bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Numbers 14
Numbers 14
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 15 →
1
Awo ekibiina kyonna ekya baana ba Isiraeri ne bayimusa eddoboozi lyabwe, ne bakaaba nnyo amaziga ekiro ekyo.
2
Ekibiina kyonna ekya baana ba Isiraeri ne beemulugunyiza Musa ne Alooni, ne babagamba nti, “Singa twafiira mu nsi y'e Misiri, oba singa twafiira mu ddungu muno!
3
Era Mukama atuleetera ki mu nsi muno, okugwa n'ekitala? Bakazi baffe n'abaana baffe abato baliba munyago; si kye kisinga obulungi gyetuli okuddayo mu Misiri?”
4
Ne bagambagana nti, “Twerondere omukulembeze,” tuddeyo e Misiri.
5
Awo Musa ne Alooni ne bavuunamira ddala ku ttaka mu maaso g'ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri.
6
Yoswa mutabani wa Nuuni ne Kalebu mutabani wa Yefune, abaali ku muwendo gw'abo abaaketta ensi, ne bayuza engoye zaabwe;
7
ne babuulira ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri nga boogera nti, “Ensi gye twayitamu okugiketta nsi nnungi nnyo.
8
Oba nga Mukama atusiima alituyingiza mu nsi omwo, n'agituwa; ensi ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki.
9
Kyokka temujeemera Mukama, so temutya bantu ba mu nsi; kubanga kya kulya gyetuli. Mukama abavuddemu, ali wamu naffe, temubatya.”
10
Naye ekibiina kyonna ne kyagala okubakuba amayinja. Ekitiibwa kya Mukama ne kirabikira mu Weema ey'okusisinkanirangamu eri abaana ba Isiraeri bonna.
11
Mukama n'agamba Musa nti, “Abantu bano balituusa wa okunnyooma? Era balituusa wa obutanzikiriza olw'eby'amagero byonna bye nnakolera mu bo?
12
Nja kubakuba ne kawumpuli, mbaggyeeko n'obusika bwabwe, naye ggwe nkuggyemu eggwanga eribasinga bo obunene n'amaanyi.”
13
Naye Musa n'agamba Mukama nti, “ Ggwe waggya abantu bano e Misiri, ng'okozesa obuyinza bwo. Abamisiri bwe baliwulira ky'okoze abantu bo,
14
balikibuulira abantu ababeera mu nsi eno. Sso nga bano baamala dda okuwulira nga Ggwe, ayi Mukama, oli wamu n'abantu bano, era nti obalabikira mu lwatu, ekire kyo bwe kiyimirira waggulu ku bo, era ng'obakulembera mu mpagi ey'ekire emisana, ne mu mpagi ey'omuliro ekiro.
15
Kale bw'onotta abantu bano bonna ekirindi, amawanga agaawulira ettutumu lyo balyogera
16
nti, ‘Mukama yalemererwa okuyingiza bantu bano mu nsi gye yabalayirira, kyeyava abattira mu ddungu.’
17
Kale kaakano, nkwegayiridde ayi Mukama, laga obuyinza bwo obungi okole kye wasuubiza bwe wagamba nti,
18
‘Nze Mukama, ndwawo okusunguwala, nnina okwagala kungi, nsonyiwa ebibi n'obujeemu, naye sirema kubonereza muntu olw'omusango gw'azzizza. Era mbonereza abaana n'abazzukulu, okutuusa ku mulembe ogwokusatu n'ogwokuna olw'ebibi bya bajjajjaabwe.’
19
Nkwegayiridde sonyiwa, obutali butuukirivu bw'abantu bano ng'okusaasira kwo bwe kuli okungi, era nga bwe wasonyiwanga abantu bano okuva mu Misiri okutuusa leero.”
20
Mukama n'agamba nti, “Nsonyiye ng'ekigambo kyo bwe kibadde.
21
Naye mazima ddala, nga bwe ndi omulamu, era ng'ensi zonna bwe zirijjula ekitiibwa kya Mukama;
22
abasajja bano bonna abaalaba ekitiibwa kyange n'eby'amagero byange bye nnakolera e Misiri ne mu ddungu, naye ne banjeemera emirundi gino ekkumi (10), ne batawulira ddoboozi lyange;
23
mazima tewaliba n'omu ku abo abannyooma, aliraba ensi gye nnalayirira bajjajjaabwe.
24
Naye omuddu wange Kalebu, kubanga ye alina omwoyo omulala mu ye, era ye angobererera ddala, oyo ndimutuusa mu nsi gye yagendamu okuketta; n'ezzadde lye lirigirya.
25
Kale Omwamaleki n'Omukanani nga bwe batuula mu kiwonvu; enkya mukyuke, mugende mu ddungu mu kkubo eriyita ku Nnyanja Emmyufu.”
26
Mukama n'agamba Musa ne Alooni nti,
27
“Ndituusa wa okugumiikiriza ekibiina kino ekibi, abanneemulugunyiza? Mpulidde okwemulugunya kw'abaana ba Isiraeri kwe banneemulugunyiza.
28
Bagambe nti, Nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama, mazima nga bwe mwogedde, mpulidde, era bwe ntyo bwe nnaabakola:
29
emirambo gyammwe girigwa mu ddungu muno; n'abo bonna abaabalibwa ku mmwe, ng'omuwendo gwammwe gwonna bwe gwali, abaali bawezezza emyaka abiri (20) n'okusingawo, abanneemulugunyiza,
30
mazima temulituuka mu nsi, gye nnabalayirira okubatuuzamu, okuggyako Kalebu mutabani wa Yefune, ne Yoswa mutabani wa Nuuni.
31
Naye abaana bammwe abato, be mugambye okuba omunyago, abo bo ndibayingiza, mu nsi gye mugaanyi, ne batuula omwo.
32
Naye mmwe, emirambo gyammwe girigwa mu ddungu muno.
33
N'abaana bammwe balibungeetera mu ddungu emyaka ana (40), nga babonaabona olw'obutali bwesigwa bwammwe, okutuusa lwe mulifiira mu ddungu ne muggwaawo.
34
Ng'omuwendo gw'ennaku bwe gwali ze mwaketteramu ensi, ze nnaku ana (40), buli lunaku ndufudde mwaka, bwe munaabangako bwe mutyo obutali butuukirivu bwammwe, okumala myaka ana (40), era mulijjukira bye n'abagamba.
35
Nze Mukama njogedde, mazima ndikola bwentyo ekibiina kino kyonna ekibi, ekinkuŋŋaaniddeko okunjeemera. Mu ddungu muno mwe balizikiririra, era mwe balifiira.”
36
Abantu Musa be yatuma okuketta ensi eyo abaakomawo ne bagyogerako ebigambo ebibi eby'obulimba ebyaleetera ekibiina kyonna okwemulugunyiza Mukama,
37
abantu abo abaayogera ebigambo ebibi eby'obulimba ku nsi eyo, ne bafa kawumpuli mu maaso ga Mukama.
38
Naye Yoswa mutabani wa Nuuni ne Kalebu mutabani wa Yefune ne basigalawo nga balamu ku bantu abo abaagenda okuketta ensi.
39
Awo Musa n'abuulira abaana ba Isiraeri bonna ebigambo ebyo; abantu ne banyolwa nnyo.
40
Ne bagolokoka enkya ku makya, ne bagenda ku ntikko y'olusozi nga boogera nti, “Laba, tutuuno, era tunaayambuka mu kifo Mukama kye yasuubiza; kubanga twayonoona.”
41
Musa n'agamba nti, “Kaakano musobeza ki ekiragiro kya Mukama? Temujja kuwangula.
42
Temwambuka, kubanga Mukama tali nammwe; abalabe bammwe bajja kubawangula;
43
kubanga Omwamaleki n'Omukanani bali mu maaso gammwe, era munaagwa n'ekitala: kubanga mwajeema; Mukama kyanaava alema okubeera nammwe.”
44
Naye ne beeyinula okulinnya ku ntikko y'olusozi; naye essanduuko ey'endagaano ya Mukama teyava mu lusiisira, wadde Musa.
45
Awo Omwamaleki n'aserengeta, n'Omukanani eyatuula ku lusozi okwo, ne babakuba ne babaseera ddala okutuusa e Koluma.
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 15 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36