bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Exodus 10
Exodus 10
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 11 →
1
Omukama n'agamba Musa nti: “Yingira eri Faraawo, kubanga ngugubizza omutima gwe, n'egy'abakungu be, ndyoke mbakoleremu obubonero bwange buno,
2
era olyoke onyumize abaana bo n'abazzukulu engeri gye najoogamu Abamisiri n'obubonero bwe nabakoleramu, nammwe mumanye nti nze Mukama.”
3
Musa ne Aroni ne bayingira eri Faraawo ne bamugamba nti: “Omukama Katonda w'Abeebureeyi agambye nti: ‘Onootuusa wa okugaana okuŋŋondera? Leka abantu bange bagende bansinze.
4
Bw'ogaana abantu bange okugenda, enkya nzija kusindika enzige mu nsi yo.
5
Zijja kubuutikira ettaka, ziwemberere kungulu nga n'ettaka terikyalabika. Zijja kulya ebyammwe ebyawona omuzira, era zijja kulya emiti gyammwe gyonna egikula mu nnimiro.
6
Zinajjuza embiri zo n'ennyumba z'abakungu bo n'ez'Abamisiri zonna. Bakitaawo ne bajjajjaabo tebalabanga ku kino bukya basenga mu nsi n'okutuusa ku lunaku lwa leero.’ ” Awo Musa n'akyuka n'ava mu maaso ga Faraawo.
7
Abakungu ba Faraawo ne bamugamba nti: “Omusajja ono anaatuusa wa okututega? Leka abantu bagende basinze Omukama Katonda waabwe. Na kati tonnamanya nti Misiri ezikiridde?”
8
Musa ne Aroni ne bazzibwayo ewa Faraawo, n'abagamba nti: “Mugende musinze Omukama Katonda wammwe. Naye be baani abo abanaagenda?”
9
Musa n'addamu nti: “Tujja kutwala abavubuka baffe n'abasajja baffe abakulu; tujja kutwala batabani baffe ne bawala baffe, endiga zaffe n'ente zaffe, kubanga ku ffe mbaga nkulu olw'Omukama.”
10
Faraawo n'ayanukula nti: “Omukama abeere nammwe singa mulabanga mbalese okugenda, mmwe n'abato bammwe. Mulabe eno, muliko ekibi kye mugenderera.
11
Nedda. Abasajja mwekka mmwe muba mugenda mutambirire Omukama, anti ekyo kye musaba.” Amangu ago ne babagoba mu maaso ga Faraawo.
12
Awo Omukama n'agamba Musa nti: “Gololera omukono gwo ku nsi y'e Misiri enzige zizinde ensi y'e Misiri, zirye omuddo, n'ebyo byonna omuzira bye gwaleka.”
13
Musa n'agololera omukono gwe ku nsi y'e Misiri, Omukama n'akunsa ku nsi empewo ey'ebuvanjuba, n'ekunta olunaku olwo lwonna n'ekiro. Enkeera, empewo y'ebuvanjuba n'ereeta enzige.
14
Enzige ne zizinda ensi yonna ey'e Misiri, ne zigwa nnyingi nnyo mu buli kitundu kyonna ekya Misiri; eziri ng'ezo zaali tezirabikangako ng'ate era si za kuddamu.
15
Zaabikka ettaka kungulu kwonna ne kuddugala, ne zirya byonna, omuddo gwonna ku nsi n'ebibala byonna eby'emiti omuzira bye gwali gutalizza. Tewaali kya kiragala kyasigala ku muti oba ekimera wonna mu nnimiro mu nsi y'e Misiri.
16
Faraawo n'atumya mangu Musa ne Aroni, n'agamba nti: “Nnyonoonye eri Omukama Katonda wammwe ne gye muli.
17
Mbeegayiridde, munsonyiwe ekibi kyange ne ku mulundi guno, ate musabe Omukama Katonda wammwe anzigyeko ekibonerezo kino nnamuzisa.”
18
Musa n'ava mu maaso ga Faraawo ne yeegayirira Omukama.
19
Omukama n'akyusa empewo, n'ekunta nnyo n'amaanyi ng'eva ebugwanjuba, n'esisinkana enzige, n'eziraza mu Nnyanja ey'Ebiwuuwa. Tewaali nzige n'emu yasigala mu bitundu byonna eby'e Misiri.
20
Era Omukama n'akakanyaza omutima gwa Faraawo, n'ataleka Bayisirayeli kugenda.
21
Omukama n'agamba Musa nti: “Gololera omukono gwo ku ggulu, enzikiza ebikke ensi y'e Misiri, enzikiza ekutte.”
22
Musa n'agololera ku ggulu omukono gwe, mu nsi y'e Misiri yonna ne wabaawo enzikiza enkwafu okumala ennaku ssatu.
23
Tewaali n'omu asobola kulaba munne, wadde okusegukako, okumala ennaku ssatu. Naye bo Abayisirayeli yonna gye baali ng'ekitangaala balina.
24
Faraawo n'atumya Musa, n'agamba nti: “Mugende musinze Omukama, byokka ebisibo byammwe n'amagana bye binaalekwa emabega. Abaana bammwe bayinza okugenda nammwe.”
25
Musa n'addamu nti: “Anti ojja kutuwa ebyonziira n'ebitambiro ebyokye bye tunaaweereza eri Omukama Katonda waffe.
26
N'amagana gaffe tujja kugenda nago, wadde ekinuulo ekimu kiti tekijja kulekwa mabega. Anti mu byo mwe tuggya eby'okuweereza Omukama Katonda waffe. Nga tetunnatuuka mu kifo, naffe ffennyini tetumanyi ngeri gye tunaaweerezamu Mukama.”
27
Era Omukama n'akakanyaza omutima gwa Faraawo, n'atayagala kubaleka kugenda.
28
Faraawo n'agamba Musa nti “Genda! Nva mu maaso! Weegendereze, tokomangawo kuntunula mu maaso, kubanga olunaku lw'olidda n'ontunula mu maaso, oli wa kufa.”
29
Musa n'addamu nti: “Kye kiikyo. Nange siriddamu kukutunula mu maaso nate.”
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 11 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40