bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Exodus 15
Exodus 15
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 16 →
1
Awo Musa n'Abayisirayeli ne bayimbira Omukama oluyimba luno, ne bagamba nti: “Ka nnyimbire Omukama oluyimba, kubanga ddala assukkulumye; embalaasi n'omwebagazi abikasuse mu nnyanja.
2
Omukama ge maanyi gange, lye ttendo lyange, anfuukidde obulokofu. Ye Katonda wange nzija kumutenda, Katonda wa Jjajjange nzija kumugulumiza
3
Omukama mutabaazi; erinnya lye ye Mukama.
4
Ebigaali bya Faraawo n'eggye lye abikasuse mu nnyanja; abagabe be ab'oku bigaali batokomokedde mu Nnyanja ey'Ebiwuuwa.
5
Eddubi libaziise, basse ku ntobo y'ennyanja ng'ejjinja.
6
Omukono gwo ogwa ddyo, ayi Mukama, gwa kitiibwa n'obuyinza; omukono gwo ogwa ddyo, ayi Mukama, guseseggudde omulabe.
7
N'obusukkirivu bw'ekitiibwa kyo, abakuwakanya obalindizze wansi; wata obusungu bwo, ne bubakavvula ng'akasubi obusubi.
8
Bwe wassa oti mu mivumbo gyo, amazzi ne geetuuma; amayengo geesimba ng'ekisenge, amazzi ag'omu ddubi ne geekuŋŋaanyiza mu makkati g'ennyanja.
9
Omulabe n'agamba nti: ‘Nzija kuwondera, mpambe. Nzija kugabanya omunyago, omwoyo gwange kinaagutoowolola. Nzija kusowola ekitala kyange, omukono gwange gunaabazikiriza.’
10
Bwe wafuuwa n'ekikkowe kyo, ennyanja n'ebabikka; bakka ng'essasi mu mazzi ag'entiisa.
11
Mukama, ani ali nga ggwe mu balubaale? Ani akufaanana mu kitiibwa ne mu butuukirivu, ow'entiisa, atendebwa, akola ebyamagero?
12
Wagolola ddyo wo ensi n'ebamira.
13
Mu kisa kyo wakulembera abantu bo be wanunula; n'amaanyi go olibatwala eri ekisulo kyo ekitukuvu.
14
Amawanga bwe gaawulira ne gakankana, Okulumwa ng'okw'okuzaala ne kukwata abatuuze b'omu Filisitiya.
15
Olwo abaami b'omu Edomu ne batengera; ab'obuyinza mu Mowabu ne bakwatibwa ensisi; abantu b'e Kanaani ne batekemuka.
16
Okutya n'ensisi bibakutte; olw'obuyinza bw'omukono gwo, bakalambadde ng'ejjinja, okutuusa abantu bo lwe banaayitawo; Mukama, okutuusa lwe banaayitawo, abantu bo bano be weefunira.
17
Olibatwala n'obasimba ku lusozi olw'obusika bwo, ekifo kye wakolera ekisulo kyo, Mukama, ekifo kyo ekitukuvu; Mukama, emikono gyo kye gyanyweza.
18
Omukama aliramula emirembe n'emirembe.”
19
Eggye lya Faraawo bwe lyayingira ennyanja, n'ebigaali bye n'abeebagazi, Omukama n'azza ku bo amazzi g'ennyanja, sso ng'Abayisirayeli baatambulira ku ttaka kkalu mu makkati gaayo.
20
Miriyamu omulanzi, mwannyina Aroni n'akwata akagoma, abakazi bonna ne bavaayo ne bamugoberera n'obugoma nga bazina.
21
Miriyamu n'abakulemberamu ng'ayimba nti: “Muyimbire Omukama, kubanga ddala asukkulumye; embalaasi n'omwebagazi abikasuse mu nnyanja.”
22
Awo Musa n'akulembera Yisirayeli ng'amuggya mu Nnyanja ey'Ebiwuuwa, ne balaga mu ddungu ly'e Suru. Ne batambulira ennaku ssatu mu ddungu, nga tebasanze tuzzi n'akatono.
23
Ne batuuka e Mara, ne batasobola kunywa mazzi g'e Mara, gaali gakaawa. Ekifo ekyo kyekyava kituumibwa Mara.
24
Abantu ne bemulugunyiza Musa, ne bagamba nti: “Tunaanywa ki?”
25
Musa n'awanjagira Omukama. Omukama n'amulaga ekitundu ky'omuti; Musa n'agusuula mu mazzi, amazzi ne gawooma. Eyo Omukama gye yabassizaako ekiragiro n'etteeka. Eyo gye yabassiza ku kigezo.
26
N'agamba nti: “Ggwe wamma, bwe muliwulira n'obwegendereza eddoboozi ly'Omukama Katonda wammwe, ne mukola ekituufu mu maaso ge, bwe mulissa omwoyo ku biragiro bye ne mukwata amateeka ge gonna, sigenda kubaleetera ndwadde ze naleetera Abamisiri, kubanga Nze Mukama akuwonya.”
27
Awo ne batuuka e Elimu nga waliwo enzizi kkumi na bbiri ez'amazzi, n'enkindu nsanvu, ne bakuba awo olusiisira okumpi n'amazzi.
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 16 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40