bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Exodus 20
Exodus 20
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 21 →
1
Katonda n'ayogera ebigambo bino byonna, n'agamba nti:
2
“Nze Mukama Katonda wo eyakuggya mu nsi y'e Misiri, mu nnyumba y'obuddu.
3
“Tobanga na balubaale we ndi.
4
“Teweekoleranga kifaananyi kyole oba enfaanana ey'ekintu kyonna ekiri mu ggulu waggulu, oba ekiri ku nsi wansi, oba mu mazzi ku ntobo y'ensi.
5
“Tobivunnamiranga era tobiweerezanga. Kubanga nze Mukama Katonda wo, ndi Katonda ow'obuggya; mbonereza omusango gw'abazadde mu baana n'abazzukulu okutuusa ku zzadde eryokusatu n'eryokuna ery'abo abankyawa;
6
naye ngirira ekisa enkumi z'abo abanjagala era abakwata ebiragiro byange.
7
“Tokozesanga linnya lya Mukama Katonda wo mu bitaliimu, kubanga Omukama talibala oyo akozesezza erinnya lye mu bitaliimu ng'atalina musango.
8
“Ojjukiranga olunaku lwa Sabbaato n'olutukuza.
9
Onookoleranga ennaku mukaaga n'okola emirimu gyo gyonna.
10
Naye olunaku olwomusanvu ye Sabbaato ku lw'Omukama Katonda wo. Tokolanga mulimu ku olwo, ggwe, newandibadde nga mutabani wo, newandibadde muwala wo, newandibadde abaddu bo abasajja n'abakazi, newandibadde ebisolo byo, newandibadde omusenze ali naawe mu kibuga kyo.
11
Kubanga Omukama yakola eggulu n'ensi n'ennyanja n'ebyo byonna ebizirimu mu nnaku mukaaga, naye ku lunaku olwomusanvu n'awummula; Omukama kyeyava awa olunaku lwa Sabbaato omukisa n'alufuula lutukuvu.
12
“Ossangamu kitaawo ne nnyoko ekitiibwa olyoke owangaale ku nsi Omukama Katonda gy'alikuwa.
13
“Tottanga.
14
“Toyendanga.
15
“Tobbanga.
16
“Towanga bujulizi bwa bulimba ku munno.
17
“Teweegombanga nnyumba ya munno. Teweegombanga mukazi wa munno, oba omuddu we omusajja oba omukazi, oba ente ye, oba endogoyi ye, na buli kikye.”
18
Abantu bonna ne balaba okubwatuka, ebimyanso, eddoboozi ly'eŋŋombe, n'olusozi nga luttunka erikka, ne batya ne bakankana ensisi, ne bayimirira wala.
19
Ne bagamba Musa nti: “Ggwe oba oyogera naffe, tujja kuwuliriza; naye sso si Mukama y'aba ayogera naffe, sikulwa nga tufa.”
20
Musa n'addamu abantu nti: “Muleke kutya, kubanga Katonda azze kubageza, alabe oba munaamutyanga bulijjo, ekyo kibaleseeyo okwonoona.”
21
Abantu ne bayimirira wala; Musa n'asemberera enzikiza ekutte Katonda mwe yali.
22
Omukama n'agamba Musa nti: “Bw'oti bw'oba ogamba Abayisirayeli nti: ‘Mulabye bwe njogedde nammwe nga nnyima mu ggulu.
23
Temukolanga balubaale ba ffeeza we ndi. Temwekoleranga balubaale ba zaabu.
24
Munkoleranga omwaliiro ogw'ettaka kwe munantambiriranga ebitambiro byammwe ebyokye, n'ebitambiro eby'okussa ekimu: endiga, embuzi zammwe n'ente. Mu buli kifo we najjuukiririzanga erinnya lyange, nnaajjanga gye muli ne mbawa omukisa.
25
Bwe munkolera omwaliiro ogw'amayinja temuguzimbyanga mayinja mabajje, kubanga bwe mugussaako ekyuma nga mugukola, mugwonoona.
26
Toyambukanga ku mwaliiro gwange ng'olinnyira ku madaala, sikulwa ng'ogukunamirako.’ ”
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 21 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40