bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Numbers 20
Numbers 20
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 21 →
1
Awo ekibiina kyonna ekya baana ba Isiraeri, ne batuuka mu ddungu lya Zini mu mwezi ogwolubereberye, ne batuula mu Kadesi; Miryamu n'afiira eyo era n'aziikibwa eyo.
2
Ekibiina ne kibulwa amazzi, ne bakuŋŋaanira awali Musa ne Alooni.
3
Abantu ne bayombesa Musa nga bagamba nti, “Singa naffe twafa baganda baffe bwe baafiira mu maaso ga Mukama!
4
Era mwaleetera ki ekibiina kya Mukama mu ddungu muno, ffe okufiira omwo, n'ebisibo byaffe?
5
Era mwatuggira ki mu Misiri okutuleeta mu kifo kino ekibi, ekitaliimu ŋŋaano, omutali ttiini, omutali mizabbibu, so si kya mikomamawanga; wadde amazzi ag'okunywa?”
6
Musa ne Alooni ne bava mu maaso g'ekibiina ne bagenda ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu, ne beeyala ku ttaka nga beevuunise, ekitiibwa kya Mukama ne kibalabikira.
7
Mukama n'agamba Musa nti,
8
“Ddira omuggo ogwo, okuŋŋaanye ekibiina, ng'oli wamu ne Alooni muganda wo, mulagire olwazi olwo, bonna nga balaba, luveemu amazzi. Bw'otyo bw'on'obaggyira amazzi mu lwazi onywese ekibiina ky'abantu n'ebisibo byabwe.”
9
Musa n'addira omuggo ng'aguggya mu maaso ga Mukama, nga bwe yamulagira.
10
Musa ne Alooni ne bakuŋŋaanyiza ekibiina mu maaso g'olwazi, Musa n'abagamba nti, “Muwulire nno, mmwe abajeemu; tetuyinza ffe kubaggyira amazzi mu lwazi luno?”
11
Musa n'ayimusa omukono gwe, n'akuba olwazi n'omuggo gwe emirundi ebiri; ne muvaamu amazzi, abantu bonna ne banywa n'ebisibo byabwe.
12
Mukama n'agamba Musa ne Alooni nti, “Olw'okubanga temuneesize okukola nga bwe nnabalagidde, okumpeesa ekitiibwa mu maaso g'abaana ba Isiraeri, kye muliva mulema okuyingiza ekibiina kino mu nsi gye mbawadde.”
13
Ago ge mazzi ag'e Meriba; abaana ba Isiraeri gye beemulugunyiza Mukama, n'abalaga nga bw'ali omutukuvu.
14
Musa n'atuma ababaka ng'ayima e Kadesi eri Kabaka w'e Edomu, n'amugamba nti, “Omanyi ennaku zonna ezatuuka ku Isiraeri muganda wo.
15
Bajjajjaffe baagenda e Misiri, ne tubeera mu Misiri okumala emyaka mingi. Abamisiri ne babonyaabonya bajjajjaffe naffe.
16
Awo bwe twakaabirira Mukama, n'awulira eddoboozi lyaffe, n'atuma malayika n'atuggya mu Misiri; era, laba, kaakano tuli mu Kadesi, ekibuga ekiri ku nsalo n'ensi yo.
17
Tukwegayiridde katuyite mu nsi yo; tetuliyita mu nnimiro newakubadde mu lusuku lw'emizabbibu, so tetulinywa ku mazzi ag'omu nzizi; naye tulitambulira mu luguudo kabaka, lw'alitulagira. Tetulikyamira ku mukono ogwa ddyo, newakubadde ogwa kkono, okutuusa lwe tulimalira ddala okuyita mu nsi yo.”
18
Edomu n'amugamba nti, “ Tojja kuyita mu nsi yaffe, bw'olikikola nja kubalwanyisa.”
19
Abaana ba Isiraeri ne bamugamba nti, “Tuliyita mu luguudo mwokka; bwe tunaanywanga ku mazzi go, ffe n'ebisibo byaffe, kale tunagasasuliranga. Nkwegayiridde tukkirize tuyitemu buyisi n'ebigere.”
20
N'agamba nti, “Toliyitamu.” Edomu n'amutabaala n'eggye eddene, n'eby'okulwanyisa eby'amaanyi.
21
Bw'atyo Edomu n'agaana Isiraeri okuyita mu nsi ye, Isiraeri kyeyava akyuka n'akwata ekkubo eddala.
22
Ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri ne basitula okuva e Kadesi ne batambula ne batuuka ku lusozi Kooli.
23
Mukama n'agamba Musa ne Alooni ku lusozi Kooli, oluli ku nsalo n'ensi ya Edomu, ng'ayogera nti,
24
“Alooni ajja kufa agoberere bajjajjaabe. Taliyingira mu nsi gye mpadde abaana ba Isiraeri, kubanga mwajeemera ekigambo kyange ku mazzi ag'e Meriba.
25
Kale twala Alooni ne Eriyazaali mutabani we, olinnye nabo ku lusozi Kooli.
26
Alooni omwambulemu ebyambalo bye eby'obwakabona, obyambaze Eriyazaali mutabani we. Alooni anaafiira eyo n'agoberera bajjajjaabe.”
27
Musa n'akola nga Mukama bwe yalagira. Ne balinnya ku lusozi Kooli ng'ekibiina kyonna kiraba.
28
Musa n'ayambulamu Alooni ebyambalo bye, n'abyambaza Eriyazaali mutabani we. Alooni n'afiira eyo ku ntikko y'olusozi. Musa ne Eriyazaali ne bakka okuva ku lusozi.
29
Awo ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri bwe kyamanya nga Alooni afudde, ne kimukungubagira okumala ennaku asatu (30).
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 21 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36