bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Exodus 34
Exodus 34
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 33
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 35 →
1
Omukama n'agamba Musa nti: “Bajjayo empande bbiri ez'amayinja eziri nga ziri ezaasooka, nziwandiikeko ebigambo ebyali ku mpande ezaasooka ze wayasa.
2
Weetegeke enkya, olinnye ku lusozi Sinayi nga mmambya asala, onneeyanjulirire eyo ku ntikko y'olusozi.
3
Tewabaawo alinnya naawe; tewalabika omuntu n'omu ku lusozi, wadde endiga oba ente si za kuliira mu maaso ga lusozi luno.”
4
Musa n'abajja empande ez'amayinja bbiri eziri nga ziri ezaasooka. Bwe yagolokoka ku makya, n'alinnya olusozi Sinayi, ng'Omukama bwe yali amulagidde, ng'akutte empande ez'amayinja ebbiri.
5
Omukama n'akkiririra mu kire. Musa n'ayimirira naye eyo, n'akoowoola erinnya lye, Mukama.
6
Omukama n'ayita mu maaso ge, ng'alaamiriza nti: “Omukama, Omukama, Katonda ow'ekisa, omusaasizi, atasunguwala mangu, ajjudde ekisa n'obwesigwa,
7
akuumira enkumi ekisa kye, asonyiwa ekyonoono, obujeemu, n'ekibi, sso nga taleka kya kubonereza nga tekibonerezeddwa, abonereza ekyonoono ky'abazadde abasajja mu batabani baabwe ne mu bazzukulu okutuuka ku zzadde eryokusatu n'eryokuna.”
8
Amangu ago Musa n'avunnama ku ttaka n'asinza.
9
N'agamba nti: “Mukama, oba ddala nga nsanze ekisa mu maaso go, nkwegayiridde Mukama wange agende naffe. Newandibadde bantu ba nsingo nkakanyavu, tusonyiwe ebisobyo n'ebibi byaffe, otwebonanye ng'obusika bwo.”
10
Omukama n'agamba nti: “Laba nkola naawe endagaano. Mu maaso g'abantu bonna nzija kukola ebyewuunyisa bingi ebitakolebwanga mu nsi ndala oba mu ggwanga ddala. Abantu bonna mw'oli baliraba Omukama ky'akola, kubanga by'alikukolera biriba bya ntiisa.
11
Kale kwata bye nkulagira olwa leero. Ŋŋenda kubagoberawo Abaamori, Abakanaani, Abakitti, Abaperizzi, Abakivi n'Abayebusi.
12
Wekkaanye: tokolanga endagaano ne bannansi b'omu nsi eyo gy'ogenda okuyingiramu sikulwa nga babafuukira omutego mu makkati gammwe.
13
Naye emyaliiro gyabwe mugimenyangawo, amayinja gaabwe agayimiridde mugaasaayasanga, n'empagi zaabwe eza Asera muzitemanga.
14
Tovunnamiranga lubaale, kubanga Omukama wa buggya, erinnya lye ye Katonda ow'Obuggya.
15
Tokolanga endagaano ne bannansi b'omu nsi eyo, sikulwa nga bwe bakola obwamalaaya ne balubaale baabwe ne babatambirira, babayita ne mugabana ku bitambiro byabwe.
16
Sikulwa nga batabani bo obafunira abakazi mu bawala baabwe; bo bwe balimala okukola obwamalaaya ne balubaale baabwe, ne bakoza batabani bo obwamalaaya ne balubaale baabwe.
17
“Tewekoleranga balubaale basaanuuse.
18
“Okuzanga embaga ey'Emigaati Egitazimbulukuse. Omalanga ennaku musanvu ng'olya migaati egitazimbulukuse, nga bwe nakulagira, mu budde obulagiddwa mu mwezi gw'Abibu, anti mu mwezi ogwo Abibu mwe waviira mu Misiri.
19
“Buli kiggulanda ky'olubuto kyange: buli kyonna ekisajja mu nsolo zo ez'awaka ekiggulanda mu nte oba mu ndiga.
20
Naye endogoyi eggula enda oginunuzangayo akaliga: bw'obanga tooginunule, ogimenyanga ensingo. Na buli mutabani wo omuggulanda omununulanga; tewabanga n'omu alabika mu maaso gange ngalo nsa.
21
“Onookoleranga ennaku mukaaga, ku lunaku olwomusanvu n'owummula; oliwummula ne bwe buba budde bwa kulima oba bwa makungula.
22
“Okuzanga Embaga eya Wiiki, n'Embaga y'Amakungula ag'ebibala ebibereberye eby'eŋŋano, n'Embaga y'Okukuŋŋaanya ku nkomerero y'omwaka.
23
“Buli musajja yenna mu ggwe aneeyolekanga emirundi esatu mu mwaka mu maaso g'Omukama ow'Obuyinza, Katonda wa Yisirayeli.
24
“Anti bwe ndimala okukuggyirawo amawanga n'okugaziya ensalo zo, tewaliba yeegomba nsi yo ng'ogenze okweyoleka mu maaso g'Omukama emirundi esatu buli mwaka.
25
“Ekitambiro kyange eky'omusaayi totambirirangako kizimbulukusa, n'ekitambiro ekiweerezebwa ku Mbaga ya Pasika tekisulangawo okutuusa enkeera.
26
“Ebibala ebisooka ebisinga obulungi eby'ettaka lyo obitwalanga mu nnyumba y'Omukama Katonda wo. Tofumbiranga kabuzi mu mata ga nnyina waako.”
27
Omukama yagamba Musa nti: “Wandiika ebigambo bino, kubanga nga bwe biri bwe nkoze Endagaano naawe ne Yisirayeli.”
28
Musa yasigala n'Omukama okumala ennaku amakumi ana n'ebiro amakumi ana, nga talidde mugaati wadde okunywa otuzzi. N'awandiika ku mpande ebigambo by'Endagaano, Ebigambo Ekkumi.
29
Musa bwe yaserengeta ng'ava ku lusozi Sinayi, yajja akutte mu ngalo ze, empande ebbiri ez'Endagaano; teyamanya ng'olususu lw'ekyenyi kye lwali lutangalijja oluvannyuma lw'okunyumya n'Omukama.
30
Awo Aroni n'Abayisirayeli ne balaba nga Musa olususu lw'ekyenyi kye lutangalijja, ne batya okumusemberera.
31
Naye Musa n'abayita, Aroni n'abakulembeze b'ekibiina bonna ne bakomawo gy'ali, n'ayogera gye bali.
32
Oluvannyuma Abayisirayeli bonna ne basembera, n'abatuusaako ebiragiro byonna Omukama bye yali amuwadde ku lusozi Sinayi.
33
Musa bwe yamala okwogera nabo, n'assa ekiremba ku maaso ge.
34
Buli lwe yagendanga mu maaso g'Omukama okwogera naye, ng'abikkula ekiremba, okutuusa ate lwe yafulumanga. Ate bwe yafulumanga n'abuulira Abayisirayeli byonna bye yabanga alagiddwa.
35
Abayisirayeli baalabanga amaaso ga Musa ng'olususu lw'ekyenyi kya Musa lutangalijja, ye n'addamu okubikka amaaso ge ekirembe okutuusa lwe yayingiranga okwogera n'Omukama.
← Chapter 33
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 35 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40