bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Exodus 4
Exodus 4
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 5 →
1
Awo Musa n'addamu nti: “Bwe batanzikirize, oba bwe batampulirize, ne bagamba nti: ‘Omukama takulabikiranga.’ ”
2
Omukama n'amubuuza nti: “Kiki ekyo mu mukono gwo?” Ko Musa nti: “Muggo.”
3
Omukama n'amugamba nti: “Gusuule ku ttaka.” Musa n'agusuula ku ttaka, ne gufuuka omusota. Musa n'agudduka.
4
Omukama n'amugamba nti: “Golola omukono gwo ogukwate akawuuwo.” N'agolola omukono n'agukwata. Bwe yagukwata, ne gufuuka omuggo mu ngalo ze.
5
“Mu ngeri eyo bajja kukkiriza nti Omukama Katonda wa bajjajjaabwe, Katonda wa Yiburayimu, Katonda wa Yizaake, Katonda wa Yakobo yakulabikira.”
6
Ate Omukama n'ayogera ne Musa nti: “Sonseka omukono gwo mu kkanzu yo.” Musa n'asonseka omukono gwe mu kkanzu ye; bwe yaguggyayo, nga gukubiddwa ekigenge ekyeru ng'omuzira.
7
Omukama n'amugamba nti: “Zza omukono gwo mu kkanzu.” Musa n'azza omukono gwe mu kkanzu; okuguggyayo, nga guzzeewo ng'omubiri gwe omulala gwonna.
8
“Kale nno bwe banaaba tebakukkirizza, nga n'akabonero akasooka tebakafuddeeko, akookubiri banaakakkiriza.
9
Naye obubonero bwombi bwe bataabukkirize, ne bagaana okukuwuliriza, osenanga amazzi mu Kiyira n'ogafuka ku ttaka; amazzi g'oliba osenye mu Kiyira galifuuka omusaayi ku ttaka.”
10
Musa n'agamba nti: “Mukama wange, sibangako mwogezi mulungi, jjo na luli, era n'okuva lwe watandise okwogera n'omuweereza wo, okwogera n'olulimi binzitoowerera.”
11
Omukama n'amuddamu nti: “Ani yawa omuntu akamwa? Ani amufuula kasiru oba kiggala, amuwa okulaba, oba n'amufuula muzibe? Si Nze, Omukama?
12
Kale nno, genda, nzija kukuyambanga okwogera ate nkubuulire ky'onooyogeranga.”
13
Musa n'addamu nti: “Mukama wange, nkwegayiridde, tuma omulala yenna akikole.”
14
Awo obusungu bw'Omukama ne bweserera ku Musa, n'agamba nti: “Aroni muganda wo Omuleevi taliiwo? Mmumanyi mwogezi mulungi. Wuuyo ajja okukusisinkana; bw'anaakulaba ajja kusanyuka.
15
Ojja kwogera naye, omutegeeze ebigambo byange. Nze nzija kubayamba okwogera, ggwe naye, mbalagirire eky'okukola.
16
Ye y'alyogera eri abantu mu kifo kyo, y'anaabeeranga akamwa ko, ggwe onoobeeranga nga Katonda gy'ali.
17
Kwata omuggo guno mu ngalo, guno gw'onookozesanga obubonero.”
18
Musa n'addayo eri mukoddomi we Yeturo, n'amugamba nti: “Ndeka nzireyo mu ŋŋanda zange mu Misiri, ndabe oba bakyali balamu.” Yeturo n'amugamba nti: “Genda mirembe.”
19
Omukama n'agamba Musa nti: “Genda, ddayo e Misiri, kubanga abo bonna abaali baagala okukutta, bafudde.”
20
Musa n'addira mukazi we ne batabani be n'abassa ku ndogoyi, n'asitula okuddayo mu nsi y'e Misiri, n'akwata mu ngalo omuggo gwa Katonda.
21
Omukama n'amugamba nti: “Kaakano bw'oddayo mu Misiri, okolanga mu maaso ga Faraawo ebikuuno byonna bye nkuwaddeko obuyinza. Nze nzennyini ndigugubya omutima gwe, abantu n'atabata kugenda.
22
Faraawo omugambanga nti: ‘Omukama agamba kino: Yisirayeli ye mutabani wange omuggulanda.
23
Nakugamba: Leka mutabani wange agende ansinze. Ggwe tewamuleka. Oba toyagala kumuleka, kale nzija kutta mutabani wo omuggulanda.’ ”
24
Ng'ali mu lugendo, bwe yatuuka aw'okusula, Omukama n'ajja okumusisinkana, n'ayagala okumutta.
25
Amangu ago Zippora n'addira ejjinja ejjogi, n'asala akakuta k'obusajja bwa mutabani we, n'akakoona ku bigere bye, nga bw'agamba nti: “Mazima ku nze oli baze ow'omusaayi.”
26
Awo Omukama n'amuleka, bwe yayogera atyo nti: “Oli baze ow'omusaayi,” ng'ategeeza olw'okutayirirwa.
27
Omukama n'agamba Aroni nti: “Genda mu ddungu, osisinkane Musa” N'agenda n'amusisinkana ku lusozi lwa Katonda; n'amunywegera.
28
Musa n'ategeeza Aroni byonna Omukama bye yali agambye lwe yamukwasa omulimu, n'obubonero bwonna bwe yali amulagidde okukola.
29
Musa ne Aroni ne bagenda; ne bakuŋŋaanya wamu abakulu bonna ab'Abayisirayeli.
30
Aroni n'ayogera byonna Omukama bye yali agambye Musa, n'akola n'obubonero mu maaso g'abantu.
31
Abantu ne bakkiriza, ne basanyuka bwe baawulira nti Omukama alambudde Abayisirayeli, alabye ennaku zaabwe; ne bavunnama, ne basinza.
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40