bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Exodus 25
Exodus 25
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 24
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 26 →
1
Omukama n'agamba Musa nti:
2
“Gamba Abayisirayeli bandeetere ekitone; ononfunira ekitone kino ku buli muntu omutima nga bwe gumusindika okukiwa.
3
Kino kye kitone ky'onoobaggyako: zaabu ne ffeeza, ekikomo,
4
engoye eza bbululu, eza kakobe n'entwakaavu n'engoye eza bafuta, ebyoya by'embuzi,
5
amaliba g'endiga ennume amannyike amamyufu; amaliba amakunye n'emiti egy'obusaana;
6
omuzigo ogw'omu ttawaaza, ebyakaloosa ebissibwa mu muzigo ogusiigibwa, n'obubaani obw'akawoowo;
7
n'amayinja oniki ag'okussa ku efodi ne ku kipaapi eky'oku kifuba.
8
Bananzimbira ekifo ekitukuvu, nsule mu bo wakati.
9
Nzija kukulaga ekifaananyi ky'Ekisulo n'ekifaananyi ky'ebintu byamu byonna ebinaakozesebwangamu; bikole nga bwe nnaaba mbikulaze.
10
“Bankolere essanduuku mu muti ogw'akasaana: emikono ebiri n'ekitundu obuwanvu, omukono gumu obugazi, omukono gumu n'ekitundu obusimba.
11
Ogisiiganga zaabu omwereere munda ne kungulu. Waggulu w'ekoma ossangawo omuge ogwa zaabu okugyetoolooza.
12
Okolerangako empeta nnya ensaanuuse eza zaabu z'olissa ku nsonda ennya ez'essanduuku w'ewanirirwa, ku luuyi olumu ebeereyo empeta bbiri ne ku luuyi olulala bbiri.
13
Olikola n'emisituliro egy'embaawo ez'akasaana n'ogibikkako zaabu.
14
Ogiyisanga mu mpeta eziri mu nsonda z'essanduuku okusitula Essanduuku.
15
Emisituliro gya kusigalanga mu mpeta za ssanduuku omwo, si gya kuggyangamu.
16
Mu ssanduuku oteekangamu Endagaano gye ndikuwa.
17
“Ojja kukola n'Entebe y'Obusaasizi, nga ya zaabu omwereere, emikono ebiri n'ekitundu obuwanvu ate omukono gumu n'ekitundu obugazi.
18
Ku njuyi zombi ez'Entebe y'Obusaasizi okolerangayo bakerubi babiri aba zaabu omukubeekube.
19
Kerubi omu abeere ku nkomerero y'oluuyi olumu n'omulala ku nkomerero y'oluuyi olulala olw'Entebe ey'Obusaasizi.
20
Bakerubi baliba ebiwawaatiro byabwe babyanjululizza waggulu, nga babikkirira Entebe y'Obusaasizi n'ebiwaawaatiro byabwe; nga batunuuliraganye, ng'amaaso gaabwe gatunuulidde Entebe y'Obusaasizi.
21
Entebe y'Obusaasizi ogisse ku ssanduuku ng'ekisaanikira. Munda mu ssanduuku mw'olissa Endagaano gye ndikuwa.
22
Nzija kukusisinkananga awo nga nnyima ku Ntebe y'Obusaasizi, wakati wa bakerubi ababiri abali ku Ssanduuku y'Endagaano, nkubuulire byonna bye nnaakulagiranga ku lw'Abayisirayeli.
23
“Ojja kukola emmeeza mu muti ogw'akasaana, emikono ebiri obuwanvu, omukono gumu obugazi, ate omukono gumu n'ekitundu obusimba.
24
Ojja kugibikkako zaabu omwereere, ate ogisseeko omuge ogwa zaabu okugyetoolooza.
25
Ojja kugissaako omugo gwa luta lumu obugazi, obitoneko omuge ogwa zaabu okugwetoolooza.
26
Ojja kugikolerako empeta nnya eza zaabu ozisibe ku nsonda ennya awali amagulu ana;
27
empeta zibeere kumpi n'omugo okugumya emisituliro okusitulirwa emmeeza.
28
Ojja kukola emisituliro mu muti gw'akasaana ogibikke ne zaabu. Egyo gye ginaasitulanga emmeeza.
29
Ojja kukolerako essowaani, ebijiiko, n'ensumbi, n'entiba zaayo ez'okufukanga ekitone eky'okuyiwa; okolanga bya zaabu omwereere.
30
Ku mmeeza okwo ossangako Emigaati gy'Okwolesebwa, gibeerenga mu maaso gange bulijjo.
31
“Ojja kukola ekikondo ky'ettawaaza kya zaabu omwereere; kijja kubeera kya zaabu omukubeekube entobo n'ekikwatibwako. Ekikopo kyakwo, entwe n'ebimuli biteekwa okuba ekintu kimu nakyo.
32
Amatabi mukaaga gateekwa okwawukana nga gava mu mabbali gaakyo: asatu ku luuyi olumu n'asatu ku luuyi olulala.
33
Ettabi ebbereberye lya kubaako ebikopo bisatu ebifaanana ng'ebimuli by'endoozi, buli kimu n'entwe n'ekimuli; n'ettabi eryokubiri lya kubaako nalyo ebikopo bisatu ebifaanana ng'ebimuli by'endoozi, buli kimu n'entwe n'ekimuli, bwe kityo ne ku matabi omukaaga gonna agaawukana okuva ku kikondo ky'ettawaaza.
34
Ekikondo ky'ettawaaza kyennyini kya kubaako ebikopo bina ebifaanana ng'ebimuli by'endoozi, buli kimu n'entwe n'ekimuli.
35
Bwe kityo entwe emu wansi w'amatabi abiri agasooka, agava ku kikondo; entwe wansi w'amatabi abiri agaddirira, entwe wansi w'amatabi asatu agaddirira. Kibeere bwe kityo ne ku matabi omukaaga agaawukana ku kikondo ky'ettawaaza.
36
Entwe n'amatabi biteekwa kubeera kintu kimu n'ekikondo ky'ettawaaza, ate kyonna nga kikoleddwa mu kintu kimu mu zaabu omwereere omukubeekube.
37
Era okolanga ettawaaza zaakyo musanvu mulamba n'oziwanika ziryoke zimulise mu maaso gaakyo.
38
Magalo n'obusowaani bwayo okubeera ebisirinza biteekwa kubeera bya zaabu omwereere.
39
Talenta emu eya zaabu omwereere y'ey'okukola ekikondo ky'ettawaaza n'ebikikozesebwako.
40
Wekkaanye, obikolanga ng'ogoberera ekifaananyi ekikulagiddwa ku lusozi.”
← Chapter 24
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 26 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40