bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Numbers 19
Numbers 19
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 18
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 20 →
1
Mukama n'agamba Musa ne Alooni nti,
2
“Lino lye tteeka ery'ekiragiro Mukama kye yalagira ng'agamba nti, Gamba abaana ba Isiraeri bakuleetere ente enduusi eya lukunyu eteriiko bbala, eteriiko bulema, era eteteekebwangako kikoligo.
3
Munaagiwanga Eriyazaali kabona, naye anaagifulumyanga ebweru w'olusiisira, ne bagittira mu maaso ge.
4
Awo Eriyazaali Kabona, anannyikanga engalo ye mu musaayi n'agumansira mu maaso g'Eweema ey'okusisinkanirangamu emirundi musanvu.
5
Ente yonna: eddiba lyayo, n'ennyama, n'omusaayi, n'ebyenda byayo, binaayokebwanga mu maaso ga Eriyazaali kabona.
6
Kabona n'addira omuti omwerezi n'ezobu n'olugoye olumyufu, n'abisuula wakati ente w'eyokerwa.
7
Awo kabona anaayozanga engoye ze, n'anaaba omubiri gwe n'amazzi, n'alyoka ayingira mu lusiisira, naye era kabona n'asigalanga nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi.
8
N'omuntu anaagyokyanga anaayozanga engoye ze mu mazzi, n'anaaba omubiri gwe n'amazzi, naye era n'asigalanga nga si mulongoofu okutuusa akawungeezi.
9
N'omuntu omulongoofu anaayoolanga evvu ly'ente, n'alitereka ebweru w'olusiisira mu kifo ekirongoofu, era linaakuumirwanga ekibiina ky'abaana ba Isiraeri okuba amazzi ag'okwawula: ekyo kye kiweebwayo olw'ekibi.
10
N'oyo anaayoolanga evvu ly'ente anaayozanga engoye ze, n'aba atali mulongoofu okutuusa akawungeezi: era lino linaabanga etteeka ery'olubeerera eri abaana ba Isiraeri n'eri omugenyi atuula mu bo.”
11
“Omuntu yenna anaakomanga ku mulambo gw'omuntu, anaabanga atali mulongoofu okumala ennaku musanvu:
12
Omuntu oyo aneerongoosanga n'amazzi ku lunaku olwokusatu, ne ku lunaku olw'omusanvu, n'alyoka aba omulongoofu; naye bw'anaalemanga okwerongoosa ku lunaku olwokusatu, ne lunaku olw'omusanvu olwo taabenga mulongoofu.
13
Buli anaakomanga ku mulambo gw'omuntu yenna afudde, n'ateerongoosa, ayonoona ennyumba ya Mukama; omuntu oyo anaaboolebwanga mu Isiraeri. Anaabeeranga si mulongoofu kubanga teyamansirwako mazzi ag'okwetukuza.
14
“Lino lye tteeka erikwata ku muntu afiira mu weema: buli muntu anaabanga mu weema omwo, n'oyo anaayingirangamu, anaabanga atali mulongoofu okumala ennaku musanvu.
15
Buli kintu kyonna ekiri mu weema eyo ekyasaamiridde, nga si kisaanikireko, kinaabanga ekitali kirongoofu.
16
Na buli anaakomanga ku mulambo ogw'omuntu eyattirwa ku ttale n'ekitala, oba afudde yekka, oba ku ggumba ly'omuntu oyo, oba ku malaalo ge anaabanga atali mulongoofu okumala ennaku musanvu.
17
“Okuggyawo obutali bulongoofu bw'omuntu oyo, banaatoolanga ku vvu ery'ekiweebwayo ky'ente eya lukunyu eyayokebwa olw'okutukuza, ne baliteeka mu kibya, ne baliyiwamu amazzi agaggyiddwa mu mugga ogukulukuta.
18
Omuntu omulongoofu anaddiranga ezobu, n'aginnyika mu mazzi, n'agamansira ku weema, ne ku bintu byonna, ne ku bantu abalimu, ne ku oyo eyakoma ku ggumba, oba ku oyo eyattibwa, oba eyafa yekka, oba ku malaalo.
19
Ku lunaku olwokusatu ne ku lunaku olw'omusanvu omuntu oyo omulongoofu anaamansiranga amazzi ag'okutukuza ku oyo atali mulongoofu. Oyo atali mulongoofu ku lunaku olw'omusanvu anaayozanga engoye ze n'anaaba n'amazzi n'alyoka abeera omulongoofu akawungeezi.
20
“Omuntu atali mulongoofu bw'ateetukuza, asigala nga si mulongoofu, kubanga amazzi ag'okwetukuza gaba tegamumansiddwako. Era olw'obutaba mulongoofu, ayonoona awatukuvu wa Mukama, era anaaboolebwanga n'ava mu kibiina ky'abaana ba Isiraeri.
21
Era lino linaabanga tteeka gyebali eritaliggwaawo: n'oyo anaamansiranga amazzi ag'okutukuza anaayozanga engoye ze; n'oyo anaakomanga ku mazzi ag'okutukuza anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
22
Buli kintu atali mulongoofu ky'anaakomangako, kinaabanga ekitali kirongoofu; n'omuntu omulala yenna anaakikomangako, anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.”
← Chapter 18
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 20 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36