bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Exodus 18
Exodus 18
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 17
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 19 →
1
Yeturo kabona w'e Midiyaani, mukoddomi wa Musa, n'awulira byonna Katonda bye yali akoledde Musa n'eggwanga lye Abayisirayeli, era ng'Omukama bwe yali aggye Yisirayeli mu Misiri.
2
Yeturo, mukoddomi wa Musa n'atwala Zippora muka Musa gwe yali alese,
3
ne batabani be babiri; omu ng'ayitibwa Gerusomu, kubanga yagamba nti: “Ndi musenze mu nsi eteri y'ewaffe;”
4
erinnya ly'omulala nga ye Eliyezeri: ng'agamba nti “Katonda wa kitange ye muyambi wange ye yamponya ekitala kya Faraawo.”
5
Yeturo mukoddomi wa Musa n'ajja eri Musa mu ddungu ne muka Musa n'abaana be, awaali olusiisira, ku lusozi lwa Katonda;
6
n'atuma eri Musa ng'agamba nti: “Nze Yeturo mukoddomi wo, nzija gy'oli: nzize ne mukazi wo ne batabani be bombi bali naye.”
7
Musa n'afuluma okusisinkana mukoddomi we, n'avunnama, n'amunywegera, ne balamusaganya ne bayingira mu weema.
8
Musa n'anyumiza mukoddomi we byonna Omukama bye yali akoze Faraawo n'Abamisiri ku lwa Yisirayeli, n'ebizibu byonna ebyali bibatuukiridde mu kkubo, era ng'Omukama bwe yabawonya.
9
Yeturo n'asanyukira ebirungi byonna Omukama bye yali akoledde Yisirayeli ng'amuwonya mu mikono gy'Abamisiri.
10
N'agamba nti: “Omukama agulumizibwe eyabawonya ng'abaggya mu mikono gy'Abamisiri ne mu gya Faraawo, eyawonya abantu ng'abaggya mu mikono gy'Abamisiri.
11
Kaakano mmanyi ng'Omukama mukulu okusinga balubaale bonna…”
12
Yeturo mukoddomi wa Musa n'aweereza Katonda ekitambiro ekyokye n'ebyonziira, ne Aroni n'ajja n'abakulu b'Abayisirayeli ne batuula ku kijjulo mu maaso ga Katonda awamu ne mukoddomi wa Musa.
13
Enkeera, Musa n'atuula ku ntebe ye okulamula abantu; ne bayimirira nga bamwetoolodde okuva enkya okutuusa akawungeezi.
14
Mukoddomi wa Musa bwe yalaba byonna bye yakoleranga abantu, n'amubuuza nti: “Kiki kino ky'okolera abantu? Lwaki otuula wano wekka abantu ne bakwetooloola okuva ku makya okutuusa akawungeezi?”
15
Musa n'addamu mukoddomi we nti: “Abantu bajja gye ndi okwebuuza ku bya Katonda n'amateeka ge.
16
Bwe babaako enkaayana, bajja gye ndi ne mbatawulula, ne mbayigiriza ebiragiro bya Katonda n'amateeka ge.”
17
Mukoddomi wa Musa n'amugamba nti: “Ky'okola si kirungi.
18
Weekooyeza bwereere ggwe n'abantu abali naawe. Omulimu gukuyitiridde. Toyinza kugukola wekka.
19
Kwata amagezi gange, ne Katonda abeere naawe. Ggwe beerawo mu kifo ky'abantu mu maaso ga Katonda, olyoke otuuseeyo ensonga zaabwe eri Katonda.
20
Abantu booleke ebiragiro n'amateeka, obamanyise ekkubo lye bateekwa okukwata ne kye bateekwa okukola.
21
Naye londa mu bantu bonna abasajja abamu, abeesobola, abatya Katonda, abeesigwa, ate abaakyawa enguzi, obafuule abakulembeze b'enkumi z'abantu, n'ebikumi, n'ataano n'amakumi.
22
Abo be baba balamula abantu obudde bwonna; ensonga ennene ze baba bakuleetera; entono bo bazimale. Bw'onoogabanya bw'otyo omugugu gwo mu balala, banaakwetikkirako ne gukuwewukira.
23
Bw'onookola otyo, n'otuusa ne Katonda ky'alagidde, ojja kusigala ng'oli mugumu, n'abantu bonna bano banaddangayo ewaabwe nga bamatidde.”
24
Musa n'akwata ebibuuliriro bya mukoddomi we n'akola byonna bye yali amugambye;
25
n'alonda abasajja abeesobola okuva mu Yisirayeli yonna, n'abassaawo ng'abakulu ku bantu babe abagabe b'enkumi, n'ebikumi, n'ataano n'amakumi.
26
Ne balamulanga abantu obudde bwonna; ensonga enzibu nga zo ze banjulira Musa, ate zonna entono nga bo bazimala.
27
Awo Musa n'asiibula mukoddomi we, ye n'akwata ekkubo n'adda eka mu nsi yaboobwe.
← Chapter 17
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 19 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40