bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Exodus 7
Exodus 7
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 8 →
1
Omukama n'agamba Musa nti: “Laba nkufudde Katonda eri Faraawo, ne Aroni muganda wo y'anaaba omulanzi wo.
2
Ggwe onoomubuulira bye nnaakulagira, olwo Aroni muganda wo n'abuulira Faraawo aleke Abayisirayeli bave mu nsi ye.
3
Naye nze nzija kugugubya omutima gwa Faraawo, nkole obubonero bwange n'ebikuuno byange mbyongere obungi mu nsi y'e Misiri.
4
Kyokka Faraawo talikuwuliriza; bwe ntyo ndissa omukono gwange ku Misiri ne neeyambisa ebibonerezo eby'amaanyi ne nzigya amagye gange, abantu bange Yisirayeli, mu nsi y'e Misiri.
5
Bwe ndigolola omukono gwange ku Misiri, ne nzigya Abayisirayeli mu nsi y'e Misiri, Abamisiri bonna balimanya nti nze Mukama.”
6
Musa ne Aroni ne bakola ekyo kyennyini ng'Omukama bwe yabalagira.
7
Okwogera eri Faraawo Musa nga wa myaka kinaana egy'obukulu, ate Aroni nga wa kinaana mu esatu.
8
Omukama n'agamba Musa ne Aroni
9
nti: “Faraawo bw'agamba nti ‘Mukoleewo ekyewuunyo;’ gamba Aroni nti: ‘Ddira omuggo gwo ogusuule wansi mu maaso ga Faraawo; gujja kufuuka omusota.’ ”
10
Awo Musa ne Aroni ne bagendera ddala eri Faraawo ne bakola ng'Omukama bwe yabalagira. Aroni n'asuula wansi omuggo gwe mu maaso ga Faraawo n'olukiiko lwe, ne gufuuka omusota.
11
Ne Faraawo n'ayita abagezigezi, abasawo, n'abalaguzi b'e Misiri ne bakola kye kimu n'obukodyo bwabwe.
12
Buli omu n'asuula omuggo gwe wansi, ne gifuuka emisota, kyokka omuggo gwa Aroni ne gumira emiggo gyabwe.
13
Naye Faraawo n'aguguba, n'atawuliriza Musa ne Aroni ng'Omukama bwe yali ayogedde.
14
Awo Omukama n'agamba Musa nti: “Faraawo agugubye, agaanyi okuleka abantu bange okugenda.
15
Faraawo ku makya, ajja kubeera ng'alaga ku Kiyira; mulindirire ku lubalama lwa Kiyira. Genda ng'okutte omuggo ogwafuuka omusota.
16
Mugambe nti: ‘Omukama Katonda w'Abeebureeyi, antumye okukugamba nti: Leka abantu bange bagende, bansinze mu ddungu. N'okutuusa kati, okyagaanyi okuwulira.’
17
Kale nno Omukama agambye nti: ‘Kuno kw'onoomanyira nga nze Mukama: nzija kukuba amazzi ga Kiyira n'omuggo gwe nkutte mu ngalo; gajja kufuuka omusaayi.
18
Ebyennyanja mu Kiyira bijja kufa, n'amazzi gajja kuwunya bubi ng'Abamisiri tebakyasobola kunywa mazzi ago.’ ”
19
Omukama n'agamba Musa nti: “Gamba Aroni nti: ‘Kwata omuggo gwo, ogololere omukono gwo ku mazzi g'e Misiri, ku migga gyabwe ne ku mikutu, ku bidiba byabwe ne ku buli kuŋŋaaniro ly'amazzi.’ Mu nsi yonna ey'e Misiri amazzi gajja kufuuka musaayi: agali mu ntiba ne mu nsuwa.”
20
Musa ne Aroni ne bakola ng'Omukama bwe yabalagira. N'asitula omuggo gwe mu maaso ga Faraawo n'ag'abakungu be bonna, n'akuba amazzi ga Kiyira, amazzi gonna mu Kiyira ne gafuuka omusaayi.
21
Ebyennyanja mu Kiyira ne bifa, omugga ne guwunya bubi, Abamisiri nga tebakyasobola kunywa mazzi ago, wonna mu Misiri nga musaayi.
22
N'abalaguzi b'e Misiri ne beeyamba obukodyo bwabwe, ne bakola kye kimu. Faraawo n'aguguba, n'atawuliriza Musa ne Aroni ng'Omukama bwe yali agambye.
23
Faraawo n'akyusa n'addayo mu lubiri lwe, kino n'atakissaako mutima n'akatono.
24
Abamisiri bonna ne basima ebidiba ku lubuubuuto lwa Kiyira nga banoonya amazzi ag'okunywa; kubanga baali tebakyasobola kunywa ku mazzi ga Kiyira.
25
Okuva Omukama lwe yakuba amazzi, waayita ennaku musanvu.
26
Awo Omukama n'agamba Musa nti: “Genda ewa Faraawo omugambe nti: ‘Omukama agamba bino: Leka abantu bange bagende bansinze.
27
Bw'onoobagaana okugenda, nze ensi yo yonna nzija kugikuba n'ebikere.
28
Kiyira ajja kubuna yenna ebikere, bijja kwambuka biyingire mu lubiri lwo ne mu kisenge kyo mw'osula, ne ku buliri bwo ne mu nnyumba z'abakungu bo, ne mu bantu bo, ne mu bubiga bwo, ne mu bibbo byo mwe bagoyera eŋŋano.
29
Ebikere bijja kukuwalampa n'abantu bo n'abakungu bo bonna.’ ”
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 8 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40