bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Numbers 26
Numbers 26
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 25
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 27 →
1
Awo olwatuuka kawumpuli bwe yakoma, Mukama n'agamba Musa ne Eriyazaali mutabani wa Alooni kabona nti,
2
“Bala omuwendo gw'ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri, abawezezza emyaka abiri (20) n'okusingawo, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe ziri, bonna abayinza okutabaala mu Isiraeri.”
3
Awo Musa ne Eriyazaali kabona, ne bagamba abakulembeze b'abantu nga bali mu nsenyi z'e Mowaabu, ku Yoludaani, okwolekera Yeriko nti,
4
“Mubale omuwendo gw'abantu bonna abawezezza emyaka abiri (20) n'okusingawo; nga Mukama bwe yalagira Musa. Bano be baana ba Isiraeri abaava mu nsi y'e Misiri.”
5
Mu kika kya Lewubeeni, omubereberye wa Isiraeri, mwe muva enda zino: enda ey'Abakanoki okuva mu Kanoki, enda ey'Abapalu okuva mu Palu,
6
enda ey'Abakezulooni okuva mu Kezulooni, n'enda ey'Abakalumi okuva mu Kalumi.
7
Ezo z'enda eza baana ba Lewubeeni: n'abo abaabalibwa ku bo baali emitwalo ena mu enkumi ssatu mu lusanvu mu asatu (43,730).
8
Palu yazaala Eriyaabu;
9
Eriyaabu n'azaala Nemweri, Dasani ne Abiramu. Dasani ne Abiramu be balondebwa ekibiina, ne begatta ku bagoberezi ba Koola, ne bawakanya Musa ne Alooni ne bajeemera Mukama.
10
Ettaka ne lyasama ne libamira. Koola n'ekibiina ekyo bwe batyo bwe baafa mu biro ebyo, omuliro bwe gwayokya abasajja bibiri mu ataano (250), ne bafuuka akabonero akalabula.
11
Naye batabani ba Koola bo tebaafa.
12
Mu kika kya Simyoni mwe muva enda zino: enda ey'Abanemweri okuva mu Nemweri, enda ey'Abayamini okuva mu Yamini, enda ey'Abayakini okuva mu Yakini:
13
enda ey'Abazeera okuva mu Zeera, enda ey'Abasawuli okuva mu Sawuli.
14
Ezo z'enda ez'abaana ba Simyoni. N'abo abaabalibwa ku bo baali emitwalo ebiri mu enkumi bbiri mu bibiri (22,200).
15
Mu kika kya Gaadi mwe mwava enda zino: enda y'Abazefoni okuva mu Zefoni, enda y'Abakagi okuva mu Kagi, enda y'Abasuni okuva mu Suni,
16
enda ey'Abaozeni okuva mu Ozeni, enda ey'Abaeri okuva mu Eri.
17
Enda ey'Abalodi okuva mu Alodi, enda ey'Abaleri okuva mu Aleri,
18
Ezo ze nda eza batabani ba Gaadi. Bonna abaabalibwa ku bo, baali emitwalo ena mu bitaano (40,500).
19
Mu kika kya Yuda mwe muva enda zino: Eri ne Onani abafiira mu nsi ya Kanani;
20
enda ey'Abaseera okuva mu Seera, enda ey'Abapereezi okuva mu Pereezi, enda ey'Abazeera okuva mu Zeera.
21
Pereezi yazaala Kezulooni mwe muva Abakezulooni, era n'azaala ne Kamuli, mwe muva Abakamuli.
22
Ezo z'enda za baana ba Yuda. N'abo abaabalibwa ku bo baali emitwalo musanvu mu kakaaga mu bitaano (76,500).
23
Mu lunnyiriri lwa Isakaali mwe muva enda zino: enda ey'Abatola abava mu Tola, enda ey'Abapuva abava mu Puva.
24
Enda ey'Abayasubu okuva mu Yasubu: enda ey'Abasimuloni, okuva mu Simuloni.
25
Ezo z'enda za baana ba Isakaali, n'abo abaabalibwa ku bo baali, emitwalo mukaaga mu enkumi nnya mu bisatu (64,300).
26
Mu lunnyiriri lwa Zebbulooni mwe muva enda zino: enda eya Baseredi okuva mu Seredi, enda y'Abaeroni okuva mu Eroni, enda ey'Abayaleeri okuva mu Yaleeri.
27
Ezo z'enda ez'abaana ba Bazebbulooni. Bonna abaabalibwa baali emitwalo mukaaga mu bitaano (60,500).
28
Mu kika kya Yusufu mwe muva enda ya Manase ne Efulayimu.
29
Manase yazaala Makiri, omuva enda ey'Abamakiri; Makiri yazaala Gireyaadi, omuva enda eya Bagireyaadi;
30
Gireyaadi yazaala Yezeeri, omuva enda ey'Abayezeeri, yazaala ne Kereki omuva enda ey'Abakereki;
31
yazaala ne Asuliyeri omuva enda ey'Abasuliyeri, yazaala ne Sekemu omuva enda ey'Abasekemu;
32
yazaala Semida omuva enda ey'Abasemida; n'azaala Keferi omuva enda ey'Abakeferi.
33
Ne Zerofekadi teyazaala baana ba bulenzi, wabula ab'obuwala; amannya gabwe ge gano: Maala, Noowa, Kogula, Mirika, ne Tiruza.
34
Ezo z'enda za Manase. N'abo abaabalibwa ku bo baali emitwalo etaano mu enkumi bbiri mu lusanvu (52,700).
35
Mu kika kya Efulayimu mwe muva enda zino: enda ey'Abasusera, okuva mu Susera, enda eya Babekeri okuva mu Bekeri, enda ey'Abatakani okuva mu Takani.
36
Susera n'azaala Erani, omuva enda ey'Abaerani.
37
Ezo ze nda za baana ba Efulayimu. Abaabalibwa ku bo baali, emitwalo esatu mu enkumi bbiri mu bitaano (32,500). Abo be batabani ba Yusufu ng'enda zaabwe bwe zaali.
38
Mu kika kya Benyamini mwe muva enda zino: enda y'Ababera okuva mu Bera, enda ey'Abasuberi okuva mu Asuberi, enda y'Abakiramu okuva mu Akiramu;
39
enda y'Abasufamu okuva mu Sufamu, n'enda y'Abakufamu okuva mu Kufamu.
40
Bera yazaala Aluda omuva Abaluda, n'azaala ne Naamani omuva Abanaamani.
41
Abo be baana ba Benyamini ng'enda zaabwe bwe zaali. Abaabalibwa ku bo baali emitwalo ena mu enkumi ttaano mu lukaaga (45,600).
42
Mu kika kya Ddaani mwe muva enda y'Abasukamu okuva mu Sukamu.
43
Bonna abaabalibwa ku bo baali emitwalo mukaaga mu enkumi nnya mu bina (64,400).
44
Mu kika kya Aseri mwe muva enda zino: enda y'Abaimuna okuva mu Imuna, enda y'Abaisuvi okuva mu Isuvi, Enda y'Ababeriya okuva mu Beriya.
45
Beriya yazaala Keberi, omuva enda y'Abakeberi, n'azaala ne Malukiyeeri omuva enda y'Abamalukiyeeri.
46
Aseri yazaala n'omuwala erinnya lye Seera.
47
Ezo z'enda z'abaana ba Aseri. Abaabalibwa ku bo baali emitwalo etaano mu enkumi ssatu mu bina (53,400).
48
Mu kika kya Nafutaali mwe muva enda zino: enda y'Abayazeeri okuva mu Yazeeri, enda y'Abaguni okuva mu Guni;
49
enda y'Abayezeeri okuva mu Yezeeri; enda ya Basiremu okuva mu Siremu.
50
Ezo z'enda za baana ba Nafutaali. Abaabalibwa ku bo baali emitwalo ena mu enkumi ttaano mu bina (45,400).
51
Bonna abaabalibwa ku baana ba Isiraeri baali obusiriivu mukaaga mu lukumi mu lusanvu mu asatu (601,730).
52
Mukama n'agamba Musa nti,
53
“ Abo be baligabirwa ensi okuba obutaka bwabwe, okusinziira ku bungi bwabwe.
54
Ekika ekirina abantu abangi, olikiwa ettaka ddene, n'ekika ekirina abantu abatono, olikiwa ettaka ttono. Buli kika kiriweebwa ettaka okuba obutaka bwakyo, okusinziira ku bungi bw'abantu baakyo abaabalibwa.
55
Era ettaka lirigabibwa na bululu, ng'amannya g'ebika bya bajjajjaabwe bwe gali.
56
Buli kika kiriweebwa ettaka lyakyo ery'ensikirano, nga likubirwa kalulu, era buli kika kirifuna ettaka okusinziira ku bungi bw'abantu baakyo.”
57
Ne bano be baabalibwa ku Baleevi ng'enda zaabwe bwe zaali: Abagerusoni okuva mu nda ya Gerusoni, Abakokasi okuva mu nda ya Kokasi, Abamerali okuva mu nda ya Merali.
58
Zino z'enda ezaava mu Leevi: enda ey'Abalibuni, enda ey'Abakebbulooni, enda ey'Abamakuli, enda ey'Abamusi, n'enda ey'Abakoola. Kokasi yazaala Amulaamu.
59
Muka Amulaamu yali ayitibwa Yokebedi, muwala wa Leevi. Yokebedi ye yazaalira Amulaamu Alooni, Musa, ne Miryamu mwannyinaabwe.
60
Alooni ye kitaawe wa Nadabu, Abiku, Eriyazaali ne Isamaali.
61
Naye Nadabu ne Abiku baafa, bwe baawaayo omuliro Mukama gwatabalangiranga.
62
Abasajja Abaleevi bonna abaabalibwa, okuva ku mwana ow'obulenzi ow'omwezi ogumu n'okusingawo, baali emitwalo ebiri mu enkumi ssatu (23,000). Bo tebaabalibwa wamu n'Abaisiraeri bannaabwe, kubanga Abaleevi tebaaweebwa ttaka lya nsikirano nga Abaisiraeri abalala.
63
Abo be baana ba Isiraeri, Musa ne Eriyazaali kabona, be baabalira mu nsenyi z'e Mowaabu, ku mugga Yoludaani okwolekera Yeriko.
64
Mu abo abaabalibwa temwali n'omu ku bali abaasooka okubalibwa, Musa ne Alooni mu ddungu ly'e Sinaayi;
65
kubanga Mukama yali aboogeddeko nti, “bonna bagenda kufiira mu ddungu, okuggyako Kalebu mutabani wa Yefune ne Yoswa mutabani wa Nuuni.”
← Chapter 25
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 27 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36