bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Numbers 31
Numbers 31
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 30
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 32 →
1
Mukama n'agamba Musa nti,
2
“Woolera eggwanga ly'abaana ba Isiraeri ku Bamidiyaani olw'ebyo bye baakola abaana ba Isiraeri, oluvannyuma olyoke ofe.”
3
Musa n'agamba abantu nti, “Mulonde abasajja mu mmwe, mubawe eby'okulwanyisa, balwanyise Abamidiyaani bababonereze olw'ekyo kye baakola Mukama.
4
Mulonde mu buli kika kya Isiraeri abasajja lukumi (1,000), mubatume okutabaala.”
5
Awo ne balonda mu nkumi n'enkumi z'Abaisiraeri, abasajja lukumi (1,000) okuva mu buli kika, ne baweza abasajja omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000), nga balina eby'okulwanyisa.
6
Musa n'abasindika okutabaala, nga bakulembeddwa Fenekansi, mutabani wa Eriyazaali kabona, eyagenda n'ebintu eby'omu watukuvu, n'amakondeere ag'okufuuwa.
7
Ne balwana ne Midiyaani, nga Mukama bwe yalagira Musa; ne batta abasajja bonna.
8
Mu abo abattibwa mu lutalo olwo, mwalimu ne bakabaka abataano Abamidiyaani bano: Evi, Lekemu, Zuuli, Kuula, ne Leeba. Era mwe battira ne Balamu mutabani wa Byoli.
9
Abaana ba Isiraeri ne banyaga abakazi Abamidiyaani n'abaana baabwe abato; amagana g'ente, ebisibo by'endiga n'embuzi, n'ebintu ebirala byonna.
10
N'ebibuga byabwe byonna mu bifo mwe baasulanga, n'ensiisira zaabwe zonna, ne ba byokya omuliro.
11
Ne batwala omunyago gwonna gwe baafuna, omwali abantu n'ensolo.
12
Ne baleeta omunyago eri Musa n'eri Eriyazaali kabona, n'eri ekibiina eky'abaana ba Isiraeri, ekyali mu lusiisira, mu nsenyi z'e Mowaabu eziri ku Yoludaani, okwolekera Yeriko.
13
Awo Musa ne Eriyazaali kabona, n'abakulu bonna ab'ekibiina ne bafuluma okusisinkana eggye lya Isiraeri ebweru w'olusiisira.
14
Musa n'asunguwalira abakulu b'eggye abakulira enkumi n'abaami b'ebikumi, abaakomawo nga bava mu lutabaalo.
15
Musa n'abagamba nti, “Abakazi bonna mubalese nga balamu?
16
Mujjukire nga baali bakazi abo mu mitawaana gye Peoli, abaagoberera amagezi ga Balamu, ne basendasenda Abaisiraeri obutaba beesigwa eri Mukama, bw'atyo kawumpuli n'ajja mu bantu ba Mukama.
17
Kale kaakano mutte buli mwana ow'obulenzi, era mutte buli mukazi eyali yeegasseeko n'omusajja.
18
Naye abawala abakyali embeerera, temubatta, mubeesigalize.
19
Era musigale ebweru w'olusiisira okumala ennaku musanvu. Buli eyatta omuntu yenna, oba eyakoma ku mulambo; mmwe mwenna n'abawambe bammwe mwerongoose ku lunaku olwokusatu ne ku lunaku olw'omusanvu.
20
Era mutukuze buli kyambalo, na buli kintu eky'eddiba, n'ebintu ebirala byonna ebyakolebwa mu byoya by'embuzi, era n'ebintu byonna eby'emiti.”
21
Eriyazaali kabona n'agamba abatabaazi nti, “Bino bye biragiro Mukama byawadde Musa:
22
Zaabu, feeza, ekikomo, ebbaati n'ekyuma ekizito,
23
buli kintu ekiyinza okugumira omuliro, munaakiyisa mu muliro, ne kiryoka kiba ekirongoofu, naye era ne kitukuzibwa ne mu mazzi ag'okwetukuza. N'ebyo byonna ebitayinza kugumira muliro, munaabitukuza nga mubiyisa mu mazzi.
24
Era mulyoza engoye zammwe ku lunaku olw'omusanvu, ne muba balongoofu, oluvannyuma ne mulyoka muyingira mu lusiisira.”
25
Mukama n'agamba Musa nti,
26
“Ggwe ne Eriyazaali kabona, n'abakulembeze b'abantu, mubale omuwendo ogw'omunyago ogw'abantu era n'ensolo.
27
Omunyago mugwawulemu ebitundu bibiri: ekitundu ekimu mukiwe abatabaazi abaatabaala, ekitundu ekirala mukiwe ekibiina ky'abantu abalala bonna abasigaddewo.
28
Ku mugabo gw'abatabaazi abaatabaala, onoosoloolezaako Mukama omusolo: omuntu omu ku buli bawambe bitaano (500). Era onookola bw'otyo ku nte, ku ndogoyi, ku mbuzi ne ku ndiga.
29
Omusolo ogwo guggye ku mugabo gwabwe, oguwe Eriyazaali kabona, okuba ekiweebwayo ekisitulibwa, ekya Mukama.
30
Ku mugabo ogw'Abaisiraeri abataatabaala, onoosoloozaako omuntu omu, ku buli bawambe ataano, era onookola bw'otyo ku nte, ku ndogoyi, ku mbuzi, ku ndiga ne ku nsolo endala zonna; obiwe Abaleevi abalabirira Eweema ya Mukama.”
31
Musa ne Eriyazaali kabona ne bakola nga Mukama bwe yabalagira
32
Ebintu ebyasigalawo ku mugabo abatabaazi gwe baanyaga nga bamaze okuggyako omusolo gwa Mukama byali: endiga obusiriivu mukaaga mu emitwalo musanvu mu enkumi ttaano (675,000),
33
ente emitwalo musanvu mu enkumi bbiri (72,000),
34
endogoyi emitwalo mukaaga mu lukumi (61,000),
35
n'abawala embeerera emitwalo esatu mu enkumi bbiri (32,000).
36
Omugabo gw'abo abaatabaala gwali: endiga obusiriivu busatu mu emitwalo esatu mu kasanvu mu bitaano (337,500),
37
n'omusolo gwa Mukama ogwasoloozeebwa ku ndiga gwali endiga lukaaga mu nsanvu mu ttaano; (675)
38
ku nte emitwalo esatu mu kakaaga (36,000), omusolo gwa Mukama gwali ente nsanvu mu bbiri (72),
39
ku ndogoyi emitwalo esatu mu bitaano (30,500), omusolo gwa Mukama, gwali nkaaga mu emu (61),
40
ku bawala embeerera omutwalo gumu mu kakaaga (16,000), omusolo gwa Mukama gwali abawala asatu mu babiri (32).
41
Musa n'akola nga Mukama bwe yamulagira; n'awa Eriyazaali kabona, omusolo ogwo gwonna, nga kye kiweebwayo ekisitulibwa ekya Mukama.
42
N'omugabo gw'ekibiina ky'abantu bonna Musa gweyayawulako gwali gwe nkanankana n'ogw'abatabaazi abaatabaala;
43
endiga ez'abantu zaali obusiriivu busatu mu emitwalo esatu mu kasanvu mu bitaano (337,500),
44
ente zaali emitwalo esatu mu kakaaga (36,000),
45
endogoyi zaali emitwalo esatu mu bitaano (30,500),
46
n'abawala embeerera omutwalo gumu mu kakaaga (16,000).
47
Ku mugabo ogwaweebwa abantu, Musa n'aggyako omuntu omu ku buli bantu ataano (50), n'ensolo emu ku buli nsolo ataano (50), nga Mukama bwe yamulagira, n'abiwa Abaleevi abaalabiriranga Eweema ya Mukama.
48
Awo abakulembeze mu ggye ab'enkumi n'ab'ebikumi ne bajja eri Musa,
49
ne bamugamba nti, “Ffe abaweereza bo tubaze abatabaazi be twakulembera, ne kutabulako n'omu.
50
Kye tuvudde tuleeta ekirabo kya Mukama ku by'obuyonjo buli omu by'afunye: zaabu, emikuufu, emisagga, empeta eziriko obubonero n'ez'omu matu, ebikomo, okutangirira obulamu bwaffe mu maaso ga Mukama.”
51
Musa ne Eriyazaali kabona, ne babaggyako ezaabu, n'eby'obuyonjo byonna ebiweese.
52
Ne zaabu yonna ey'ekiweebwayo ekisitulibwa abakulembeze b'enkumi n'ab'ebikumi gye baawaayo eri Mukama, yali eweza sekeri omutwalo gumu mu kakaaga mu lusanvu mu ataano (16,750).
53
Abasajja abatabaazi baali beenyagidde ebintu, buli muntu ebibye.
54
Musa ne Eriyazaali kabona, ne batwala ezaabu abakulembeze b'enkumi n'ab'ebikumi gye baaleeta, ne bagissa mu weema ey'okusisinkanirangamu, ebeerenga ekijjukizo eri abaana ba Isiraeri mu maaso ga Mukama.
← Chapter 30
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 32 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36