bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Numbers 4
Numbers 4
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 5 →
1
Mukama n'agamba Musa ne Alooni nti,
2
“Mubale abasajja Abaleevi ab'omu lulyo lwa Kokasi, ng'enda zaabwe n'ennyumba za bakitaabwe bwe ziri,
3
abawezezza emyaka asatu (30) okutuusa ku myaka ataano (50), abasobola okukola emirimu egy'omu Weema ey'okusisinkanirangamu.
4
Omulimu Abakokasi gwe banaakolanga mu Weema eyo, gwe gw'okulabiriranga ebintu ebitukuvu ennyo.
5
“Olusiisira bwe lunaabanga luggyibwawo, Alooni n'abaana be banaayingiranga ne batimbululanga olutimbe ne balubikka ku ssanduuko ey'obujulirwa.
6
era ne bagibikkako amaliba amagonvu, era ne baaliirirako olugoye olwa bbulu, ne bagiyingizamu emisituliro gyayo.
7
“Ne ku mmeeza okuteekwa emigaati egiweebwayo eri Mukama, banaayaliirangako olugoye olwa bbulu ne bateeka okwo essowaani, n'ebijiiko, n'ebibya, n'ebikompe ebikozesebwa mu biweebwayo eby'okunywa; n'emigaati egiweebwa Mukama ginaabanga okwo ekiseera kyonna;
8
era banaabibikkangako olugoye olumyufu, era ku lwo ne balyoka babikkako amaliba amagonvu, ne bagiyingizaamu emisituliro gyayo.
9
“Ekikondo ky'ettabaaza, n'ettabaaza zaakyo, ne makansi yaakyo, n'essowaani zaakyo ez'ebisiriiza, n'ebintu byakyo byonna eby'amafuta binaabikkibwangako n'olugoye olwa bbulu,
10
ne bakisabika n'ebintu byakyo byonna mu maliba amagonvu, ne bakiteeka ku muti kwe kisitulirwa.
11
Ne ku kyoto ekya zaabu banaayaliirangako olugoye olwa bbulu ne babikkako amaliba amagonvu, ne bakiyingizaamu emisituliro gyakyo;
12
ne baddira ebintu byonna ebikozesebwa mu watukuvu ne babisabika mu lugoye olwa bbulu ne babibikkako amaliba amagonvu, ne babiteeka ku muti kwe bisitulirwa.
13
Ne baggya evvu mu kyoto, ne bakizinga mu lugoye olwa kakobe,
14
ne bakiteekako ebintu byakyo byonna, bye bakozesa: engyo, amakato ge bakwasa ennyama, ebijiiko, ebibya, n'ebintu byonna eby'ekyoto ebirala, ne babisabika mu maliba amagonvu, ne bakiyingizaamu emisituliro gyakyo.
15
Awo Alooni ne batabani be bwe banaamaliranga ddala okusabika ebintu byonna eby'omuwatukuvu; ng'okusitula kutuuse, ab'olulyo lwa Kokasi ne balyoka bajja okubisitula. Naye tebakwatanga ku bintu ebitukuvu byonna, baleme okufa. Egyo gy'emirimu gy'abasajja ab'omu lulyo lwa Kokasi mu Weema ey'okusisinkanirangamu.
16
Ne Eriyazaali mutabani wa Alooni kabona, y'anavunaanyizibwanga okuterekanga amafuta g'ettabaaza n'obubaane obw'akaloosa, n'ekiweebwayo eky'obutta ekitavaawo, n'eweema n'ebigirimu byonna; awatukuvu n'ebintu byamu byonna.”
17
Mukama n'agamba Musa ne Alooni nti,
18
“Temukkirizanga lulyo lwa Kokasi kuzikirizibwanga okuva mu Baleevi;
19
naye mubakole bwe mutyo, babenga abalamu, balemenga okufa, nga basemberera ebintu ebitukuvu ennyo: Alooni ne batabani be banaayingiranga, ne bagabira buli muntu omulimu gwe;
20
naye ab'olulyo lwa Kokasi tebagezanga ne bayingira okutunula ku bintu byonna ebitukuvu, baleme okufa.”
21
Mukama n'agamba Musa nti,
22
“Era bala abasajja ab'omu lulyo lwa Gerusoni, ng'ennyumba za bakitaabwe n'enda zaabwe bwe ziri;
23
abawezezza emyaka asatu (30) okutuusa ku myaka ataano (50), abasobola okukola emirimu egy'omu Weema ey'okusisinkanirangamu.
24
Gino gy'emirimu gy'abaana ba Gerusoni gye banaakolanga:
25
banaasitulanga entiimbe z'Eweema ey'okusisinkanirangamu, era n'ebigibikkako: eky'omunda n'eky'okungulu, eby'amaliba amagonvu, n'olutimbe olw'omu mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu,
26
n'entimbe ez'oluggya, n'olw'omu mulyango ogwa wankaaki w'oluggya, oluli ku weema ne ku kyoto enjuyi zonna, n'emiguwa gyabyo, n'ebintu byonna ebikozesebwa okuweereza. Ebyo bye banaakolanga.
27
Alooni ne batabani be, be banaagabiranga ab'olulyo lwa Gerusoni emirimu gye banaakolanga.
28
Egyo gy'emirimu gy'ab'olulyo lwa Gerusoni mu Weema ey'okusisinkanirangamu; era Isamaali, mutabani wa Alooni kabona, y'anaabanga omukulu waabwe.
29
“Era onoobala ab'olulyo lwa Merali, ng'enda zaabwe n'ennyumba za bakitaabwe bwe ziri;
30
abawezezza emyaka asatu (30) okutuusa ku myaka ataano (50), abasobola okukola emirimu gy'omu Weema ey'okusisinkanirangamu.
31
Gino gy'emirimu gy'ab'olulyo lwa Merali gye banaakolanga mu weema ey'okusisinkanirangamu: okusitula embaawo z'Eweema n'emisituliro gyayo, n'empagi zaayo, n'embaawo ezirimu ebinnya omusimbwa empagi;
32
n'empagi ez'oluggya olwetooloola Weema, n'embaawo ezirimu ebinnya omusimbwa empagi n'enninga zaazo, n'emiguwa gyazo, wamu n'ebintu byazo byonna, ebikozesebwa mu kuweereza kwonna. Banaagabirwanga emirimu egy'okukola ng'omuwendo gwabwe bwe guli.
33
Egyo gy'emirimu gy'ab'olulyo lwa Merali gye banaakolanga mu weema ey'okusisinkanirangamu; era Isamaali, mutabani wa Alooni kabona, y'anaabaanga omukulu waabwe.”
34
Awo Musa ne Alooni n'abakulu b'ekibiina ne babala ab'olulyo lwa Kokasi, ng'enda zaabwe n'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali,
35
abaali bawezezza emyaka asatu (30) okutuusa ku myaka ataano (50), abasobola okukola emirimu mu Weema ey'okusisinkanirangamu.
36
Abaabalibwa baali enkumi bbiri mu lusanvu mu ataano (2,750).
37
Abo Musa ne Alooni be baabala mu lulyo lwa Kokasi, okukolanga emirimu egy'omu weema ey'okusisinkanirangamu nga Mukama bwe yabalagira.
38
N'abo abaabalibwa mu lulyo lwa Gerusoni, ng'enda zaabwe n'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali,
39
abaali bawezezza emyaka asatu (30) okutuusa ku myaka ataano (50), abasobola okukola emirimu mu Weema ey'okusisinkanirangamu;
40
baali enkumi bbiri mu lukaaga mu asatu (2,630).
41
Abo Musa ne Alooni be baabala mu lulyo lwa Gerusoni, abasobola okuweereza mu Weema ey'okusisinkanirangamu nga Mukama bwe yabalagira.
42
N'abo abaabalibwa mu lulyo lwa Merali, ng'enda zaabwe n'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali,
43
abawezezza emyaka asatu (30) okutuusa ku myaka ataano (50), abasobola okukola emirimu mu Weema ey'okusisinkanirangamu,
44
baali enkumi ssatu mu bibiri (3,200).
45
Abo Musa ne Alooni be baabala mu lulyo lwa Merali nga Mukama bwe yabalagira.
46
Abo bonna Musa ne Alooni n'abakulu ba Isiraeri be baabala ku Baleevi, ng'enda zaabwe n'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali,
47
abaali bawezezza emyaka asatu (30) okutuusa ku myaka ataano (50), abayinza okukola emirimu mu Weema ey'okusisinkanirangamu,
48
baali kanaana mu bitaano mu kinaana (8,580).
49
Musa n'akola nga Mukama bwe yamulagira, n'abala abantu abasobola okuweereza mu Weema ey'okusisinkanirangamu ng'emirimu gyabwe bwe gyali.
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
Recommended Reading
Commentary
Numbers Commentaries
→
Devotional
Numbers Devotional Guide
→
Get This Bible
LBR Study Bible
→