bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Exodus 21
Exodus 21
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 20
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 22 →
1
“Gano ge mateeka g'onoobateerawo:
2
“Bw'ogula omuddu Omwebureeyi, anaaweererezanga emyaka mukaaga. Mu mwaka ogwomusanvu wa kuteebwanga, awatali kusasula kwonna.
3
Oba yajja bw'omu, agendanga bw'omu. Kyokka bw'abanga omufumbo, mukazi we agendanga naye.
4
Mukama we oba yamuwa omukazi n'amuzaalira abaana abalenzi n'abawala, omukazi n'abaana banaabanga ba mukama we; ye agendanga yekka.
5
Naye omuddu bw'agambanga nti: ‘Njagala mukama wange ne mukazi wange n'abaana bange, sijja kuteebwa,’
6
awo mukama we amutwalanga eri Katonda
7
Omuntu bw'atundanga muwala we ng'omuzaana, omuzaana eddembe lye teriimuddizibwenga nga bwe kiri ku baddu abasajja.
8
Oba tasanyusa mukama we eyamwefunira, amuleke anunulibwe, kyokka tamuguzanga bagwira, kubanga amwefuulidde.
9
Bw'ayagala mutabani we amuwase, amuyisanga ng'etteeka bwe ligamba ku baana abawala.
10
Bw'afunanga omukazi omulala, takendeezanga ku mmere ya mubereberye, ku byambalo bye oba ku kusula naye.
11
Singa amulyazaamanya mu bino ebisatu, omukazi ayinza okugenda mu ddembe, awatali kusasula ssente n'emu.
12
“Buli yenna akuba omuntu n'amutta naddala mu bugenderevu, naye wa kuttibwanga.
13
Oba tagenderedde, naye Katonda nga y'amuleka n'afiira mu mikono gye, nzija kubassizaawo ekifo gy'ayinza okuddukira.
14
Naye singa omuntu alikolera munne obubi n'amutta mu bugenderevu, ne bw'abeeranga ku mwaliiro gwange, mumuggyangako n'attibwa.
15
“Buli yenna akuba kitaawe oba nnyina anattibwanga.
16
Buli abuza omuntu, oba amutunze, oba asangiddwa ng'akyamulina, wa kuttibwanga.
17
Buli avumiriranga kitaawe oba nnyina, wa kuttibwanga.
18
“Abantu bwe bayombanga, omu n'akuba munne ejjinja oba ekikonde, omuntu oyo n'atafa naye ne kimutuusa ku ndiri,
19
eyakuba taavunaanibwenga, kasita oli asituka n'asobola okutambulatambulako ng'asimba akaggo. Kyokka ateekwa okumugatta, olw'okumulobera okukola, era wa kumulabirira okutuusa lw'awonera ddala.
20
“Omuntu bw'akubanga omuddu we oba omuzaana we, n'amala afiira mu mikono gye, wa kubonerezebwanga.
21
Naye singa omuddu abeera mulamu okumala olunaku lumu oba bbiri, taabonerezebwenga, kubanga omuddu wuwe yamugula.
22
“Abantu bwe balwananga, bamala bakuba omukazi ali olubuto ne luvaamu, newandibadde nga tafunye buvune, omuntu akikoze ateekwa okusasula engassi nnyini mukazi gy'amusalidde; agiwangayo okusinziira ku nsala y'abalamuzi.
23
Naye singa afuna obuvune obusingawo, olwo munaawangayo obulamu olw'obulamu,
24
liiso olw'eriiso, linnyo olw'erinnyo, omukono olw'omukono, n'ekigere olw'ekigere,
25
kwokebwa olw'okwokebwa, kiwundu olw'ekiwundu, n'omuggo olw'omuggo.
26
“Omuntu bw'akuba eriiso ly'omuddu we oba ery'omuzaana we, n'alyonoona, ateekeddwa okumutanga, agatte bw'atyo eriiso lye.
27
Bw'akuba erinnyo ly'omuddu we oba ery'omuzaana we, ateekeddwa okumutanga, agatte bw'atyo erinnyo lye.
28
“Ente ennume bw'etomeranga omusajja oba omukazi n'afa, eneekubwanga amayinja; ennyama yaayo teeriibwenga, naye nnyiniyo taavunaanibwenga.
29
Naye oba ente yali ntomezi mu kusooka, ate nga ne nnyiniyo yalabulibwa kyokka n'atagikuuma, olwo ente eyo bw'ettanga omusajja oba omukazi, yo eneekubwanga amayinja, ne nnyiniyo anattibwanga.
30
Oba nga bamusalidde omutango, asasulanga buli kyonna ekimusaliddwa, alyoke anunule obulamu bwe.
31
Singa etomera omulenzi oba omuwala, aliyisibwa ng'etteeka lino lyennyini bwe ligamba.
32
“Singa etomera omuddu oba omuzaana, nnannyiniyo ateekwa okusasula mukama we sekeli amakumi asatu, n'ente eneekubwanga amayinja.
33
“Omuntu bw'abikkula ekinnya oba bw'akisima n'atakibikkako, ente emala ekigwamu oba endogoyi,
34
nnannyini kinnya aliwanga okufiirizibwa okwo; ssente aziwanga nnannyini nte, eri enfu n'eba yiye.
35
Singa ente ennume ey'omuntu omu erumya ey'omulala n'egitta, banaatundanga ente ennamu ne bagabana ssente; n'eri ettiddwa banaagigabananga.
36
Naye oba kimanyiddwa ng'ente eyo yali ntomezi mu kusooka, nnannyiniyo n'atagikuuma, ateekwa okuzzaawo ente mu kifo ky'ente ettiddwa, eri enfu n'eba yiye.
37
“Omuntu bw'abbanga ente ennume oba endiga, n'agitta oba n'agitunda, ateekwanga okuliwa n'ente ttaano olw'ente emu, n'endiga nnya olw'endiga emu.”
← Chapter 20
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 22 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40