bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Exodus 32
Exodus 32
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 31
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 33 →
1
Abantu bwe baalaba nga Musa aluddewo okukka okuva ku lusozi, ne bakuŋŋaanira awali Aroni, ne bamugamba nti: “Situka. Tukolere balubaale batukulembere, kubanga ono omusajja Musa, eyatuggya mu Misiri, tetumanyi ky'abadde.”
2
Aroni n'abaddamu nti: “Muggye empeta eza zaabu ku matu g'abakazi bammwe, batabani bammwe ne bawala bammwe muzindeetere.”
3
Abantu bonna ne batungula empeta eza zaabu ezaali ku matu gaabwe ne bazireetera Aroni,
4
n'azibaggyako, n'ekyuma ekyola n'azikolamu akayana akasaanuuse. Ne baleekaana nti: “Yisirayeli, Katonda wo wuuno, eyakuggya mu nsi y'e Misiri.”
5
Aroni yalaba guli gutyo, n'azimba omwaliiro mu maaso gaako. N'alangirira nti: “Enkya enaaba mbaga olw'Omukama.”
6
Abantu ne bakeera ku lunaku olwaddirira, ne baweereza ebitambiro ebyokye, ne baleeta ebitambiro eby'okussa ekimu; awo abantu bonna ne batuula wansi okulya n'okunywa, ne basituka okwesanyusa.
7
Awo Omukama n'ayogera ne Musa n'agamba nti: “Genda, kkirira; anti abantu bo be waggya mu nsi y'e Misiri bakoze ekibi.
8
Tebaludde kuva mu kkubo lye nabalagira; beekoledde akayana akasaanuuse ne bakasinza n'okukasinza, ne bakatambirira nga bwe bagamba nti: ‘Yisirayeli, ono ye Katonda wo, eyakuggya mu nsi y'e Misiri.’ ”
9
Omukama n'ayongera okugamba Musa nti: “Abantu bano mbalabye; bantu ba nsingo nkakanyavu.
10
Kati ndeka, obusungu bwange bubeeserereko, mbawemmente; mu ggwe nnaakolamu eggwanga eddene.”
11
Naye Musa ne yeekuba ku Mukama Katonda we, n'agamba nti: “Ayi Mukama, lwaki obusungu bwo bweseredde ku bantu bo be waggya mu Misiri mu buyinza obunene n'omukono ogw'amaanyi?
12
Lwaki Abamisiri bandigambye nti: ‘Yabaggyayo na mutima mubi abawemmentere mu nsozi, abasaanyeewo ku nsi?’ Leka obusungu bwo obwesera. Weddemu ku kabi kano ku bantu bo.
13
Jjukira Yiburayimu, Yizaake ne Yisirayeli abaweereza bo, ggwe wennyini be walayirira n'obasuubiza nti: ‘Bazzukulu bammwe ndibawa okwala ng'emmunyeenye ez'eggulu, n'ensi eno yonna gye nasuubiza nti ndigiwa abazzukulu bammwe, n'eba busika bwabwe emirembe gyonna.’ ”
14
Omukama ne yeddamu ku kabi ke yali agamba okukola abantu be.
15
Musa n'akyusa, n'aserengeta olusozi, ng'akutte empande ebbiri ez'Endagaano, empande nga ziwandiikiddwako ku njuyi zombi mu maaso n'emabega.
16
Empande zino gwali mulimu gwa Katonda, ebiwandiikiddwako nga Katonda y'abiwandiiseeko, nga byoleddwa ku mpande.
17
Yoswa bwe yawulira oluyoogaano lw'abantu nga baleekaana, n'agamba Musa nti: “Waliyo enduulu y'olutalo mu lusiisira.”
18
Musa n'amuddamu nti: “Si ddoboozi lya buwanguzi, si ddoboozi lya kuwangulibwa; wabula ddoboozi lya kuyimba lye mpulira.”
19
Bwe yasemberera olusiisira, n'alaba akayana n'abazina, obusungu bwa Musa ne bwesera, n'akasuka wansi empande ze yali akutte, n'azaasiza wansi w'olusozi.
20
N'akwata akayana ke baali bakoze n'akookya mu muliro, n'akasa ne kafuuka nfuufu, n'agimansa ku mazzi, n'aganywesa Abayisirayeli.
21
Musa n'agamba Aroni nti: “Abantu bano bakukoze ki, okubaleetera ekibi ekinene ekyenkana wano?”
22
Aroni n'addamu nti: “Obusungu bwo buleme kwesera butyo, ssebo; naawe omanyi abantu bano bwe beewunzikira ku bubi.
23
Baŋŋamba nti: ‘Tukolere lubaale atukulembere; ono omusajja Musa, eyatuggya mu Misiri tetumanyi ky'abadde.’
24
Ne mbagamba nti: ‘Ani alina zaabu amweggyeko?’ Ne bamumpa, ne mmusuula mu muliro ne muvaamu akayana kano.”
25
Musa bwe yalaba ng'abantu bataamuse, kubanga Aroni yali abalese okutaamuuka ne bafuuka kya kusekererwa mu balabe baabwe,
26
n'ayimirira ku wankaaki w'olusiisira n'aleekaana nti: “Buli ali ku ludda lw'Omukama, ajje gye ndi.” Abaleevi bonna ne bamukuŋŋaanirako.
27
N'abagamba nti: “Omukama Katonda wa Yisirayeli bw'ati bw'agambye: ‘Buli musajja ayambalire ekitala kye ku lukugunyu, mutalaage mu lusiisira mulyango ku mulyango buli omu ng'atta muganda we, mukwano gwe ne muliraanwa we.’ ”
28
Abaleevi ne batuukiriza ekiragiro kya Musa; mu bantu ne mufaamu abasajja ng'enkumi ssatu olunaku olwo.
29
Musa n'agamba nti: “Leero mweyawulidde Omukama, kubanga buli omu awakanyizza mutabani we oba muganda we n'amutta, bw'atyo n'abawa omukisa olwa leero.”
30
Enkeera, Musa n'agamba abantu nti: “Mukoze ekibi kinene. Naye ka nnyambuke eri Omukama, ndabe oba nnaayinza okuddaabiriza olw'ekibi kyammwe.”
31
Musa n'adda eri Omukama, n'agamba nti: “Yii, abantu bano ekibi kye bakoze nga kinene! Beekoledde lubaale owa zaabu.
32
Kkiriza okubasonyiwa ekibi kyabwe, bw'oba toobasonyiwe, nze nsazaamu mu kitabo kye wawandiika.”
33
Omukama n'addamu Musa nti: “Omuntu eyayonoona gye ndi gwe nnaasangula mu kitabo kyange.
34
Kati ggwe genda okulembere abantu, obatwale mu kifo kye nnaakubuulira. Laba malayika wange anaakukulembera, naye ku lunaku olw'okubonereza, ndibabonereza olw'ekibi kyabwe.”
35
Omukama n'abonereza abantu olw'okubumba akayana Aroni ke yali akoze.
← Chapter 31
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 33 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40