bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Exodus 23
Exodus 23
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 22
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 24 →
1
“Tosaasaanyanga bya bulimba: towagiranga mubi n'oba otyo omujulirwa ow'ettima.
2
Tomalanga gagoberera kibiina mu kweyisa obubi, wadde ng'owa obujulizi mu mbuga abangi tebakusikirizanga kuzibira mazima.
3
Ne bw'abanga munaku, teweekubiiranga gy'ali mu musango gwe.
4
“Bw'osanganga ente oba endogoyi y'omulabe wo ng'etangatanga, ogizzangayo gy'ali.
5
Bw'olabanga endogoyi y'akukyawa ng'egudde, omugugu gwayo gugiguddeko, eky'okugireka okyewalanga, ogendanga n'ogimuyambako.
6
“Omwavu mu mmwe tomusalirizanga mu nsonga ze.
7
Obulimba obwekuumiranga wala. Tottanga ataliiko musango oba omutuukirivu, kubanga nze sigenda kwejjeereza mubi.
8
Tolyanga nguzi; kubanga enguzi eziba amaaso g'abalaba obulungi era egootaanya ensonga z'abatuukirivu.
9
“Totulugunyanga mugwira. Nammwe mumanyi obulumi bw'omugwira, anti nammwe mwali bagwira mu nsi y'e Misiri.
10
“Okumala emyaka mukaaga osiganga ennimiro yo n'okungula ebibala byayo.
11
Naye omwaka ogwomusanvu ogiwummuzanga, n'ogireka n'ezika, abaavu mu ggwanga lyo nabo balye; ekiribanga kisigaddemu ebisolo eby'ettale nabyo biryeko. Bw'otyo bw'okolanga n'ennimiro zo ez'emizabbibu n'ez'oliva.
12
“Okoleranga ennaku mukaaga, ku lwomusanvu n'owummula, ente yo n'endogoyi nabyo biwummuleko, omwana w'omuzaana wo n'ow'omugwira nabo baweereko.
13
“Byonna bye mbagambye, mubikwatenga. Temwatulanga erinnya lya lubaale; erinnya lye teriwulirwangako mu kamwa kammwe.
14
“Buli mwaka munkulizanga embaga enkulu emirundi esatu.
15
Embaga enkulu ey'Emigaati Egitazimbulukuse ogikuzanga. Omalanga ennaku musanvu ng'olya migati egitazimbulukuse nga bwe nakikugamba mu kadde akalagiddwa mu mwezi gwa Abibu, kubanga mu mwezi guno lwe wava mu Misiri. Tewabanga alabika mu maaso gange ngalo nsa.
16
Okuzanga n'Embaga ey'Amakungula g'ebibala ebisookera ddala ku ebyo bye wateganira ng'osiga mu nnimiro. Era n'Embaga ey'Okukuŋŋaanya ku nkomerero y'omwaka, lw'okuŋŋaanya bye wateganira mu nnimiro.
17
Buli musajja yenna mu mmwe aneeyolekanga emirundi esatu mu mwaka ew'Omukama ow'Obuyinza.
18
“Ekitambiro kyange eky'omusaayi totambirirangako kizimbulukusa, n'amasavu ag'oku mbaga yange tegasulangawo okutuusa enkeera.
19
“Ebibala ebisooka ebisinga obulungi eby'ettaka lyo obitwalanga mu nnyumba y'Omukama Katonda wo. Tofumbiranga kabuzi mu mata ga nnyina waako.
20
“Laba, nzija kutuma malayika mu maaso go, akukuume mu kkubo, akutuuse mu kifo kye nategeka.
21
Omussangamu ekitiibwa; owulirizanga eddoboozi lye. Tomujeemeranga, kubanga emisango gyo tagenda kugikusonyiwa, anti alina mu ye erinnya lyange.
22
Naye bw'olimuwulira obulungi n'okola buli kye ŋŋamba, abalabe bo nange ndiba mulabe waabwe, abakutulugunya nange ndibatulugunya.
23
Malayika wange alikukulemberamu n'akuyingiza mu nsi y'Abaamori, Abakitti, Abaperizzi, Abakanaani, Abakivi, n'Abayebusi, be ndizikiriza.
24
Tovunnamiranga balubaale baabwe, tobaweerezanga. Tokolanga nga bwe bakola, wabula balubaale obamerengulanga n'empagi zaabwe n'ozimenyawo.
25
Muweerezenga Omukama Katonda wammwe, lwe ndiwa omukisa emmere yammwe n'amazzi; ndibamalamu endwadde.
26
Mu nsi yo temuliba avaamu lubuto, wadde omugumba. Ndijjuza omuwendo gw'ennaku z'obulamu bwo.
27
“Ndikukulembezaamu entiisa yange, abo bonna abajja okukulwanyisa ndibatabula n'abalabe bo bonna ne bakudduka.
28
Ndikukulembezaamu ennumba ne zigoba Omukivi, Omukanaani n'Omukitti mu maaso go.
29
Sijja kubagoba mu mwaka gumu gwokka, ensi ereme kukufuukira ddungu, n'ebisolo okubaalira.
30
Nzija kugenda nga mbagoba mpolampola nga naawe bw'ogenda ozaala olye ensi.
31
Ensalo zo nzija kuzissa: okuva ku Nnyanja ey'Ebiwuuwa okutuuka ku nnyanja y'Abafilisitiini, n'okuva ku ddungu okutuuka ku Mugga; bannansi b'omwo nzija kubawaayo mu mikono gyammwe, nzija kubagobawo we muli.
32
Tokolanga nabo endagaano, wadde okugikola ne balubaale baabwe.
33
Tebabeeranga mu nsi yo, sikulwa nga bakuleetera okunjeemera. Bw'oliweereza balubaale baabwe, ddala baliba mutego gy'oli.”
← Chapter 22
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 24 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40