bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Exodus 5
Exodus 5
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 6 →
1
Oluvannyuma, Musa ne Aroni ne bagenda, ne bagamba Faraawo nti: “Omukama Katonda wa Yisirayeli agambye nti: ‘Leka abantu bange bagende bankolere embaga mu ddungu.’ ”
2
Faraawo n'addamu nti: “Omukama ye ani oyo gwe nteekwa okuwulira ne ndeka Abayisirayeli okugenda? Oyo Omukama simumanyi era sijja kuleka Yisirayeli kugenda.”
3
Ne baddamu nti: “Katonda w'Abebureeyi yatusisinkanye. Tuleke tugende olugendo lwa nnaku ssatu mu ddungu, tutambirire Omukama Katonda waffe; sikulwa ng'atukubamu kawumpuli oba ekitala.”
4
Kabaka w'e Misiri n'abagamba nti: “Mmwe Musa ne Aroni, lwaki muggya abantu ku mulimu gwabwe? Muddeeyo ku mirimu gyammwe egy'okwetikka emigugu.”
5
Awo Faraawo n'agamba nti: “Kati abantu bano beeyongedde obungi mu nsi, ate mmwe mubaggya ku mirimu gyabwe egy'okwetikka emigugu?”
6
Ku lunaku olwo lwennyini, Faraawo n'awa ekiragiro abakozesa abantu ne bannampala, nti:
7
“Mulekere awo okuwa abantu bano essubi ery'okukola amataffaali nga bwe mubadde mukola mu kusooka. Mubaleke bagende beekuŋŋaanyize essubi eryo.
8
Naye mwongere okubasalira omuwendo gw'amataffaali gwe babadde babumba mu kusooka; temubakenderezaako n'akatono, kubanga bagayaavu, kye bava baleekaana nti: ‘Tugende tuweereze Katonda waffe ekitambiro’
9
Abantu abo mubakozese agalimu amazito, baleme kufa ku bya bulimba.”
10
Abakozesa abantu ne bannampala ne bafuluma okwogera eri abantu. Ne bagamba nti: “Faraawo awadde ebiragiro nti: ‘Sijja kubawa ssubi.’
11
Mugende mwekuŋŋaanyize essubi yonna gye muyinza okulisanga. Naye omulimu gwammwe tegujja kukendeerako n'akamu.”
12
Bwe kityo abantu ne basaasaanira ensi yonna ey'e Misiri okukuŋŋaanya essubi.
13
Abakozesa abantu ne babacunga, nga babagamba nti: “Muteekwa okumaliriza omulimu gwammwe ogubasalirwa nga bwe mwakolanga nga mulina essubi.”
14
Ne bannampala Abayisirayeli abaali bateekeddwawo abakozesa ba Faraawo ne bakubibwa, ne babuuzibwa nti: “Lwaki jjo temwamaliriza kkatala lya mataffaali, n'olwa leero era ne luli?”
15
Bannampala b'Abayisirayeli ne bajja, ne bakuba omulanga eri Faraawo, ne bagamba nti: “Lwaki oyisa otyo abaweereza bo?
16
Tewali ssubi liweebwa baweereza bo, ate batupeeka nti ‘Mukole amataffaali.’ Tuutuno abaweereza bo tukubibwa, sso ensobi eri na bantu bo.”
17
Awo Faraawo n'addamu nti: “Muli banafu, ngajaba. Kyemuva mugamba nti: ‘Leka tugende, tuweereze Omukama ekitambiro.’
18
Mudde ku mulimu. Temujja kuweebwa ssubi. Ate muteekwa okutuusa ekkatala ly'amataffaali.”
19
Bannampala b'Abayisirayeli ne balaba nga bali mu kabi olw'okubagamba nti: “Temujja kukendeeza ku mataffaali agabasabibwa buli lunaku.”
20
Olwava mu maaso ga Faraawo, ne basanga Musa ne Aroni nga babalindiridde.
21
Ne babagamba nti: “Ne Katonda abatunuulire asalewo. Wuuno kati mutufudde kyenyinyalwa mu maaso ga Faraawo n'abakungu be. Mubatuwendulidde batutte n'ebitala.”
22
Musa n'addayo eri Omukama, n'amugamba nti: “Ayi Mukama, lwaki obonyaabonya abantu bano? Wansindikira ki?
23
Kasooka nzija eri Faraawo ne njogera naye mu linnya lyo, abantu bano ababonyaabonya, ate naawe tolokodde abantu bo.”
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 6 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40