bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Exodus 16
Exodus 16
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 17 →
1
Ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli ne kiva e Elimu, ne kituuka mu ddungu ery'e Sini, wakati wa Elimu ne Sinayi, ku lunaku olw'ekkumi n'ettaano olw'omwezi ogwokubiri bukya bava mu nsi y'e Misiri.
2
Mu ddungu ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli ne kisooka okwemulugunyiza Musa ne Aroni.
3
Abayisirayeli ne babagamba nti: “Singa nno omukono gw'Omukama gwatuttira mu nsi y'e Misiri gye twatuuliranga ku ntamu z'ennyama, ne tulya emmere ne tukkuta. Naye mmwe mwatuleeta mu ddungu muno ekibiina ky'abantu bano bonna okukissa enjala.”
4
Omukama n'agamba Musa nti: “Nze nzija kubatonnyeseza emigaati nga giva mu ggulu. Buli lunaku abantu banaafulumanga ebweru ne bakuŋŋaanya emmere ebamala olunaku olwo. Ka mbageze ndabe oba batambulira mu tteeka lyange oba nedda.
5
Ku lunaku olwomukaaga banaategekanga kye banaayingiza; kinaabanga kya mirundi ebiri ng'ogerera ku kye bakuŋŋaanya buli lunaku.”
6
Musa ne Aroni ne bagamba ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli nti: “Akawungeezi, mujja kumanya ng'Omukama ye yabaggya mu Misiri.
7
Ate ku makya munaalaba ekitiibwa ky'Omukama, kubanga awulidde okwemulugunya kwammwe. Naffe ffe baani be mwemulugunyiza!”
8
Musa n'agamba nti: “Akawungeezi, Omukama anaabawa ennyama ey'okulya, ate enkya anaabawa emigaati ne mukkuta, kubanga Omukama awulidde okwemulugunya kwammwe. Naffe ffe baani? Temwemulugunyiza ffe, mwemulugunyiza Mukama.”
9
Musa n'agamba Aroni nti: “Ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli bagambe bw'oti nti: ‘Musembere mu maaso g'Omukama, kubanga awulidde okwemulugunya kwammwe.’ ”
10
Aroni bwe yali ng'ayogera n'ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli, ne bakyukira eddungu. Gye baakuba amaaso nga ku kitiibwa ky'Omukama, kirabise mu kire.
11
Omukama n'alyoka ayogera ne Musa n'agamba nti:
12
“Mpulidde okwemulugunya kw'Abayisirayeli. Bagambe bw'oti nti: ‘Akawungeezi, munaalya ennyama, ate ku makya munakkuta emigaati. Olwo munaamanya nti nze Mukama, Katonda wammwe.’ ”
13
Akawungeezi entiitiri n'esituka n'ebikka olusiisira; ku nkya omusulo ne guwemberera okwetooloola olusiisira.
14
Bwe gwakala, ne walabikawo mu ddungu obuntu obuli ng'obubooya obwekulungirivu ku ttaka, ate nga buli ng'obuweke bw'omuzira.
15
Abayisirayeli bwe baalaba kino, ne bagambagana nti: “Kiki kino?” Kubanga baali tebakimanyi. Musa n'agamba nti: “Eyo ye mmere Omukama gy'abawadde okulya.
16
Kino Omukama ky'alagidde: buli omu yeekuŋŋaanyize ekimumala okulya. Munaakuŋŋaanyanga komeri emu buli muntu okugerera ku bungi bw'abantu buli omu b'alina mu weema ye.”
17
Abayisirayeli ne bakola batyo, ne bakuŋŋaanya abamu nnyingi abalala ntono.
18
Bwe baapima mu komeri, eyakuŋŋaanya ennyingi teyamuyitirira, n'eyakuŋŋaanya entono teyajula; buli omu yali ng'akuŋŋaanyizza gye yali yeetaaga okulya.
19
Musa n'abagamba nti: “Tewabangawo aterekako okutuusa enkeera.”
20
Naye abantu abamu ne batawuliriza Musa, ne baterekako okutuusa enkeera. Yajjamu envunyu, n'ewunya ekivundu. Musa n'abasunguwalira.
21
Baagikuŋŋaanyanga buli nkya okusinziira ku buli omu ky'alya; obudde bwe bwakaalaamanga, ng'eseebengerera.
22
Ku lunaku lwomukaaga, baakuŋŋaanyanga emmere ya mirundi ebiri, komeri bbiri buli omu. Abakulembeze b'ebibiina bonna ne bajja okubuulira Musa.
23
N'abagamba nti: “Kino Omukama ky'alagidde: Enkya lunaku lwa kuwummula, ye Sabbaato eyawuliddwa Omukama. Mufumbe gye mwagala okufumba, mutokose gye mwagala okutokosa, esigaddewo mugitereke okutuusa enkya.”
24
Ne bagitereka okutuusa enkeera nga Musa bwe yali abalagidde. Olwo emmere teyawunya, wadde okujjamu envunyu.
25
Musa n'agamba nti: “Mugirye, olwa leero ye Sabbaato, lunaku lwa Mukama; temujja kusanga kantu wansi olwa leero.
26
Mugikuŋŋaanyizanga mu nnaku mukaaga; naye ku lunaku olwomusanvu, Sabbaato ya Mukama; tewaaberenga kantu.”
27
Ku lunaku olwomusanvu, ne wabaawo abamu abaava mu lusiisira okugenda okugikuŋŋaanya, naye tebaasanga kantu.
28
Omukama n'agamba Musa nti: “Munaatuusa wa okugaana okukwata amateeka gange n'ebiragiro?
29
Muwulire. Omukama yabassizaawo Sabbaato, kyava abawa emmere ya nnaku bbiri ku lwomukaaga. Ku lwomusanvu, buli omu mu mmwe asigalanga w'ali, tewabanga ava mu kifo kye.”
30
Bwe kityo nno ku lunaku olwomusanvu, abantu ne bawummula.
31
Emmere eyo ennyumba ya Yisirayeli yagituuma Manu. Yali efaanana ng'ensigo za jjada; yali njeru, ate obuwoomi bwayo nga buli ng'amandaazi omuli omubisi gw'enjuki.
32
Musa n'agamba nti: “Kino Omukama ky'alagidde: ‘Mugijjuze mu komeri, eterekerwe bazzukulu bammwe, basobole okulaba emmere gye mbaliisizza mu ddungu nga muggyibwa mu nsi y'e Misiri.’ ”
33
Musa n'agamba Aroni nti: “Ddira ekibya okisseemu komeri nnamba eya manu, ogisse mu maaso g'Omukama, eterekerwe bazzukulu bammwe.”
34
Ng'Omukama bwe yalagira Musa, Aroni bw'atyo n'agissa mu maaso g'Endagaano eterekebwenga eyo.
35
Abayisirayeli baalya manu okumala emyaka ana, okutuusa lwe baatuuka mu nsi ebeerekamu. Baalya manu okutuusa lwe baatuuka ku nsalo n'ensi y'e Kanaani.
36
Komeri kye kitundu eky'ekkumi ekya efa.
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 17 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40