bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Exodus 1
Exodus 1
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 2 →
1
Gano ge mannya ga batabani ba Yisirayeli abaagenda ne Yakobo mu Misiri, buli omu n'amaka ge.
2
Rubeni, Simewoni, Leevi ne Yuda,
3
Yissakari, Zebuluni ne Benyamiini,
4
Daani ne Nafutali, Gaadi ne Aseeri.
5
Ezzadde lya Yakobo lyonna awamu nga bawera abantu nsanvu. Ye Yozefu yali yabeera dda mu Misiri.
6
Olwatuuka, Yozefu n'afa ne baganda be, n'ezzadde eryo lyonna.
7
Naye Abayisirayeli baazaala ne babuna wonna ne baala ne bafuuka ba maanyi nnyo nnyo, ne bajjuza ensi.
8
Awo mu Misiri ne musitukamu kabaka omuggya ataamanya kantu ku Yozefu.
9
N'agamba abantu be nti: “Mulabe, Abayisirayeli bafuuse bangi ate ab'amaanyi okutusinga.
10
Abange, mugire tubakwate na bwegendereza sikulwa nga beeyongera obungi; olutalo nga lubadde lubaluseewo, ne beegatta ku balabe baffe, ne batulwanyisa ne bava mu nsi.”
11
Awo ne babassaako bannampala b'akasanvu babamenye n'emirimu gyabwe egy'okwetikka emigugu. Bwe batyo ne bazimbira Faraawo ebibuga by'amawanika e Pitomu n'e Raamesesi.
12
Kyokka gye baakomya okutulugunyizibwa, gye baakomya n'okwala, n'okubuna. Abamisiri ne batya Abayisirayeli.
13
Abamisiri ne bakozesa Abayisirayeli n'obukambwe.
14
Ne babaleetera ennyiike n'amalimo amakalubo ag'okusamba obudongo n'okubumba amataffaali n'emirimu egya buli kika egy'omu nnimiro n'emirala gyonna emikakali gye baabakozesangamu n'obukambwe.
15
Kabaka w'e Misiri n'agamba abazaalisa Abeebureeyi, omu ng'ayitibwa Sifura, n'omulala Puwa,
16
n'abalagira nti: “Bwe mubanga muzaalisa abakazi Abeebureeyi, nga bali mu zzaaliro, omwana bw'abeeranga omulenzi mumuttanga, bw'abeeranga omuwala, mumulekanga.”
17
Kyokka abazaalisa abo baali batya Katonda, tebaagondera kiragiro kya kabaka w'e Misiri; abaana ab'obulenzi ne babalekanga ne babeerawo.
18
Kabaka w'e Misiri n'atumya abazaalisa, n'ababuuza nti: “Lwaki mukoze ekintu kino, ne muleka abaana ab'obulenzi ne babeerawo?”
19
Abazaalisa ne baddamu Faraawo nti: “Abakazi Abeebureeyi tebali nga bakazi Bamisiri, ba maanyi; abazaalisa baba tebannabatuukako nga baazadde dda.”
20
Katonda n'aba wa kisa ku bazaalisa. Abantu ne bagenda nga baala ne bafuuka ba maanyi nnyo.
21
Kubanga abazaalisa baawa Katonda ekitiibwa, naye n'abawa amaka.
22
Awo Faraawo n'awa abantu be bonna ekiragiro kino nti: “Buli mwana ow'obulenzi anaazaalibwanga Abeebureeyi, mumusuulanga mu Kiyira, naye omuwala mumulekanga n'abeerawo.”
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40