bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Exodus 17
Exodus 17
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 16
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 18 →
1
Ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli ne kisitula okuva mu ddungu ly'e Sini, nga batambula ng'Omukama bwe yabalagiranga; ne basiisira e Refidimu kyokka awataali mazzi ga bantu kunywa.
2
Ne bayombesa Musa, ne bagamba nti: “Tuwe amazzi tunywe.” Musa n'abaddamu nti: “Lwaki munnyombesa? Lwaki mugeza Omukama?”
3
Abantu nga babonaaboneddeyo ennyonta, ne beemulugunyiza Musa, ne bagamba nti: “Lwaki watuggya e Misiri, okutussiza kuno ennyonta ffe n'abaana baffe n'amagana gaffe?”
4
Musa n'awanjagira Omukama, n'agamba nti: “Abantu bano nnaabakolera ki? Mu bbanga ttono bajja kunkuba amayinja.”
5
Omukama n'agamba Musa nti: “Ddira abamu ku bakulu ba Yisirayeli, ogende mu maaso g'abantu; kwata mu mukono gwo omuggo gwe wakubisa Kiyira, ogende.
6
Nzija kuyimirira awo mu maaso go ku lwazi lw'e Korebu. Ojja kukuba olwazi, lujja kuvaamu amazzi, banywe.” Musa bwe yakola n'abakulu b'Abayisirayeli nga weebali.
7
Ekifo n'akituuma Massa ne Meriba olw'okuyomba kw'Abayisirayeli n'olw'okugeza Omukama nga bagamba nti: “Omukama ali naffe, oba nedda?”
8
Abaamaleki ne bajja ne balumba Yisirayeli e Refidimu.
9
Musa n'agamba Yoswa nti: “Weerondere abasajja; enkya ku makya, genda mukwatagane ne Amaleki. Mu budde obwo, nze nzija kuyimirira ku ntikko y'akasozi, n'omuggo gwa Katonda mu mukono gwange.”
10
Yoswa n'akola nga Musa bwe yamugamba n'agenda okukwatagana ne Amaleki; Musa ne Aroni ne Kuru bo ne balinnya ku ntikko y'akasozi.
11
Musa bwe yawanikanga emikono, Yisirayeli ng'agoba; bwe yagissanga, olwo Amaleki nga y'agoba.
12
Emikono gya Musa bwe gyatendewererwa ne baddira ejjinja, ne balissa wansi, n'alituulako. Aroni ne Kuru ne bawanirira emikono gye, omu ku luuyi olumu, omulala ku ludda olulala; emikono gye ne ginywera okutuusa enjuba okugwa.
13
Yoswa n'agoba Amaleki n'eggye lye n'obwogi bw'ekitala.
14
Omukama n'agamba Musa nti: “Kino kiwandiike mu kitabo ng'ekijjukizo, ne Yoswa kimusse mu kutu nti: ‘Nzija kusangulirawo ddala wansi w'eggulu Abaamaleki kwe bandijjuukiriddwa.’ ”
15
Olwo Musa kwe kuzimba omwaliiro n'agutuuma Yawe Nissi.
16
Kubanga yagamba nti: “Kwata bendera y'Omukama. Omukama wa kulwanyisa Amaleki mu mazadde n'amazadde.”
← Chapter 16
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 18 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40