bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Exodus 9
Exodus 9
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 10 →
1
Omukama n'agamba Musa nti: “Yingira eri Faraawo omugambe nti: Omukama Katonda w'Abeebureeyi akugambye nti: ‘Leka abantu bange bagende bansinze.’
2
Bw'ogaana okubaleka era n'omala obalemera,
3
omukono gw'Omukama gujja kukuba amagana go mu malundiro go, gugalwaze nsotoka ow'akabi ennyo: embalaasi, endogoyi, eŋŋamiya, ente n'endiga.
4
Omukama ajja kwawulamu amagana g'Abayisirayeli n'ag'Abamisiri. Mu by'Abayisirayeli temujja kubaamu na kimu kifa.
5
Omukama akakasizza obudde, agambye nti: ‘Enkya, ekyo Omukama lw'ajja okukikola mu nsi eno.’ ”
6
Enkeera, Omukama n'atuukiriza ekigambo ekyo: amagana g'Abamisiri gonna ne gafa, naye mu bisolo by'Abayisirayeli temwali na kimu kyafa.
7
Faraawo yatuma abantu balabe: ddala temwali kisolo na kimu kyafa mu magana g'Abayisirayeli. Kyokka Faraawo n'aguguba, n'ataleka bantu kugenda.
8
Omukama n'agamba Musa ne Aroni nti: “Muddire evvu ly'omu kyoto, mbatu nnamba, Musa alimanse mu bbanga mu maaso ga Faraawo.
9
Lijja kufuukamu enfuufu ku nsi yonna ey'e Misiri, olwo ebizimba ebyabikamu amabwa bijja kukwata abantu n'ebisolo mu nsi yonna ey'e Misiri.”
10
Awo ne baddira evvu ery'omu kyoto ne bayimirira mu maaso ga Faraawo, Musa n'alimansa mu bbanga, ebizimba ebyabikamu amabwa ne bikwata abantu n'ebisolo.
11
N'abalaguzi tebaasobola kugumira Musa olw'ebizimba, anti abalaguzi bonna baalina ebizimba, n'Abamisiri abalala bonna.
12
Naye Omukama n'agugubya omutima gwa Faraawo, Faraawo n'agaana okubawuliriza ng'Omukama bwe yali agambye Musa.
13
Awo Omukama n'agamba Musa nti: “Situka ku makya ku maliiri, wesse mu maaso ga Faraawo. Mugambe nti: Kino Omukama Katonda w'Abeebureeyi ky'agamba: ‘Leka abantu bange bagende bansinze.
14
Ku mulundi guno nzija kusindika ebibonerezo byange byonna ku ggwe, ne ku bakungu bo ne ku bantu bo, olyoke oyige nti teri annenkana mu nsi yonna.
15
Singa nali ngolodde nti omukono gwange ne mbakuba kawumpuli ggwe n'abantu bo, wandibadde wasaanawo dda ku nsi.
16
Naye eno ye nsonga eyakundesaawo: nkwoleke obuyinza bwange, erinnya lyange liryoke lirangirirwe mu nsi yonna.
17
Na kati okyalemedde abantu bange, tobaleka kugenda.
18
Olwekyo, enkya mu budde nga buno, nzija kutonnyesa ekire ky'omuzira ekinene ennyo ekitamanyikangako mu nsi y'e Misiri, okuva olunaku lwe yabangibwawo n'okutuusa kati.
19
Kale nno amagana go na buli kintu kyo kyonna ky'olina mu nnimiro bikuŋŋaanye obiyingize kubanga abantu n'ebisolo ebinaasangibwa ku ttale nga tebiggyiddwayo, omuzira gujja kubikuba bife.’ ”
20
Abakungu ba Faraawo abaatya Omukama bye yagamba, baddusiza abaddu baabwe mu nnyumba n'ebisolo ne babiyingiza.
21
Naye abatassa mutima ku kulabula kwa Mukama, abaddu baabwe n'amagana gaabwe baabireka ku ttale.
22
Omukama n'agamba Musa nti: “Golola waggulu omukono gwo, omuzira gulyoke gugwe mu nsi yonna ey'e Misiri ku bantu ne ku nsolo ne ku buli kimera kyonna mu nsi y'e Misiri.”
23
Musa n'agolola omuggo gwe waggulu, Omukama n'ata eraddu n'omuzira, n'ebimyanso ne bibuna wonna mu nsi; Omukama n'atonnyesa omuzira ku nsi y'e Misiri.
24
Omuzira omuli n'omuliro ne bijjira kumu, omuzira ne gugwa ogw'amaanyi ennyo ekitabangawo bukya Misiri etandika kufuuka ggwanga.
25
Omuzira ne gukuba wonna mu nsi y'e Misiri ebirime byonna mu nnimiro, ne gutataliza muntu na nsolo na buli kimera kyonna ku ttale, ne gumenyaamenya buli muti oguli mu nnimiro.
26
Mu nsi ye Goseni mwokka Abayisirayeli gye baali omuzira gye gutaagwa.
27
Faraawo n'atumya Musa ne Aroni, n'agamba nti: “Ku mulundi guno nnyonoonye. Omukama ye mutuufu, nze n'abantu bange ffe basobya.
28
Mwegayirire Omukama okubwatuka okw'amaanyi n'omuzira bimala, nzija kubaleka mugende, temujja kusigala wano.”
29
Musa n'amuddamu nti: “Bwe nnaava mu kibuga, nzija kugololera emikono gyange eri Omukama. Okubwatuka kujja kukoma, n'omuzira tegujja kweyongera kubaayo, olwo onoomanya nti ensi ya Mukama.
30
Kyokka mmanyi nga ggwe n'abakungu bo temunnatya Mukama Katonda.”
31
Obufumbo ne sayiri byayonooneka, kubanga sayiri yali assaako nga n'obufumbo bwakaanya.
32
Eŋŋano n'omukyere tebyayonooneka, kubanga bimera luvannyuma.
33
Musa n'ava ewa Faraawo n'afuluma ekibuga, n'agololera emikono gye eri Omukama, olwo okubwatuka n'omuzira ne bikoma n'enkuba n'erekera awo okuyiika ku nsi.
34
Faraawo bwe yalaba ng'enkuba, omuzira n'okubwatuka bikomye, n'addamu okwonoona, omutima gwe ne guguguba ko n'egy'abakungu be.
35
Faraawo n'aguguba, n'ataleka Bayisirayeli kugenda ng'Omukama bwe yali agambye ng'ayita mu Musa.
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 10 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40