludde amalaalo ge; abo abaabunya entiisa wonna mu nsi y'abalamu battibwa, baafa ekitala.
24
“Elamu ali eyo n'ebbiina lye lyonna, beebunguludde amalaalo ge; bonna bano battibwa, baafa kitala. Bonna abaabunya entiisa wonna mu nsi y'abalamu. Bakkirira si batayirire wansi mu ttaka, abo abaabunya entiisa wonna mu nsi y'abalamu. Basonyiwadde wamu n'abo abakkirira mu bunnya.
25
Ekitanda kimutegekeddwa wakati mu battibwa, n'ebbiina lye lyonna nga beebunguludde amalaalo ge, bonna si batayirire, battibwa n'ekitala, kubanga baabunya entiisa wonna mu nsi y'abalamu, kati basonyiwadde wamu n'abo abakkirira mu bunnya; bateereddwa wakati mu battibwa.
26
“Meseke ne Tubali bali eyo n'ebbiina lye lyonna beebunguludde amalaalo gaabwe; bonna si batayirire, battibwa n'ekitala kubanga baabunya entiisa wonna mu nsi y'abalamu.
27
Tebagalamidde n'abatabaazi ab'edda, abakkirira emagombe n'ebyokulwanyisa byabwe, ebitala byabwe ebyassibwa wansi w'emitwe gyabwe n'engabo zaabwe ezassibwa ku bisigala byabwe, kubanga abatabaazi bano baabunya wonna entiisa mu nsi y'abalamu.
28
Naawe nno olimenyebwamu wamu n'abatali batayirire, n'ogalamira wamu n'abattibwa n'ekitala.
29
“Ne Edomu ali eyo wamu ne bakabaka n'abalangira be bonna; si ka maanyi gaabwe, beebase mu abo abattibwa n'ekitala, era abagalamidde n'abatali batayirire, era wamu n'abo abaaserengeta mu bunnya.
30
“Abakungu ab'emambuka bonna na bonna Abasidoni bali eyo; bakkirira mu nsonyi, ne battibwa olw'entiisa gye baleeta olw'amaanyi gaabwe. Bagalamidde eyo nga si batayirire wamu n'abattibwa n'ekitala, era basonyiwadde wamu n'abo abaaserengeta mu bunnya.
31
“Faraawo alibalaba ne yeekubagiza olw'ebbiina lye lyonna – Faraawo n'eggye lye lyonna, Omukama Katonda y'agamba.
32
Kubanga yabunya entiisa mu nsi yonna ey'abalamu, aligalamizibwa mu abo abatali batayirire, wamu n'abo abattibwa n'ekitala – Faraawo n'ebbiina lye lyonna, Omukama Katonda y'agamba.”
← Chapter 31
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 33 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48