bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Exodus 35
Exodus 35
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 34
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 36 →
1
Awo Musa n'akuŋŋaanya ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli n'abagamba nti: “Bino bye bintu Omukama bye yalagira okukola.
2
Okukola kwa kubangawo ennaku mukaaga, naye olwomusanvu lwa kubeeranga lutukuvu gye muli, Sabbaato ey'okuwummula okussaamu Mukama ekitiibwa. Buli akolanga omulimu ku olwo wa kuttibwa.
3
Temukumanga omuliro ku lunaku lwa Sabbaato mu maka gammwe.”
4
Musa n'ayogera n'ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli, n'agamba nti: “Kino Omukama ky'alagidde nti:
5
Ku byammwe muggyeeko ekitone ky'Omukama. Buli ayagadde okuwa aleete ekitone ky'Omukama: zaabu, ffeeza n'ekikomo;
6
ewuzi eza bbululu, eza kakobe n'entwakaavu, ate n'olugoye olwa bafuta olulange era n'ebyoya by'embuzi,
7
amaliba g'endiga ennume amannyike amamyufu, amaliba amakunye n'emiti egy'obusaana,
8
omuzigo ogw'omu ttawaaza, n'ebyakaloosa ebissibwa mu muzigo ogusiigibwa n'obubaani obw'akawoowo;
9
amayinja oniki n'amayinja ag'okussa ku efodi ne ku kipaapi eky'oku kifuba.
10
Abafundi bonna abasingira ddala obukugu mu mmwe bajje bakole byonna Omukama by'alagidde:
11
Ekisulo, Weema yaakyo n'ekibikkako, ebikwaso byayo n'embaawo zaayo, emikiikiro gyayo n'empagi zaayo n'entobo zaayo,
12
Essanduuku n'emisituliro gyayo, Entebe y'Obusaasizi n'olutimbe olusiikiriza;
13
emmeeza n'emisituliro gyayo na byonna ebigikozesebwamu, n'Emigaati gy'Okwolesebwa;
14
ekikondo ky'ettawaaza n'ebikikozesebwako, ettawaaza zaakyo n'omuzigo ogw'ettawaaza;
15
omwaliiro ogw'obubaani n'emisituliro gyagwo, omuzigo ogusiiga, obubaani obw'akawoowo, n'olutimbe olw'oku mulyango gw'Ekisulo;
16
n'omwaliiro gw'ekitambiro ekyokye n'ekitindiro kyagwo eky'ekikomo, emisituliro gyagwo, ne byonna ebigukozesebwako; ekinaabirwamu n'ekikondo kyakyo;
17
entimbe z'oluggya; empagi zaalwo, entobo zaabyo, n'olutimbe olwa wankaaki w'oluggya,
18
enkondo z'Ekisulo n'ez'oluggya, wamu n'emiguwa gyazo;
19
ebyambalo ebiruke eby'okuweereza mu Kitukuvu: ebyambalo ebitukuvu ebya Aroni kabona, n'ebyambalo bya batabani be nga bakola obwakabona.”
20
Ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli ne kiva mu maaso ga Musa.
21
Buli yenna omutima gwe gwasindika n'omwoyo gwe gwasindika okuwa n'ajja n'aleeta ekitone ky'Omukama kikole Weema ey'Ensisinkano n'emirimu gyayo gyonna, n'ebyambalo ebitukuvu.
22
Bonna mu mutima abeeyagalidde bajja: abasajja n'abakazi, nga baleeta ebikwaso, empeta, amagemu, ebibira, eby'omuwendo ebya zaabu ebya buli ngeri, buli omu n'atonera Omukama zaabu ng'ekitone eky'okuwuuba.
23
Bonna abaalina ewuzi eza bbululu, eza kakobe n'entwakaavu n'olugoye olwa bafuta, ebyoya by'embuzi, amaliba g'endiga ennume amannyike amamyufu, amaliba amakunye, ne babireeta.
24
Bonna abaali ab'okuwa ekitone ekya ffeeza n'ekikomo ne baleeta ekitone ky'Omukama. N'abo bonna abaali balina emiti egy'akasaana olwa buli mulimu ne bagireeta.
25
Abakazi bonna abakugu ne balanga n'emikono gyabwe, ne baleeta bye baali balanze: ewuzi eza bbululu, kakobe n'entwakaavu n'olugoye olwa bafuta.
26
Abakazi bonna, emitima gyabwe be gyasindika, ne balanga n'obukugu ebyoya by'embuzi.
27
Abakulembeze ne baleeta amayinja oniki n'amayinja ag'okuteeka ku efodi ne ku kipaapi eky'oku kifuba,
28
n'ebyakaloosa n'omuzigo ogw'omu ttawaaza, n'ogw'okukola omuzigo ogw'okusiiga n'ogw'okukola obubaani obw'akawoowo.
29
Abasajja bonna n'abakazi Abayisirayeli omutima gwabwe be gwasindika okugabira omulimu gwonna Omukama gwe yali alagidde okukolebwa ng'ayita mu Musa, ne baleetera Omukama ekitone kyabwe ekyeyagalire.
30
Musa n'agamba Abayisirayeli nti: “Omukama alonze Bezaleli, mutabani wa Wuri, mutabani wa Kuru, ow'ekika kya Yuda,
31
amujjuzza omwoyo gwa Katonda, n'amuwa amagezi, okutegeera n'okumanya buli bufundi,
32
amagezi ag'okutetenkanya ebifaananyi, okukola ne zaabu ne ffeeza n'ekikomo,
33
mu kubajja amayinja ag'okugategeka, okutereeza emiti n'okugyola, ne mu kukola buli mulimu gwonna ogw'obufundi.
34
Ate ye ne Oliyabu mutabani wa Akisamaki ow'ekika kya Daani, abawadde ekirabo eky'okuyigiriza.
35
Abajjuzza obukugu okutuukiriza emirimu gyonna egy'obufundi, ng'abalusi n'abadaliza mu wuzi eza bbululu, kakobe n'entwakaavu n'olugoye olwa bafuta, era ng'abalanzi, abakola buli mulimu gwonna, era ng'abalusi.
← Chapter 34
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 36 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40