bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Numbers 2
Numbers 2
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 3 →
1
Awo Mukama n'agamba Musa ne Alooni nti,
2
“Abaana ba Isiraeri banaasiisiranga buli muntu okuliraana n'ebendera ye, awali obubonero bw'ennyumba za bakitaabwe; banaasiisiranga nga batunuulidde Eweema ey'okusisinkanirangamu enjuyi zaayo zonna.
3
Era abo abanaasiisiranga ku luuyi olw'ebuvanjuba okutunuulira enjuba gy'eva, banaabanga ba bendera ya lusiisira lwa Yuda, ng'eggye lyabwe bwe liri; era Nakusoni mutabani wa Amminadaabu ye anaabanga omukulu w'abaana ba Yuda.
4
Era eggye lye n'abo abaabalibwa ku bo, baali emitwalo musanvu mu lukaaga (70,600).
5
N'ekika kya Isakaali be banaasiisiranga okumuliraana; era Nesaneeri mutabani wa Zuwaali ye anaabanga omukulu w'abaana ba Isakaali;
6
n'eggye lye n'abo abaabalibwa ku lyo, baali emitwalo etaano mu enkumi nnya mu bina (54,400).
7
N'ekika kya Zebbulooni, era Eriyaabu mutabani wa Keroni ye anaabanga omukulu w'abaana ba Zebbulooni.
8
N'eggye lye n'abo abaabalibwa ku lyo baali emitwalo etaano mu kasanvu mu bina (57,400).
9
Bonna abaabalibwa ku lusiisira lwa Yuda baali kasiriivu mu emitwalo munaana mu kakaaga mu bina (186,400). Abo be banaasookanga okutambula.
10
“Ku luuyi olw'obukiikaddyo we wanaabanga ebendera ey'olusiisira lwa Lewubeeni ng'eggye lyabwe bwe liri; era Erizuuli mutabani wa Sedewuli, ye anaabanga omukulu w'abaana ba Lewubeeni.
11
N'eggye lye, n'abo abaabalibwa ku lyo baali emitwalo ena mu kakaaga mu bitaano (46,500).
12
N'ekika kya Simyoni be banaasiisiranga okumuliraana, era Serumyeri mutabani wa Zulisadaayi ye anaabanga omukulu w'abaana ba Simyoni;
13
n'eggye lye n'abo abaabalibwa ku bo baali emitwalo etaano mu kenda mu bisatu (59,300)
14
n'ekika kya Gaadi; era Eriyasaafu mutabani wa Leweri ye anaabanga omukulu w'abaana ba Gaadi;
15
n'eggye lye n'abo abaabalibwa ku bo baali emitwalo ena mu enkumi ttaano mu lukaaga mu ataano (45,650).
16
Bonna abaabalibwa mu lusiisira lwa Lewubeeni baali kasiriivu mu emitwalo etaano mu lukumi mu bina mu ataano (151,450). Bano be banaabanga abokubiri okutambula.
17
“Awo Eweema ey'okusisinkanirangamu n'eryoka etambuzibwa, wamu n'olusiisira lw'Abaleevi wakati mu nsiisira; nga bwe basiisira, bwe banaasitulanga bwe batyo, buli muntu mu kifo kye, awali ebendera zaabwe.
18
“Ku luuyi olw'ebugwanjuba we wanaabanga ebendera ey'olusiisira lwa Efulayimu ng'eggye lyabwe bwe liri; era Erisaama mutabani wa Ammikudi ye anaabanga omukulu w'abaana ba Efulayimu.
19
N'eggye lye n'abo abaabalibwa ku bo, baali emitwalo ena mu bitaano (40,500).
20
N'ekika kya Manase kye kinaamuddiriranga; era Gamalyeri mutabani wa Pedazuuli ye anaabanga omukulu w'abaana ba Manase;
21
n'eggye lye n'abo abaabalibwa ku bo baali emitwalo esatu mu enkumi bbiri mu bibiri (32,200)
22
n'ekika kya Benyamini; era Abidaani mutabani wa Gidiyooni ye anaabanga omukulu w'abaana ba Benyamini;
23
n'eggye lye n'abo abaabalibwa ku bo baali emitwalo esatu mu enkumi ttaano mu bina (35,400).
24
Bonna abaabalibwa ku lusiisira lwa Efulayimu baali kasiriivu mu kanaana mu kikumi (108,100), ng'eggye lyabwe bwe lyali. Abo be banaabanga ab'okusatu mu kutambula.
25
“Ku luuyi olw'obukiikakkono we wanaabanga ebendera ey'olusiisira lwa Ddaani ng'eggye lyabwe bwe liri; era Akiyezeeri mutabani wa Amisadaayi ye anaabanga omukulu w'abaana ba Ddaani.
26
N'eggye lye n'abo abaabalibwa ku bo baali emitwalo mukaaga mu enkumi bbiri mu lusanvu (62,700).
27
N'ekika kya Aseri be banaasiisiranga okumuliraana; era Pagiyeeri mutabani wa Okulaani ye anaabanga omukulu w'abaana ba Aseri;
28
n'eggye lye n'abo abaabalibwa ku bo baali emitwalo ena mu lukumi mu bitaano (41,500).
29
N'ekika kya Nafutaali; era Akira mutabani wa Enani ye anaabanga omukulu w'abaana ba Nafutaali.
30
N'eggye lye n'abo abaabalibwa ku bo baali emitwalo etaano mu enkumi ssatu mu bina (53,400).
31
Bonna abaabalibwa ku lusiisira lwa Ddaani baali kasiriivu mu emitwalo etaano mu kasanvu mu lukaaga (157,600) Abo be banaasembangayo okutambula ng'ebendera bwe ziri.”
32
Abo be baabalibwa ku baana ba Isiraeri ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali; bonna abaabalibwa ku nsiisira ng'eggye lyabwe bwe lyali baali obusiriivu mukaaga mu enkumi ssatu mu bitaano mu ataano (603,550).
33
Naye Abaleevi tebaabalibwa mu baana ba Isiraeri; nga Mukama bwe yalagira Musa.
34
Abaana ba Isiraeri bwe baakola bwe batyo; nga byonna bwe byali Mukama bye yalagira Musa, bwe baasiisiranga bwe batyo awali ebendera zaabwe, era bwe batyo bwe baatambulanga, buli muntu ng'enda zaabwe bwe zaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali.
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
Recommended Reading
Commentary
Numbers Commentaries
→
Devotional
Numbers Devotional Guide
→
Get This Bible
LBR Study Bible
→