bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Exodus 22
Exodus 22
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 21
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 23 →
1
Omubbi bw'asangibwa ng'amenya ennyumba, amala akubibwa n'afa, amusse taavunaanibwenga gwa kuyiwa musaayi.
2
“Omubbi y'anaaliwanga. Oba talina kantu, atundibwanga okusasulira by'abbye. Naye kino bwe kibaawo ng'enjuba evuddeyo, amusse anaavunaanibwanga ogw'okuyiwa omusaayi; anaaliwanga.
3
Ensolo gy'abbye bwe bamukwatanga nayo olubona nga nnamu, oba nte oba endogoyi oba endiga, asasulanga emirundi ebiri.
4
“Omuntu bw'atwalanga ebisolo bye ku ttale oba mu nnimiro y'emizabbibu okulya, amala abireka okuliira mu nnimiro y'omulala, anaaliwanga ng'aggya ku kitundu ky'ennimiro ye oba emizabbibu gye ekisingira ddala obulungi.
5
“Omuliro bwe gukwatanga ne gusaasaana ne gukoleeza obusaka bw'amaggwa ne guzikiriza eŋŋano entuume, oba etennakungulwa mu musiri, eyagukoleezezza anaawanga engassi.
6
“Oli bw'abanga ateresezza omulala ssente oba ebintu, bimala bibbirwa mu nnyumba ye, singa omubbi asobola okukwatibwa, anaateekwanga okusasula emirundi ebiri;
7
singa omubbi takwatibwa, nnannyini nnyumba ateekwa okukakasa mu maaso ga Katonda nti teyakwata ku bintu bya munne.
8
Mu buli nsonga edda ku misango gy'ente, endogoyi, endiga, ekyambalo, oba ekintu kyonna ekibuze omu ky'agamba nti: ‘Kino kyange,’ enkaayana zaabwe zinaaletebwanga mu maaso ga Katonda, Katonda gw'anaasingisanga omusango, anaasasulanga omulala emirundi ebiri.
9
“Oba omuntu yasibira ewa munne endogoyi, ente, endiga oba ekisolo ekirala kyonna, kimala kifa oba ne kimenyeka, oba ne kitwalibwa awatali mujulirwa,
10
ekirayiro ew'Omukama kye kinaasalangawo wakati w'enjuyi zombi oba ng'eyateresebwa yakwata ku kintu ky'omulala oba nedda. Nnannyinikyo anakkirizanga ekirayiro, n'oli taaliwenga kantu.
11
Naye oba ng'ekisolo kyamubbibwako, ateekwa okuwa nnannyinikyo engassi.
12
Naye oba ekisolo ensolo enkambwe ye yakirya ateekwa okuleeta ebitaaguju bubeere obujulizi; olwo tagenda kuliwa.
13
“Omuntu bwe yeeyazika ekisolo ku mulala, ne kimenyeka oba ne kifa nga nnannyinikyo taliiwo, eyakyeyazika ateekwa okuliwa.
14
Naye obanga nnannyinikyo abadde waali, ne kifa, eyeeyazika taaliwenga kantu. Nnannyinikyo bw'aba nga yali akipangisizza bupangisa, ssente ez'okukipangisa anaazifunanga.
15
“Omuntu bw'asendasendanga omuwala embeerera atannayogerezebwa ne yeebaka naye, anaasalirwanga omutwalo n'amuwasa.
16
Kitaawe bw'agaaniranga ddala okumumuwa, omusenzisenzi anaasasulanga omuwendo gwa ssente ogwenkana omutwalo oguwasa omuwala embeerera.
17
“Omukazi omulogo, tomulekanga kulama.
18
“Buli yenna akabawala n'ekisolo wa kuttibwanga.
19
“Buli yenna atambirira balubaale n'atatambirira Mukama yekka, wa kuzikirizanga.
20
“Tobonyaabonyanga mugwira wadde okumutulugunya, anti nammwe mwennyini mwaliko abagwira mu nsi y'e Misiri.
21
Tokoleranga bubi nnamwandu oba mulekwa.
22
Bwe mulibakolera obubi, bamala bankubira omulanga, ŋŋenda kuguwulira.
23
Obusungu bwange bugenda kwesera, mbatte n'ekitala; olwo abakazi bammwe balifuuka bannamwandu n'abaana bammwe, bamulekwa.
24
“Singa wabaawo gw'owola ssente, omunaku mu bantu bange b'oli nabo, tomuwolanga ng'omuwozi wa ssente bw'akola, tomusabanga magoba.
25
“Bw'otwalanga ekizibawo kya munno ng'omusingo, okimuddizanga ng'enjuba tennagwa.
26
“Anti kye ky'okwebikka kyokka ky'alina, ekizibawo ky'abikkirira omubiri gwe; ate aneebaka mu ki? Bw'anankowoola, nzija kumuwulira, kubanga ndi musaasizi.
27
“Tovumanga Katonda era toyogeranga bubi ku mufuzi w'abantu bo.
28
“Tolwangawo kutona ku bingi by'okungudde ne by'osogodde. Onompanga omuggulanda mu baana bo.
29
Onookolanga kye kimu ku nte zo ne ku ndiga zo. Ekiggulanda kisigalanga ne nnyina waakyo ennaku musanvu, ku lunaku olwomunaana ne mukimpa.
30
“Mubeeranga bantu bange batukuvu. Ennyama y'ensolo etaaguliddwa ku ttale temugiryanga, mugisuuliranga mbwa.”
← Chapter 21
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 23 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40