bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Numbers 35
Numbers 35
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 34
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 36 →
1
Mukama n'agambira Musa mu nsenyi z'e Mowaabu, okwolekera Yeriko nti,
2
“Lagira abaana ba Isiraeri bawe Abaleevi ebibuga eby'okutuulamu nga babiggya ku butaka bwabwe, era obawe n'ettaka eryetoolodde ebibuga ebyo olw'okulundirako.
3
Ebibuga ebyo binaabanga by'Abaleevi okutuulamu; n'ettaka linaabanga lyabwe okulundirangako amagana gaabwe ag'ente, n'ebisibo byabwe eby'endiga n'embuzi, n'ensolo zaabwe endala zonna.”
4
“Ettaka eryetoolodde ebibuga lye muliwa Abaleevi, liriva ku bbugwe w'ekibuga, emikono lukumi (1,000) enjuyi zonna.
5
Era muligera ebweru w'ekibuga ku luuyi olw'ebuvanjuba emikono enkumi bbiri (2,000), ne ku luuyi olw'obukiikaddyo emikono enkumi bbiri (2,000), ne ku luuyi olw'ebugwanjuba emikono enkumi bbiri (2,000), ne ku luuyi olw'obukiikakkono emikono enkumi bbiri (2,000), ekibuga nga kiri wakati. Eryo lye liriba ettaka” ery'okulundirangako, okwetooloola ebibuga byabwe.
6
“Ebibuga mukaaga ku ebyo bye muliwa Abaleevi, biriba bibuga bya buddukiro, ebiyinza okuddukirwangamu buli anaabanga asse omuntu nga tagenderedde. Ku ebyo, mulibongerako ebibuga ebirala ana mu bibiri (42).
7
Ebibuga byonna bye muliwa Abaleevi biriba ebibuga ana mu munaana (48); n'ettaka ery'okulundirangako.
8
Ebibuga bye muliggya ku butaka bw'Abaisiraeri okubigaba, abangi mulibaggyako bingi, n'abatono mulibaggyako bitono. Buli kika kiriwa Abaleevi ebibuga, okusinziira ku bungi bw'ebibuga bye kyagabana.”
9
Mukama n'agamba Musa nti,
10
“ Yogera n'abaana ba Isiraeri obagambe nti, Bwe mulisomoka Yoludaani ne muyingira mu nsi ya Kanani,
11
mulyerondera ebibuga eby'obuddukiro; omunaddukiranga omuntu yenna anattanga omuntu nga tagenderedde.
12
Ebibuga ebyo binaabanga bya kuddukiramu okuwona omuwoolezi w'eggwanga; omussi alemenga okuttibwa nga tannawozesebwa mu maaso g'ekibiina.
13
Ebibuga bye muliwaayo okuba ebibuga eby'obuddukiro, biriba mukaaga.
14
Muliwaayo ebibuga bisatu ebuvanjuba bwa Yoludaani, n'ebirala bisatu mu nsi y'e Kanani, bibenga bibuga bya buddukiro.
15
Ebibuga ebyo omukaaga binaabanga buddukiro bwa Baisiraeri, n'omugenyi, ne mu nnaggwanga atuula mu bo. Buli anattanga omuntu nga tagenderedde, anaddukiranga omwo.”
16
“Naye oyo anaakubisanga omuntu ekyuma n'amutta, oyo nga mussi wa muntu, naye talemanga kuttibwa.
17
Era bw'amukubanga ejjinja eriyinza okutta omuntu n'afa, oyo nga mussi wa muntu, talemanga kuttibwa.
18
Era oyo anaakubanga omuntu n'ekintu eky'omuti, era omuntu oyo n'afa; akoze ekyo nga mussi, talemanga kuttibwa.
19
Ow'oluganda olw'okumpi olw'omuntu attiddwa, yennyini ye anattanga omussi w'omuntu oyo w'anamusisinkananga wonna.”
20
“Era oba nga yamufumita olw'okumukyawa, oba nga yamuteega n'amukasuukirira ekintu kyonna n'afa;
21
oba yamukuba ekikonde olw'obulabe, n'amutta; oyo nga mussi wa muntu; ow'oluganda olw'okumpi olw'oyo attiddwa, talemanga kutta mussi oyo wonna w'anamusisinkananga.”
22
“Naye oba nga yamufumita mangu awatali bulabe, oba yamukasuukirira ekintu kyonna nga tateeze,
23
oba ejjinja lyonna eriyinza okutta omuntu, nga tamulabye, ne limugwako n'okufa n'afa, so nga tabangako mulabe we, era nga teyagenderera ku mukola bubi;
24
kale ekibiina ky'abantu kinaasalangawo mu lujjudde, wakati w'oyo eyakuba, n'ow'oluganda olw'okumpi olw'omufu, nga bagoberera amateeka gano.
25
Ekibiina ky'abantu kinejjeerezanga omussi w'omuntu, ne kimuwonya mu mukono gw'omuwoolezi w'eggwanga era kinaamuzzangayo mu kibuga kye eky'obuddukiro; era anaabeeranga omwo okutuusa kabona eyafukibwako amafuta amatukuvu ng'afudde.
26
Naye omussi w'omuntu bw'anasukkanga ensalo ey'ekibuga kye eky'obuddukiro;
27
omuwoolezi w'eggwanga n'amusanga ng'asusse ensalo y'ekibuga kye eky'obuddukiro, n'amutta, tabengako musango gwa musaayi;
28
kubanga yalema okubeera mu kibuga kye eky'obuddukiro, okutuusa kabona omukulu ng'afudde, olwo alyoke addeyo mu nsi ey'obutaka bwe.
29
Ago ge ganaabanga amateeka ge muneekuumanga mmwe, n'abalibaddirira bonna, buli we munaabeeranga.
30
Buli anattanga omuntu yenna, anattibwanga olw'obujulizi bw'abajulirwa; naye omujulirwa omu taalumirizenga muntu yenna okuttibwa.
31
Era temukkirizanga kununula bulamu bwa mussi wa muntu asaanidde okufa; talemanga kuttibwa.
32
Era oyo eyaddukira mu kibuga eky'obuddukiro, temuumukkirizenga kubaako ky'asasula asobole okudda ewaabwe, nga kabona asinga obukulu tannafa.
33
Bwe mulikola ekyo, muliba mwonoonye ensi gye mubeeramu, kubanga obussi bwonoona ensi. Tewali kiyinza kufunira nsi kisonyiwo olw'obussi obwakolebwa mu yo, okuggyako okutta oyo omussi.
34
So temwonoonanga nsi gye mutuulamu, gye mbeeramu wakati; kubanga Nze Mukama mbeera wakati mu baana ba Isiraeri.”
← Chapter 34
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 36 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36