bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Numbers 1
Numbers 1
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 2 →
1
Awo Mukama n'ayogera ne Musa mu ddungu ly'e Sinaayi, mu Weema ey'okusisinkanirangamu, ku lunaku olwolubereberye olw'omwezi ogwokubiri, mu mwaka ogwokubiri ng'abaana ba Isiraeri bamaze okuva mu nsi y'e Misiri, ng'agamba nti,
2
“Mubale omuwendo gw'ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri, ng'enda zaabwe bwe ziri, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe ziri, era mubale abasajja bonna kinnoomu, muwandiike amannya gaabwe gonna.
3
Ggwe ne Alooni mujja kubala abasajja bonna mu Isiraeri abawezezza emyaka abiri (20) n'okusingawo, abasobola okugenda okutabaala, nga mubabalira mu bibinja byabwe.
4
Mu buli kika mujja kuvaamu omukulu w'ennyumba ya kitaawe, akole nammwe.
5
Era gano ge mannya g'abasajja abanaakola nammwe: okuva mu kika kya Lewubeeni, Erizuuli mutabani wa Sedewuli.
6
Okuva mu kika kya Simyoni, Serumiyeeri mutabani wa Zulisadaayi.
7
Okuva mu kika kya Yuda, Nakusoni mutabani wa Amminadaabu.
8
Okuva mu kika kya Isakaali, Nesaneeri mutabani wa Zuwaali.
9
Okuva mu kika kya Zebbulooni, Eriyaabu mutabani wa Keroni.
10
Mu baana ba Yusufu: okuva mu Efulayimu, Erisaama mutabani wa Ammikudi; okuva mu Manase, Gamalyeri mutabani wa Pedazuuli.
11
Okuva mu kika kya Benyamini, Abidaani mutabani wa Gidiyooni.
12
Okuva mu kika kya Ddaani, Akiyezeeri mutabani wa Amisadaayi.
13
Okuva mu kika kya Aseri, Pagiyeeri mutabani wa Okulaani.
14
Okuva mu kika kya Gaadi, Eriyasaafu mutabani wa Deweri.
15
Okuva mu kika kya Nafutaali, Akira mutabani wa Enani.”
16
Abo be baalondebwa okuva mu kibiina, okubeera abakulu b'ebika bya bakitaabwe; era be bakulembeze b'enkumi za Isiraeri.
17
Awo Musa ne Alooni ne batwala abasajja abo abaatuddwa amannya,
18
ne bakuŋŋaanya ekibiina kyonna ku lunaku olwolubereberye olw'omwezi ogwokubiri, ne baatula obuzaale bwabwe ng'enda zaabwe bwe zaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, ng'omuwendo gw'amannya gaabwe bwe gwali, abawezezza emyaka abiri (20) n'okukirawo, ng'emitwe gyabwe bwe gyali.
19
Nga Mukama bwe yalagira Musa, bw'atyo bwe yababalira mu ddungu ly'e Sinaayi.
20
Ab'ekika kya Lewubeeni, omubereberye wa Isiraeri, ng'obuzaale bwabwe bwe bwali, ng'enda zaabwe bwe zaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, ng'omuwendo gw'amannya gaabwe bwe gwali, ng'emitwe gyabwe bwe gyali, buli musajja eyali awezezza emyaka abiri n'okusingawo, bonna abaali basobola okutabaala;
21
abaabalibwa ku bo, mu kika kya Lewubeeni, baali emitwalo ena mu kakaaga mu bitaano (46,500).
22
Ab'ekika kya Simyoni ng'obuzaale bwabwe bwe bwali, ng'enda zaabwe bwe zaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, ng'omuwendo gw'amannya gaabwe bwe gwali, ng'emitwe gyabwe bwe gyali, buli musajja eyali awezezza emyaka abiri (20) n'okusingawo, bonna abaali basobola okutabaala;
23
abaabalibwa ku bo, mu kika kya Simyoni, baali emitwalo etaano mu kenda mu bisatu (59,300).
24
Ab'ekika kya Gaadi ng'obuzaale bwabwe bwe bwali, ng'enda zaabwe bwe zaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, ng'omuwendo gw'amannya gaabwe bwe gwali, ng'emitwe gyabwe bwe gyali, buli musajja eyali awezezza emyaka abiri (20) n'okusingawo, bonna abaali basobola okutabaala;
25
abaabalibwa ku bo, ku kika kya Gaadi, baali emitwalo ena mu enkumi ttaano mu lukaaga mu ataano (45,650).
26
Ab'ekika kya Yuda, ng'obuzaale bwabwe bwe bwali, ng'enda zaabwe bwe zaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, ng'omuwendo gw'amannya gaabwe bwe gwali, ng'emitwe gyabwe bwe gyali, buli musajja eyali awezezza emyaka abiri (20) n'okusingawo, bonna abaali basobola okutabaala;
27
abaabalibwa ku bo, mu kika kya Yuda, baali emitwalo musanvu mu enkumi nnya mu lukaaga (74,600).
28
Ab'ekika kya Isakaali, ng'obuzaale bwabwe bwe bwali, ng'enda zaabwe bwe zaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, ng'omuwendo gw'amannya gaabwe bwe gwali, ng'emitwe gyabwe bwe gyali, buli musajja eyali awezezza emyaka abiri (20) n'okusingawo, bonna abaali basobola okutabaala;
29
abaabalibwa ku bo, mu kika kya Isakaali, baali emitwalo etaano mu enkumi nnya mu bina (54,400).
30
Ab'ekika kya Zebbulooni, ng'obuzaale bwabwe bwe bwali, ng'enda zaabwe bwe zaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, ng'omuwendo gw'amannya gaabwe bwe gwali, ng'emitwe gyabwe bwe gyali, buli musajja eyali awezezza emyaka abiri (20) n'okusingawo, bonna abaali basobola okutabaala;
31
abaabalibwa ku bo mu kika kya Zebbulooni, baali emitwalo etaano mu kasanvu mu bina (57,400).
32
Mu baana ba Yusufu; okuva mu Efulayimu ng'obuzaale bwabwe bwe bwali, ng'enda zaabwe bwe zaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, ng'omuwendo gw'amannya gaabwe bwe gwali, abawezezza emyaka abiri (20) n'okusingawo, bonna abaali basobola okutabaala;
33
abaabalibwa ku bo, mu kika kya Efulayimu, baali emitwalo ena mu bitaano (40,500).
34
Okuva mu kika kya Manase, ng'obuzaale bwabwe bwe bwali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, ng'omuwendo gw'amannya gaabwe bwe gwali, abaali bawezezza emyaka abiri (20) n'okusingawo, bonna abaali basobola okutabaala;
35
abaabalibwa ku bo, mu kika kya Manase, baali emitwalo esatu mu enkumi bbiri mu bibiri (32,200).
36
Ab'ekika kya Benyamini, ng'obuzaale bwabwe bwe bwali, ng'enda zaabwe bwe zaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, ng'omuwendo gw'amannya gaabwe bwe gwali, buli musajja eyali awezezza emyaka abiri (20) n'okusingawo, bonna abaali basobola okutabaala;
37
abaabalibwa ku bo, ku kika kya Benyamini, baali emitwalo esatu mu enkumi ttaano mu bina (35,400).
38
Ab'ekika kya Ddaani, ng'obuzaale bwabwe bwe bwali, ng'enda zaabwe bwe zaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, ng'omuwendo gw'amannya gaabwe bwe gwali, ng'emitwe gyabwe bwe gyali, buli musajja eyali awezezza emyaka abiri (20) n'okusingawo, bonna abaali basobola okutabaala;
39
abaabalibwa ku bo, ku kika kya Ddaani, baali emitwalo mukaaga mu enkumi bbiri mu lusanvu (62,700).
40
Ab'ekika kya Aseri, ng'obuzaale bwabwe bwe bwali, ng'enda zaabwe bwe zaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, ng'omuwendo gw'amannya gaabwe bwe gwali, ng'emitwe gyabwe bwe gyali, buli musajja eyali awezezza emyaka abiri (20) n'okusingawo, bonna abaali basobola okutabaala;
41
abaabalibwa ku bo, mu kika kya Aseri, baali emitwalo ena mu lukumi mu bitaano (41,500).
42
Ab'ekika kya Nafutaali, ng'obuzaale bwabwe bwe bwali, ng'enda zaabwe bwe zaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, ng'omuwendo gw'amannya gaabwe bwe gwali, ng'emitwe gyabwe bwe gyali, buli musajja eyali awezezza emyaka abiri (20) n'okusingawo, bonna abaali basobola okutabaala;
43
abaabalibwa ku bo, mu kika kya Nafutaali, baali emitwalo etaano mu enkumi ssatu mu bina (53,400).
44
Abo be baabalibwa Musa ne Alooni, nga bayambibwako abakulembeze ba Isiraeri ekkumi n'ababiri; buli muntu mu nnyumba ya kitaawe.
45
Bwe batyo bonna abaabalibwa ku baana ba Isiraeri ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, abawezezza emyaka abiri (20) n'okusingawo, bonna abaali basobola okutabaala mu Isiraeri;
46
baali obusiriivu mukaaga mu enkumi ssatu mu bitaano mu ataano (603,550).
47
Naye ab'omu kika kya Leevi, tebaabalibwa ng'ebika ebirala.
48
Kubanga Mukama yagamba Musa nti,
49
“Ekika kya Leevi kyokka kyo tokibalanga, so tobalanga muwendo gwabwe mu baana ba Isiraeri,
50
naye Abaleevi obafuule abakulu b'Eweema ey'okusisinkanirangamu, era ab'ebintu byayo byonna ebigenderako. Banaasitulanga Eweema, n'ebintu byayo byonna; era be banaabanga abaweereza mu yo, era banaasiisiranga okugyetooloola.
51
Era Eweema bw'eneebanga egenda okutambuzibwa, Abaleevi be banaagisimbulanga; era bw'eneebanga esimbibwa, be banaagisimbanga. Munnaggwanga anaagisembereranga anattibwanga.
52
Era abaana ba Isiraeri banaasimbanga eweema zaabwe, buli muntu okuliraana n'olusiisira lwe ye, era buli muntu okuliraana n'ebendera ye ye, ng'eggye lyabwe bwe liri.
53
Naye Abaleevi banaasiisiranga okwetooloola Eweema ey'okusisinkanirangamu, abaana ba Isiraeri baleme okusunguwalirwa; era Abaleevi banaabanga n'omulimu ogw'okukuuma Eweema.”
54
Abaana ba Isiraeri bwe batyo bwe baakola nga byonna bwe byali Mukama bye yalagira Musa.
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36