bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Numbers 8
Numbers 8
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 9 →
1
Mukama n'ayogera ne Musa nti,
2
Yogera ne Alooni omugambe nti, “Bw'onoobanga oteeka ettaala omusanvu ku kikondo kyazo, onooziterezanga ne zimulisa mu maaso g'ekikondo.”
3
Alooni n'akola bw'atyo; n'ateeka ettaala ku kikondo ne zimulisa mu maaso g'ekikondo nga Mukama bwe yalagira Musa.
4
Ekikondo kino kyaweesebwa kyonna mu zaabu okuva ku ntobo yaakyo okutuuka ku bimuli byakyo; ng'ekifaananyi kyakyo bwe kyali Mukama kye yalagira Musa. Naye bw'atyo bwe yakikola.
5
Mukama n'agamba Musa nti,
6
“Yawula Abaleevi mu baana ba Isiraeri, obatukuze.
7
Era bw'oti bw'onoobakola okubatukuza: nga omansira ku bo amazzi ag'okubatangirira, era beemwe omubiri gwabwe gwonna, booze engoye zaabwe, beetukuze.
8
Kale batwale ente envubuka, n'ekiweebwayo kyakwo eky'obutta, obulungi obutabuddwamu amafuta, n'ente envubuka eyokubiri gitwale okuba ekiweebwayo olw'ekibi.
9
Awo onooyanjula Abaleevi mu maaso g'eweema ey'okusisinkanirangamu, n'okuŋŋaanya ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri;
10
n'oyanjula Abaleevi mu maaso ga Mukama. Abaana ba Isiraeri ne balyoka bateeka emikono gyabwe ku Baleevi.
11
Alooni n'awaayo Abaleevi mu maaso ga Mukama okuba ekiweebwayo ekiwuubibwawuubibwa, ku lw'abaana ba Isiraeri, babeerenga ab'okuweereza Mukama.
12
Abaleevi banaateeka emikono gyabwe ku mitwe gy'ente; naawe onoowaayo emu ku zo okuba ekiweebwayo olw'ekibi, n'ey'okubiri okuba ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama okubatangirira.
13
“Onooteeka Abaleevi mu maaso ga Alooni ne mu maaso ga batabani be, n'obawaayo okuba ekiweebwayo ekiwuubibwawuubibwa eri Mukama.
14
Bw'otyo bw'onooyawula Abaleevi okuva mu baana ba Isiraeri; n'Abaleevi banaabanga bange.
15
Oluvannyuma Abaleevi ne balyoka bayingira okuweereza mu weema ey'okusisinkanirangamu; naawe onoobatukuza, n'obawaayo okuba ekiweebwayo ekiwuubibwawuubibwa.
16
Kubanga baweereddwayo ddala gye ndi okuva mu baana ba Isiraeri; mbeetwalidde mu kifo ky'ababereberye bonna mu baana ba Isiraeri.
17
Kubanga ababereberye bonna mu baana ba Isiraeri bange, oba muntu oba nsolo; ku lunaku kwe nnakubira ababereberye bonna mu nsi y'e Misiri n'abeetukuliza.
18
Era ntutte Abaleevi mu kifo ky'ababereberye bonna mu baana ba Isiraeri.
19
Era mpaddeyo Abaleevi okuba ekirabo eri Alooni ne batabani be nga mbaggya mu baana ba Isiraeri, okuweerezanga ku lw'abaana ba Isiraeri mu Weema ey'okusisinkanirangamu, n'okutangiriranga; walemenga okuba ekibonyoobonyo kyonna mu baana ba Isiraeri, bwe banaasembera mu watukuvu.”
20
Bw'atyo Musa, Alooni, n'ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri bwe baakola Abaleevi nga Mukama bwe yabalagira.
21
Abaleevi ne beetukuza okuva mu kibi, ne booza engoye zaabwe; Alooni n'abawaayo okuba ekiweebwayo ekiwuubibwawuubibwa mu maaso ga Mukama; Alooni n'abatangirira okubatukuza.
22
Awo oluvannyuma Abaleevi ne balyoka bayingira okuweereza mu weema ey'okusisinkanirangamu mu maaso ga Alooni, ne mu maaso ga batabani be; nga Mukama bwe yalagira Musa ebikwata ku Baleevi, nabo bwe batyo bwe baabakola.
23
Mukama n'agamba Musa nti,
24
“Bino bye bikwata ku Baleevi: abawezezza emyaka abiri mu etaano (25) n'okusingawo banaayingiranga okuweereza mu weema ey'okusisinkanirangamu.
25
Era bwe banaawezanga emyaka ataano (50), banaalekeranga awo okuweereza mu Weema
26
naye banaakoleranga wamu ne baganda baabwe mu weema ey'okusisinkanirangamu, okukuuma bye baateresebwa. Bw'otyo bw'onooteekateeka Abaleevi okutuukirizanga emirimu gyabwe.”
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 9 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36