bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Exodus 6
Exodus 6
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 7 →
1
Omukama n'agamba Musa nti: “Kaakano ojja kulaba kye nnaakola Faraawo. N'omukono ogw'amaanyi ajja kuwalirizibwa abaleke mugende; olw'omukono ogw'amaanyi ajja kuwalirizibwa okubagoba mu nsi ye.”
2
Katonda yayogera ne Musa, n'amugamba nti: “Nze Mukama.
3
Nalabikira Yiburayimu, Yizaake ne Yakobo nga Katonda Omuyinza wa buli kantu. Naye saabaleka kummanyira mu linnya lyange ‘Omukama’.
4
Era nakola endagaano nabo okubawa ensi y'e Kanaani, ensi mwe baasenga, gye baalimu ng'abagwira.
5
Era nange mpulidde okusinda kw'Abayisirayeli Abamisiri be bafuga obuddu, ne nzijukira endagaano yange.
6
Bw'oti bw'oba ogamba Abayisirayeli: ‘Nze Omukama nzija kubaggyayo ku mirimu gy'Abamisiri egy'okwetikka emigugu; nzija kubasumululayo mu buddu bwe babakalizeemu; nzija kubanunulayo n'omukono gwange omugolole, n'ebibonerezo eby'amaanyi.
7
Ndibeebonanya ne mubeera bantu bange, nange ndibeera Katonda wammwe. Olwo mulimanya nti nze Mukama Katonda wammwe, eyabaggyayo ku mirimu gy'Abamisiri egy'okwetikka emigugu.
8
Olwo nzija kubaleeta mu nsi gye nalayira nti ndigiwa Yiburayimu ne Yizaake ne Yakobo; ndigibawa nga yammwe ddala, nze Mukama.’ ”
9
Musa n'abuulira bino Abayisirayeli, kyokka tebaamuwuliriza, olw'obwennyifu bw'omutima n'obuddu bwabwe obuyitiriddemu obukambwe.
10
Omukama n'alyoka agamba Musa nti:
11
“Genda eri Faraawo kabaka w'e Misiri, omugambe aleke Abayisirayeli bave mu nsi ye.”
12
Naye Musa n'ayogera mu maaso ga Katonda, n'agamba nti: “Oba Abayisirayeli tebampulirizza, Faraawo anampuliriza atya nze ayogera anaanaagira?”
13
Omukama n'ayogera eri Musa ne Aroni, n'abawa ebiragiro ku Bayisirayeli ne ku Faraawo kabaka wa Misiri, okuggya Abayisirayeli mu nsi ya Misiri.
14
Bano be bakulu b'ennyumba za bajjajjaabwe. Abana ba Rubeni omuggulanda wa Yisirayeli baali: Kanoki, Pallu, Kezuroni ne Karumi. Gano ge masiga mu Rubeni.
15
Batabani ba Simewoni be bano: Yemweli, Yamini, Owadi, Yakini, Zokari ne Sawulo mutabani w'omukazi Omukanaani. Gano ge masiga mu Simewoni.
16
Gano ge mannya g'abatabani ba Leevi n'amazadde gaabwe: Gerusoni, Kewati ne Merari. Leevi yawangaala emyaka kikumi mu asatu mu musanvu.
17
Batabani ba Gerusoni be bano: Libuni ne Simeyi mu masiga gaabwe.
18
Batabani ba Kewati baali: Amuramu, Yizuwari, Keburoni, ne Wuzziyeli. Kewati yawangaala emyaka kikumi mu asatu mu esatu.
19
Batabani ba Merari baali: Makuli ne Musi. Gano ge masiga mu kika kya Leevi mu mazadde gaabwe.
20
Amuramu yawasa Yokebedi ssengaawe, n'amuzaalira Aroni ne Musa. Amuramu yawangaala emyaka kikumi mu asatu mu musanvu.
21
Batabani ba Yizuwari be bano: Kora, Nefegi ne Zikuri.
22
Batabani ba Wuzziyeli baali: Misayeli, Elizafani ne Situri.
23
Aroni yawasa Eliseba, muwala wa Amminadabu, mwannyina wa Nakusoni, n'amuzaalira Nadabu, Abiwu, Eleyazari ne Yitamari.
24
Batabani ba Kora be bano: Assiri, Elukana ne Abiyasafu. Ezo ze nnyiriri z'Abakora.
25
Eleyazari mutabani wa Aroni yawasa omu ku bawala ba Putyeli, n'amuzaalira Finekasi. Abo be bakulu ba bajjajja b'Abaleevi okusinziira ku masiga gaabwe.
26
Ono ye Aroni yennyini ne Musa Omukama be yagamba nti: “Muggye Abayisirayeli mu nsi y'e Misiri mu bibinja byabwe.”
27
Bano, Musa ne Aroni, be baayogera ne Faraawo, kabaka w'e Misiri ku kuggya Abayisirayeli mu Misiri, abo Musa ne Aroni.
28
Ku lunaku Omukama lwe yayogera ne Musa mu nsi y'e Misiri,
29
yagamba nti “Nze Mukama. Buulira Faraawo, kabaka w'e Misiri byonna bye nkugamba.”
30
Musa n'agamba Omukama nti: “Nze ayogera anaanaagira lwaki Faraawo anampuliriza?”
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 7 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40