bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Exodus 13
Exodus 13
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 14 →
1
Omukama n'agamba Musa nti:
2
“Mpongera buli kiggulanda kyonna, ekiggulanda ekya buli lubuto eky'Abayisirayeli: abeere muntu oba kisolo, kyange.”
3
Musa n'agamba abantu nti: “Mujjukirenga olunaku luno lwe mwaviirako mu Misiri, mu nnyumba y'obuddu, kubanga Omukama yabaggyayo n'obuyinza bungi. Temulyanga nno kintu kirimu kizimbulukusa.
4
Olwa leero, mu mwezi gwa Abibu, lwe muvaayo.
5
Bwe kityo nno Omukama bw'akutuusanga mu nsi y'Abakanaani, Abakitti, Abaamori, Abakivi, n'Abayebusi, ensi gye yalayirira bajjajjaabo nti aligikuwa, ensi ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki, okuzanga omukolo guno mu mwezi guno.
6
Olyanga omugaati ogutazimbulukuse okumala ennaku musanvu; ate ku lunaku olwomusanvu okolanga embaga olw'Omukama.
7
Omugaati ogutazimbulukuse gwe gw'okulyanga ennaku ezo omusanvu. Tewali kirimu kizimbulukusa n'ekimu kirabikanga mu mmwe, wadde ekizimbulukusa mu kitundu kyammwe kyonna.
8
“Era ku olwo onnyonnyolanga omwana wo nti: ‘Kubanga Omukama ekyo kye yankolera lwe nava mu nsi y'e Misiri.’
9
Omukolo guno guliba ng'akabonero k'osibye ku mukono gwo oba ng'ekijjukizo ky'osibye ku kyenyi, etteeka ly'Omukama ne litakuva ku mimwa olubeerera, kubanga Omukama yakuggya mu nsi y'e Misiri n'omukono ogw'amaanyi.
10
Otuukirizanga etteeka lino mu kadde kaalyo akalagiddwa ebiro n'ebiro.
11
“Omukama bw'akutuusanga mu nsi y'Abakanaani nga bwe yakulayirira ggwe ne bajjajjaabo n'agikuwa,
12
Omukama omwawulizanga buli ekiggulanda ky'olubuto ekya buli kisolo kyo eky'awaka. Na buli mwana gwa nsolo omuggulanda nga musajja gwa Mukama.
13
Endogoyi eggula enda oginunuzangayo akaliga, bw'oba toginunudde otyo, ogimenyanga ensingo. Ku baana bo, buli muggulanda omulenzi, omununulanga.
14
Omwana wo bw'akubuuzanga nti: ‘Kino kitegeeza ki?’ Omuddangamu nti: ‘Omukama yatuggya mu nsi y'obuddu n'obuyinza obungi.
15
Faraawo bwe yagugubya omutima n'atatuleka kugenda, Omukama yatta ebiggulanda byonna eby'olubuto mu nsi y'e Misiri: omuntu n'ensolo. Kyenva ntambirira Omukama buli kisolo ekisajja ekiggulanda na buli muggulanda mu baana bange ne mbanunula.
16
Omukolo guliba ng'akabonero k'osiba ku mukono oba ng'ekintu ky'osiba ku kyenyi kyo kikujjukize, kubanga Omukama yatuggya mu Misiri n'obuyinza bungi.’ ”
17
Faraawo bwe yaleka abantu okugenda, Katonda teyabakwasa kkubo liraga mu nsi y'Abafilisitiini, newandibadde nga lye lyali ery'okumpi, kubanga Katonda yalowooza nti: “Bwe banaalaba obulabi ku lutalo bayinza okukyusa ekirowoozo ne baddayo mu Misiri.”
18
Kyeyava abakwasa ekkubo ery'eddungu eryetooloola okutuuka ku Nnyanja ey'Ebiwuuwa. Abayisirayeli baava mu Misiri nga bambalidde ddala ebyokulwanyisa.
19
Musa amagumba ga Yozefu yagenda nago. Yozefu yali alayizza Abayisirayeli ekirayiro. Yali agambye nti: “Mazima Katonda agenda kubalambula. Amagumba gange mugatwalanga okuva wano.”
20
Ne bava e Sukkoti ne basiisira e Etamu eri eddungu gye likoma.
21
Emisana Omukama yabakulemberangamu mu mpagi y'ekire okubalaga ekkubo, ate ekiro mu mpagi ey'omuliro okubamulisa, basobole okutambula bubeere misana oba kiro.
22
Empagi ey'ekire emisana n'empagi ey'omuliro ekiro teyaviirangawo ddala awo mu maaso g'abantu.
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 14 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40