bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Numbers 23
Numbers 23
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 22
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 24 →
1
Balamu n'agamba Balaki nti, “Nzimbira wano ebyoto musanvu, ontegekere wano ente musanvu n'endiga ennume musanvu.”
2
Balaki n'akola nga Balamu bwe yayogera; Balaki ne Balamu ne baweerayo ku buli kyoto ente n'endiga ennume.
3
Balamu n'agamba Balaki nti, “Yimirira awali ekiweebwayo ekyokebwa ky'owaayo, nange ŋŋende; mpozzi Mukama anajja okunsisinkana; era buli ky'anaŋŋamba kye nnaakubuulira. N'agenda yekka ku ntikko y'olusozi.”
4
Katonda n'asisinkana ne Balamu. Balamu n'amugamba nti, “Ntegese ebyoto omusanvu, era mpaddeyo ente n'endiga ennume ku buli kyoto.”
5
Mukama n'ategeeza Balamu by'anaayogera, n'amugamba nti, “ Kati ddayo eri Balaki, oyogera bw'otyo.”
6
N'addayo eri Balaki n'amusanga ng'ayimiridde awali ekyokebwa kye yawaayo, ng'ali wamu n'abakulembeze bonna Abamowaabu.
7
Balamu n'ayogera obunnabbi buno nti, “Balaki, kabaka wa Mowaabu, Yanzija mu Alamu, mu nsozi z'ebuvanjuba N'aŋŋamba nti, ‘Jjangu onkolimirire aba Yakobo, Jjangu osoomoze Abaisiraeri.’
8
Naakolimira ntya oyo Katonda gw'atakolimiranga? Naasoomoza ntya oyo Katonda gw'atasoomozanga?
9
Kubanga nnyima ku ntikko y'amayinja okumulaba, Ne ku nsozi okumulengera: Abantu abo lye ggwanga eribeera lyokka, eriteebalira mu mawanga.
10
Ani ayinza okubala abaana ba Yakobo abalinga enfuufu? Oba okubala kitundu ekyokuna ekya Isiraeri? Ka nfe ng'omutuukirivu bw'afa, N'enkomerero yange ebe ng'eyiye!”
11
Balaki n'agamba Balamu nti, “Onkoze ki? Nkututte okukolimira abalabe bange, era, laba, obasabiridde ddala omukisa.”
12
Balamu n'agamba Balaki nti, “Tekiŋŋwanira kwogera ekyo Mukama ky'aŋŋambye okwogera?”
13
Nate Balaki n'amugamba nti, “Nkwegayiridde jjangu tugende ffembi mu kifo ekirala, w'onooyinza okubalengerera. Onoolabako bamu, sso si bonna, osinziire eyo okubankolimirira.”
14
N'amutwala mu ttale lya Zofimu, ku ntikko y'olusozi Pisuga, nayo n'azimbayo ebyoto musanvu, n'aweerayo ente n'endiga ennume ku buli kyoto.
15
Balamu n'agamba Balaki nti, “Yimirira wano awali ekyokebwa ky'owaayo, nze ŋŋende eri nsisinkane Mukama.”
16
Mukama n'asisinkana ne Balamu, n'amutegeeza eby'okwogera n'alyoka amugamba nti, “Ddayo eri Balaki oyogere bw'otyo.”
17
Balamu n'akomawo eri Balaki we yali ayimiridde, awali ekyokebwa kye yawaayo, ng'ali wamu n'abakulembeze ba Mowaabu. Balaki n'abuuza Balamu nti, “Mukama agambye ki?”
18
Balamu n'ayogera obunnabbi buno nti, “Golokoka, Balaki, owulire; Ntegera okutu, ggwe mutabani wa Zipoli:
19
Katonda si muntu, okulimba; So si mwana wa muntu okukyusa ky'ayogedde: Ye ky'asuubiza akikola, Ky'ayogera akituukiriza.
20
Laba, Katonda andagidde okuwa omukisa: Naye awadde omukisa, nange siyinza kugujjulula.
21
Talabye butali butuukirivu ku Yakobo, So talabye bubambaavu ku Isiraeri: Mukama Katonda we ali naye, N'okwogera boogera nga bw'ali Kabaka waabwe.
22
Katonda abaggya mu Misiri; Abalwanirira n'amaanyi nga ag'embogo.
23
Tekisoboka okuloga abaana ba Yakobo, Wadde okulagula okukola akabi ku Isiraeri. Kaakano kinaayogerwanga ku baana ba Isiraeri, Nti Katonda ng'abakoledde!
24
Laba, eggwanga lya Isiraeri liringa empologoma ey'amaanyi, Teriwummula, okutuusa nga limaze okutaagulataagula n'okulya omuyiggo gwalyo, Era n'okunywa omusaayi gwabo abattiddwa.”
25
Awo Balaki n'agamba Balamu nti, “Nga bw'ogaanyi okubakolimira, kale nno leka n'okubasabira omukisa.”
26
Naye Balamu n'addamu n'agamba Balaki nti, “Saakugamba nti byonna Mukama by'aliŋŋamba bye ndikola?”
27
Balaki n'agamba Balamu nti, “Era jjangu nkutwale awalala; mpozzi Katonda anaasiima ggwe okuyima eyo okubankolimirira.”
28
Awo Balaki n'alinnyisa Balamu ku ntikko y'olusozi Peoli, kw'osinziira okulengera eddungu.
29
Era Balamu n'agamba Balaki nti, “Nzimbira wano ebyoto musanvu, ontegekere wano ente musanvu n'endiga ennume musanvu.”
30
Balaki n'akola nga Balamu bwe yamulagira, n'aweerayo ku buli kyoto ente n'endiga ennume.
← Chapter 22
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 24 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36