bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Exodus 12
Exodus 12
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 13 →
1
Omukama n'agamba Musa ne Aroni mu nsi y'e Misiri nti:
2
“Mu mmwe omwezi guno gwe gujja okusookanga mu mirala gyonna; omwezi omubereberye mu mwaka gwammwe.
3
Mwogere eri ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli, mubagambe nti: ‘Ku lunaku olw'ekkumi olw'omwezi guno, buli musajja addiranga akaliga ku lw'ennyumba za bajjajjaabe, kamu buli nnyumba:
4
Oba mu nnyumba abalimu batono nga tebamalaawo kaliga, yeegattanga ne muliraanwa we asinga okumuba okumpi, okusinziira ku bungi bw'abantu. Obunene bw'akaliga mulibugerera ku buli omu ky'asobola okulya.
5
Akaliga kabanga kalume, ka mwaka gumu akataliiko kamogo; muyinza n'okulonda akabuzi.
6
Mukakuumanga okutuusa ku lunaku olw'ekkumi n'ennya olw'omwezi ogwo, olwo ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli ne bakatta akawungeezi.
7
Baddiranga ku musaayi gwako ne bagussa ku myango gyombi, ogw'obusimba n'ogw'obukiika, eby'ennyumba eyo mwe bakaliiridde.
8
Ekiro ekyo ennyama balyanga njokye ku muliro; bagiriirangako n'omugaati ogutazimbulukuse n'enva ezikaawa ez'ettale.
9
Temulyangako katundu kaayo n'akamu nga kabisi oba nga kafumbe mu mazzi, wabula nga kookye ku muliro, omutwe n'ebigere n'ebyenda byonna.
10
Temulekangawo kantu kutuusa nkeera. Oba waliwo ekisigaddewo mukyokyanga.
11
Mukalyanga bwe muti: Mwesibanga ekimyu mu kiwato, nga n'engatto zammwe zibali mu bigere byammwe; mukalyanga emiggo gyammwe gibali mu ngalo. Mukalyanga mu bwangu, anti eno ye Pasika y'Omukama.
12
Mu kiro ekyo kyennyini, ndiyita mu nsi y'e Misiri, ne nkuba ebiggulanda byonna mu nsi y'e Misiri: omuntu n'ensolo. Balubaale bonna ab'e Misiri ndibabonereza. Nze Mukama.
13
Omusaayi guliba akabonero ku mmwe, bwe ndiraba omusaayi, nga mbayitako ne muwona ekibonerezo eky'okuzikiriza ku olwo lwe ndikuba ensi y'e Misiri.
14
Olunaku luno munaalujjukiranga; mulukuzanga ng'embaga olw'Omukama, muli ba kulukuzanga amazadde gammwe gonna. Etteeka lino lya mirembe gyonna.
15
“ ‘Okumala ennaku musanvu munaalyanga migaati egitazimbulukuse. Ku lunaku olusooka, mu nnyumba zammwe, muggyangamu ekizimbulukusa, kubanga buli yenna alya emigaati egizimbulukuse okuva ku lunaku olusooka okutuusa ku lunaku olwomusanvu wa kukutulwanga ku Yisirayeli.
16
Ku lunaku olusooka kunaabangako olukuŋŋaana olutukuvu, era ne ku lunaku olwomusanvu. Ku nnaku ezo temukolerangako mulimu gwonna, okuggyako okutegeka emmere buli omu gy'anaalya. Ekyo kyokka kye muyinza okukola.
17
Embaga ey'Emigaati Egitazimbulukuse mugikuzanga, kubanga ku lunaku olwo lwennyini kwe ndiggyira ebibinja byammwe byonna mu nsi y'e Misiri. Olunaku olwo mulukuzanga amazadde gammwe gonna. Etteeka lino lya mirembe gyonna.
18
Mu mwezi ogw'olubereberye, okuva ku kawungeezi ak'olunaku olw'ekkumi n'ennya, okutuusa ku kawungeezi ak'olunaku olwabiri mu olumu, mulyanga migaati gitazimbulukuse.
19
Mu nnaku ezo omusanvu, mu nnyumba zammwe, temusangibwangamu kizimbulukusa, kubanga buli alirya emigaati egizimbulukuse, alikutulwa ku kibiina kya Yisirayeli, ne bw'aliba omugwira wadde omuzaaliranwa.
20
Temulyanga migaati gizimbulukuse; yonna gye mubeeranga mulyanga migaati gitazimbulukuse.’ ”
21
Musa n'atumya abakulu bonna aba Yisirayeli, n'abagamba nti: “Mugende mulondobemu akaliga ku lwa buli maka gammwe, mutte akaliga ka Pasika.
22
Muddire akaganda aka yissopo, mukannyike mu musaayi oguli mu kibya, musiige waggulu ku mwango ogw'obukiika ne ku gw'obusimba, erudda n'erudda; tewabangawo n'omu mu mmwe afuluma nnyumba mw'ali, okutuusa enkeera,
23
kubanga Omukama ajja kuyita mu nsi ng'agenda akuba Abamisiri. Bw'anaalaba omusaayi ku mwango ogwa waggulu ne ku myango erudda n'erudda, ajja kuyita buyisi ku mulyango gw'ennyumba, tajja kuleka oli azikiriza kujja ku nnyumba yammwe kubakuba.
24
Ekigambo kino mukikwatenga; tteeka ku ggwe n'abaana bo emirembe gyonna.
25
Bwe muliyingira mu nsi Omukama gy'alibawa nga bwe yasuubiza, emikolo gino mugikolanga.
26
N'abaana bammwe bwe bababuuzanga nti omukolo guno gulina makulu ki gye muli?
27
Mubabuuliranga nti: ‘Kye kitambiro kya Pasika ku lw'Omukama, eyayita ku nnyumba z'Abayisirayeli mu Misiri, amale atte Abamisiri, n'ataliza ennyumba zaffe.’ ” Abantu ne bavunnama ne basinza.
28
Abayisirayeli ne bagenda, ne bakola ng'Omukama bwe yali alagidde Musa ne Aroni.
29
Mu ttumbi, Omukama n'atta buli kiggulanda kyonna mu nsi y'e Misiri, okuva ku muggulanda wa Faraawo eyali atudde ku nnamulondo, okutuukira ddala ku w'omusibe mu kkomera na buli kiggulanda eky'ekisolo.
30
Faraawo n'azuukuka ekiro n'abakungu be bonna, n'Abamisiri bonna, ne wabaawo ebiwoobe binene mu Misiri, kubanga tewaaliwo nnyumba mutaali afudde.
31
Ekiro ekyo, Faraawo n'atumya Musa ne Aroni, n'agamba nti: “Musituke mmwe n'Abayisirayeli muve mu bantu bange; mugende musinze Omukama nga bwe mwali musabye.
32
Mutwale n'ebisibo byammwe, n'amagana gammwe nga bwe mwali musabye. Mugende, nange munsabire omukisa.”
33
Abamisiri nabo ne bapikiriza abantu banguwe, bave mu nsi nga bagamba nti: “Sikulwa nga ffenna tufa.”
34
Awo abantu ne bagenda nga basitudde ku bibegabega byabwe obutta obutazimbulukusiddwa mu bibbo mwe babugoyera, nga babizingidde mu ngoye.
35
Abayisirayeli era ne bakola nga Musa bwe yali abalagidde, ne basaba Abamisiri ebintu ebya ffeeza ne zaabu n'ebyambalo.
36
Omukama yawa abantu omukisa mu maaso g'Abamisiri, ne babawa bye baabasaba, ne baaya bwe batyo Abamisiri.
37
Abayisirayeli ne batambula okuva e Raamesesi ne balaga e Sukkoti, nga bawera obusiriivu mukaaga abaali ku bigere, abasajja bokka obutabala bakazi na baana.
38
N'abantu abalala bangi ne bambuka nabo, ssaako amagana g'endiga n'ag'ente mangi nnyo.
39
Ne bafumba obutta bwe baali baggye e Misiri, ne bakola obugaati obutazimbulukuse kubanga tebaalina kizimbulukusa, anti Abamisiri baabagobaganya nga tebasobola kulwa oba kwekolera ntanda n'emu.
40
Mu Misiri Abayisirayeli baali bamazeemu ebbanga lya myaka ebikumi bina mu asatu.
41
Era ku lunaku olwo lwennyini emyaka ebikumi ebina mu asatu lwe gyawererako, eggye lyonna ery'Omukama lwe lyava mu nsi y'e Misiri.
42
Ekiro kino Abayisirayeli ba kukimalangako nga batunula olw'okugulumiza Omukama kubanga yakimalako ng'atunula ng'abaggya mu nsi y'e Misiri. Awo nno Abayisirayeli bonna ba kukikuzanga nga batunula mu mazadde gonna agalijja.
43
Omukama n'agamba Musa ne Aroni nti: “Lino lye tteeka lya Pasika: Tewabangawo mugwira agiryako.
44
Naye omuddu yenna eyagulwa obugulibwa ne ssente, ayinza okwetabamu bw'aba nga mwamutayirira.
45
Omusenze wadde omupakasi takkirizibwa kugiryako.
46
Ya kuliirwa mu nnyumba emu yokka, awatali kufulumya bweru wa nnyumba ku nnyama yaayo. Temumenyangako ggumba na limu.
47
Ekibiina kyonna ekya Yisirayeli ba kukolanga ekyo buli omu.
48
Bwe wabangawo omugwira mu mmwe ate ng'ayagala okukuza Pasika ku lw'Omukama, buli musajja yenna ow'omu maka ge, ateekwa kubeera nga mutayirire olwo lw'ayinza okukkirizibwa ku mukolo, kubanga afuuse ng'omuzaaliranwa. Naye atali mutayirire, talyangako.
49
Etteeka lye limu likwata abazaaliranwa n'abagwira abatuuze mu mmwe.”
50
Abayisirayeli bonna ne bakola ng'Omukama bwe yali alagidde Musa ne Aroni.
51
Era ku lunaku olwo lwennyini Omukama n'aggya mu Misiri Abayisirayeli mu bibinja byabwe.
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 13 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40