bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Numbers 15
Numbers 15
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 16 →
1
Mukama n'agamba Musa nti,
2
“Yogera n'abaana ba Isiraeri obagambe nti, Bwe mulimala okutuuka mu nsi gye mbawa okutuulamu
3
era bwe munaawangayo ekiweebwayo eri Mukama, ku nte oba ku ndiga; ekiweebwayo n'omuliro, n'ekiweebwayo ekyokebwa, oba ssaddaaka okutuukiriza obweyamo, oba ekiweebwayo mu kweyagalira oba okuwaayo ku mbaga zammwe ezaalagirwa okuba evvumbe eddungi eri Mukama;
4
kale oyo anaawangayo ekiweebwayo kye, anaawangayo eri Mukama ekiweebwayo eky'obutta eky'ekitundu eky'ekkumi ekya efa, ey'obutta obulungi obutabuddwamu ekitundu ekyokuna ekya ini ey'amafuta.
5
Buli mwana gw'endiga ogunaawebwangayo ng'ekiweebwayo ekyokebwa oba olwa ssaddaaka endala yonna, oyo awaayo anaaleterangako envinnyo okuba ekiweebwayo eky'okunywa, ekitundu ekyokuna ekya ini.
6
Bwanaawangayo endiga ennume, anaaleterangako ekiweebwayo eky'obutta ebitundu bibiri eby'ekkumi ebya efa ey'obutta obulungi obutabuddwamu ekitundu eky'okusatu ekya ini ey'amafuta;
7
Ku kiweebwayo eky'okunywa anaawangayo ekitundu eky'okusatu ekya ini ey'envinnyo ey'akawoowo eri Mukama.
8
Era bw'anaaleetanga ente okuba ekiweebwayo ekyokebwa oba okuba ssaddaaka okutuukiriza obweyamo, oba okuba ebiweebwayo olw'emirembe eri Mukama;
9
anaaleterangako ekiweebwayo eky'obutta ebitundu bisatu eby'ekkumi ebya efa ey'obutta obulungi, obutabuddwamu ekitundu kya ini ey'amafuta.
10
Era anaaleterangako ekiweebwayo eky'okunywa, ekitundu kya ini ey'envinnyo ey'akawoowo eri Mukama.”
11
“Bwe kityo bwe kinaakolebwanga ku buli nte, oba ku buli ndiga ennume, oba ku buli mwana gw'endiga omulume, oba abaana b'embuzi.
12
Obungi bw'ebintu ebyo ebigenderako buneeyongeranga okusinziira ku bungi bw'ensolo ze munaategekanga okuwaayo.
13
Enzaalwa bonna banaakolanga ebyo bwe batyo, bwe banaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro, eky'evvumbe eddungi eri Mukama.
14
Era omugenyi bw'anaatuulanga nammwe, oba buli anaabanga mu mmwe mu mirembe gyammwe gyonna, era ng'ayagadde okuwaayo ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro, eky'evvumbe eddungi eri Mukama; nga mmwe bwe mukola, naye bw'anaakolanga bw'atyo.
15
Mu kibiina, wanaabangawo etteeka limu gye muli, n'eri omugenyi anaatuulanga mu mmwe, etteeka eritaliggwaawo mu mirembe gyammwe gyonna; nga mmwe bwe muli, n'omugenyi bw'anaabanga bw'atyo mu maaso ga Mukama.
16
Etteeka n'obulombolombo binaabanga bye bimu gye muli n'eri omugenyi anaatuulanga mu mmwe.”
17
Mukama n'agamba Musa nti,
18
“Yogera n'abaana ba Isiraeri obagambe nti, Bwe mulituuka mu nsi gye mbatwala,
19
ne mulya ku mmere gye mulimye mu nsi eyo, munaatoolangako ne muwaayo ekiweebwayo ekisitulibwa eri Mukama.
20
Ku kitole ekisooka ekikandiddwa kwe munaggyanga omugaati ne muguwaayo okuba ekiweebwayo ekisitulibwa; nga bwe mukola ekiweebwayo ekisitulibwa eky'omu guuliro, bwe munaakisitulanga bwe mutyo.
21
Ku kitole kyammwe ekisooka ekikandiddwa, kwe munaggyanga ekiweebwayo ekisitulibwa okuwa Mukama mu mirembe gyammwe gyonna.”
22
“Era bwe munaasobyanga ne mutakwata biragiro bino byonna Mukama bye yabuulira Musa,
23
byonna Mukama bye yabalagira ng'ayita mu Musa, okuva ku lunaku Mukama lwe yaweerako ebiragiro ebyo, ne mu mirembe gyammwe gyonna;
24
awo olunaatuukanga, bwe munaabanga mukikoze nga temugenderedde, ekibiina nga tekimanyi, ekibiina kyonna kinaawangayo ente emu envubuka okuba ekiweebwayo ekyokebwa, olw'evvumbe eddungi eri Mukama, era munaaleeterangako n'ekiweebwayo eky'obutta, n'ekiweebwayo eky'okunywa ng'etteeka bwe liri, n'embuzi emu ennume okuba ekiweebwayo olw'ekibi.
25
Era kabona anaatangiriranga ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri, era banaasonyiyibwanga; kubanga basobezza nga tebagenderedde, era nga baleese ekiweebwayo kyabwe, ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eri Mukama, ekiweebwayo kyabwe olw'ekibi mu maaso ga Mukama, olw'okusobya kwabwe.
26
Ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri banaasonyiyibwanga, n'omugenyi atuula mu bo; kubanga kyakolebwa abantu bonna nga tebagenderedde.
27
Era omuntu bw'anaayonoonanga nga tagenderedde, anaawangayo embuzi enduusi ewezezza omwaka okuba ekiweebwayo olw'ekibi.
28
Kabona anaatangiriranga mu maaso ga Mukama, omuntu asobezza nga tagenderedde; era anaasonyiyibwanga.
29
Munaabanga n'etteeka limu eri enzaalwa n'eri omugenyi atuula mu mmwe, anaakolanga ekikolwa kyonna nga tagenderedde.”
30
“Naye omuntu anaakolanga ekikolwa kyonna n'ekyejo, oba nga nzaalwa oba nga mugenyi, oyo ng'avvodde Mukama; omuntu oyo anattibwanga,
31
kubanga anyoomye ekigambo kya Mukama era ng'amenye ekiragiro kye; omuntu oyo anattibwanga; obutali butuukirivu bwe bunaabanga ku ye.”
32
Awo abaana ba Isiraeri bwe baali nga bakyali mu ddungu, ne basanga omuntu ng'atyaba enku ku lunaku lwa Ssabbiiti.
33
N'abo abaamusanga ng'atyaba enku ne bamuleetera Musa ne Alooni n'ekibiina kyonna.
34
Ne bamusiba, kubanga baali tebannamanya kyakumukolera.
35
Mukama n'agamba Musa nti, “Omuntu oyo ateekwa okuttibwa. Ekibiina kyonna kinaamukubira amayinja ebweru w'olusiisira.”
36
Ekibiina kyonna ne kimutwala ebweru w'olusiisira, ne kimukuba amayinja, n'afa; nga Mukama bwe yalagira Musa.
37
Mukama n'agamba Musa nti,
38
“Yogera n'abaana ba Isiraeri obalagire okwekolera ebijwenge ku nkugiro z'ebyambalo byabwe mu mirembe gyabwe gyonna, era bateekeko omuguwa ogwa bbulu ku bijwenge ebiri ku buli lukugiro;
39
Buli lwe munaalabanga ebijwenge ebyo, binaababeereranga akabonero okubajjukiza ebiragiro byonna ebya Mukama. Mu bikwatenga; muleme okunvaako nga mukola ng'okwegomba kw'emitima gyammwe n'amaaso gammwe bwe kuli.
40
Mujjukire ebiragiro byange byonna mubikwate mube batukuvu eri Katonda wammwe.
41
Nze Mukama Katonda wammwe, eyabaggya mu nsi y'e Misiri, okuba Katonda wammwe. Nze Mukama Katonda wammwe.”
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 16 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36