bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Exodus 31
Exodus 31
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 30
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 32 →
1
Omukama yayogera ne Musa n'agamba nti:
2
“Laba nnonze Bezaleli, mutabani wa Wuri, mutabani wa Kuru, ow'ekika kya Yuda;
3
mmujjuzza omwoyo gwa Katonda, amagezi, okutegeera n'okumanya buli bufundi,
4
amagezi ag'okutetenkanya ebifaananyi, okukola ne zaabu ne ffeeza, n'ekikomo,
5
mu kubajja amayinja n'okugategeka, okutereeza emiti n'okugyola, ne mu kukola buli mulimu gwonna ogw'obufundi.
6
Era mmulondeddeko Oliyabu mutabani wa Akisamaki, ow'ekika kya Daani; ne bakakensa bonna mbawadde obukugu, balyoke batuukirize byonna bye nkulagidde:
7
Weema ey'Ensisinkano, Essanduuku ey'Endagaano, Entebe y'Obusaasizi egisaanikirako na byonna ebiri mu Weema;
8
emmeeza na byonna n'ebigikozesebwako, n'ekikondo ky'ettawaaza ekya zaabu omwereere na byonna ebikikozesebwako, omwaliiro gw'obubaani,
9
omwaliiro gw'ekitambiro ekyokye na byonna n'ebigukozesebwako, ekinaabirwamu n'ekikondo kyakyo,
10
ebyambalo ebiruke, ebyambalo ebitukuvu ebya Aroni kabona n'ebyambalo bya batabani be mwe bakolera emirimu gy'obwakabona,
11
n'omuzigo ogw'okusiiga, n'obubaani obw'akawoowo obw'okukozesa mu Kifo Ekitukuvu. Byonna babikoleranga ddala nga bwe mbikulagidde.”
12
Omukama n'agamba Musa nti:
13
“Yogera eri Abayisirayeli, obagambe nti: ‘Muteekwa okukuumanga Sabbaato yange, kubanga Sabbaato ke kabonero wakati wange nammwe amazadde gammwe gonna; ke kanaalaganga nti Nze Mukama abatukuza.
14
Awo nno muteekwa okukuumanga Sabbaato, kubanga ntukuvu gye muli. Omuntu agyonoona wa kuttibwanga. Buli yenna akola omulimu gwonna ku olwo, wa kukutulwanga okuva mu bantu be.
15
Okukola kwa kubeerangawo mu nnaku mukaaga, naye olwomusanvu Sabbaato, lwa kuwummulira ddala, lwawuliddwa Omukama. Buli yenna akolanga omulimu ku lwa Sabbaato wa kuttibwanga.’
16
Abayisirayeli ba kukuumanga Sabbaato nga bagikuza amazadde gaabwe gonna. Eno ndagaano ya lubeerera.
17
Wakati wange n'abaana ba Yisirayeli Sabbaato eneebeeranga kabonero ka lubeerera, anti Omukama yakola eggulu n'ensi mu nnaku mukaaga, naye ku lunaku olwomusanvu n'awummula, n'assa ekikkowe.”
18
Omukama bwe yamala okwogera ne Musa ku lusozi Sinayi, n'amuwa empande bbiri ez'Endagaano, empande ez'amayinja, ezaawandiikibwako n'olunwe lwa Katonda.
← Chapter 30
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 32 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40