bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Exodus 33
Exodus 33
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 32
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 34 →
1
Omukama n'agamba Musa nti: “Vva mu kifo kino wamu n'abantu be waggya mu nsi y'e Misiri, ogende mu nsi gye nalayirira Yiburayimu ne Yizaake ne Yakobo nti: ‘Ndigiwa ezzadde lyo.’
2
Nzija kusindika malayika akukulemberemu; ndigoba Abakanaani, Abaamori, Abakitti, Abaperizzi, Abakivi n'Abayebusi.
3
Mugende mu nsi ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki. Kyokka nze sijja kugenda nammwe. Muli bantu ba nsingo nkakanyavu, sikulwa nga mbawemmentera mu kkubo.”
4
Abantu bwe baawulira ebigambo bino ebigumu, ne badda mu kukaaba; era tewaali n'omu yayambala bya kwewoomya.
5
Awo Omukama n'agamba Musa nti: “Gamba Abayisirayeli nti: ‘Muli bantu ba nsingo nkakanyavu. Mba kugenda nammwe, wadde akaseera obuseera, nandibawemmense. Kale mwambule eby'okwewoomya, nze nzija kulaba nga bwe nnaabakola.’ ”
6
Bwe batyo, okuva ku olwo ku lusozi Korebu, Abayisirayeli beeyambulamu eby'okwewoomya.
7
Musa yaddiranga Weema n'agikomerera ebweru w'olusiisira, nga yeesudde okuva ku lusiisira, n'agiyita Weema ey'Ensisinkano. Buli yenna eyayagalanga okwebuuza ku Mukama, yafulumanga n'alaga eri Weema ey'Ensisinkano, wabweru w'olusiisira.
8
Buli Musa lwe yafulumanga okulaga eri Weema, abantu bonna nga basituka, buli muntu ng'ayimirira mu mulyango gwa weema ye n'atunuulira Musa okutuusa lwe yayingiranga mu Weema.
9
Buli Musa lwe yayingiranga mu Weema, empagi y'ekire yakkanga ne yeesimba ku mulyango gwa Weema, Omukama n'ayogera ne Musa.
10
Abantu bonna bwe baalabanga empagi y'ekire nga yeesimbye ku mulyango gwa Weema, ne basituka, ne bavunnama, buli omu ku mulyango gwa weema ye.
11
Omukama n'ayogeranga ne Musa maaso na maaso, ng'omuntu bw'ayogera ne mukwano gwe. Awo Musa n'addayo mu lusiisira; naye omuvubuka Yoswa eyali omuyambi we, mutabani wa Nuunu, ye teyavanga mu Weema.
12
Musa n'agamba Omukama nti: “Wuuno kati oŋŋamba nti: ‘Tambuza abantu bano’, naye tombuulidde gw'onoosindika kugenda nange. Ggwe wennyini ogambye nti: ‘Nkumanyi erinnya, era osanze ekisa mu maaso gange.’
13
Kale nno obanga nsanze ekisa mu maaso go, nkwegayiridde ndaga amakubo go, ndyoke nnyongere okukutegeera n'okusanga ekisa mu maaso go. Jjukira nti eggwanga lino bantu bo ku bubwo.”
14
Omukama n'addamu nti: “Nze nzennyini nzija kugenda nammwe; era ndikuwa ekiwummulo.”
15
Musa n'amuddamu nti: “Obanga togenda naffe ggwe wennyini, totuggya mu kifo kino.
16
Banaamanya batya oba nti nze n'abantu bo twasanga ekisa mu maaso go bw'otojje naffe? Tunaayawulirwa ku ki, nze n'abantu bo, ku bantu bonna abali ku nsi?”
17
Omukama n'agamba Musa nti: “Era nzija kukola ky'osabye, kubanga onsanyusizza, kubanga nkumanyi erinnya.” Musa ku lusozi
18
Musa n'agamba nti: “Nkwegayiridde, ndaga ekitiibwa kyo.”
19
N'ayanukula nti: “Nzija kuddira obulungi bwange bwonna buyite mu maaso go, era nzija kwatula mu maaso go erinnya lyange, Mukama. Gwe nnaagiriranga ekisa nnaamugiriranga ekisa, ne gwe nnaasaasiranga naye nnaamusaasiranga.”
20
Era n'agamba nti: “Kyokka toyinza kulaba maaso gange; kubanga omuntu tayinza kundaba n'aba mulamu.”
21
Omukama n'amuddira nti: “Ekifo kiikino okumpi nange, ojja kuyimirira ku lwazi.
22
Ekitiibwa kyange bwe kinaaba kiyitawo, nzija kukussa mu lwatika lw'olwazi, nkusiikirize n'ekibatu okutuusa nga mpiseewo,
23
olwo ndyoke nzigyewo ekibatu kyange; onoolaba amabega gange, naye amaaso gange si ga kulabibwa.”
← Chapter 32
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 34 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40