bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Numbers 5
Numbers 5
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 6 →
1
Mukama n'agamba Musa nti,
2
“Lagira abaana ba Isiraeri, baggye mu lusiisira buli mugenge, na buli muziku, na buli afuuse atali mulongoofu olw'okukoma ku kifudde.
3
Abasajja n'abakazi munaabaggyangamu, munaabafulumyanga ebweru w'olusiisira; balemenga okwonoona olusiisira lwe ntuulamu wakati.”
4
Abaana ba Isiraeri ne bakola bwe batyo, ne babafulumya ebweru w'olusiisira; nga Mukama bwe yagamba Musa.
5
Mukama n'agamba Musa nti,
6
“Gamba abaana ba Isiraeri nti, Omusajja oba omukazi bw'anaakolanga ekibi kyonna ku muntu munne, ng'asobezza Mukama, era anaabangako omusango;
7
kale anaayatulanga ekibi kye ky'akoze; era anaaliyiranga ddala byonna olw'omusango gwe, n'agattako n'ekitundu kyabyo ekyokutaano, n'abiwa oyo gw'azzizzaako omusango.
8
Naye gwe bazzaako omusango bw'aba nga yafa, ate nga talina wa luganda lwe olw'okumpi ayinza kuliyirwa, ekyo ekiriyibwa olw'omusango kinaabanga kya Mukama, ne kabona anaakitwalanga ne kiba kikye, ne kyongerwako endiga ennume eweebwayo nga ssaddaaka olw'okusonyiwa ebibi by'oyo eyazza omusango.
9
Na buli kiweebwayo ekitukuvu abaana ba Isiraeri kye baleeta eri kabona, kinaabanga kikye.
10
Buli kintu kyonna ekitukuvu, omuntu ky'anaaleetanga eri kabona, kinaabanga kya kabona oyo gwe bakikwasizza.”
11
Mukama n'ayogera ne Musa nti,
12
“Yogera n'abaana ba Isiraeri, obagambe nti, Omusajja yenna bw'anaateeberezanga mukazi we obutaba mwesigwa gyali,
13
nga yeegasse n'omusajja omulala mu nkiso ne yeyonoona, so nga ne bba takimanyi era nga tewali muntu amusisinkanirizza okumulumiriza;
14
bba bw'anaamukwatirwanga obuggya nga kituufu ng'omukazi ayonoonye, oba bw'anaamukwatirwanga obuggya nga sikituufu ng'omukazi tayonoonye,
15
kale omusajja oyo anaatwalanga mukazi we eri kabona, n'amuweerayo ekiweebwayo eky'ekitundu eky'ekkumi ekya efa eky'obutta obwa sayiri. Takifukangako mafuta gonna, so takiteekangako mugavu; kubanga kye kiweebwayo eky'obutta olw'obuggya, ekijjukiza obutali butuukirivu.
16
Awo kabona anaamusembezanga, n'amuteeka mu maaso ga Mukama,
17
kabona n'addira amazzi amatukuvu agali mu kibya n'agatabulamu enfuufu gy'ayodde wansi mu weema.
18
Kabona n'ateeka omukazi mu maaso ga Mukama, n'amusumulula enviiri n'amukwasa mu ngalo ekiweebwayo eky'obutta eky'okujjukiza obuggya; era kabona anaakwatanga mu mukono gwe amazzi agakaawa agaleeta ekikolimo.
19
Awo kabona anaamulayizanga n'agamba omukazi nti, oba nga tewali musajja eyeegatta naawe, era nga tokyamanga eri obutali bulongoofu ng'ofugibwa balo, amazzi gano agakaawa, agaleeta ekikolimo tegaakukole kabi;
20
naye oba nga wakyama, ng'ofugibwa balo, era ng'oyonoonese, era omusajja omulala atali balo nga yeegatta naawe, ganaakukolako akabi.
21
Awo kabona anaalayizanga omukazi ekirayiro eky'ekikolimo, n'agamba omukazi nti, Mukama akufuule ekikolimo n'eky'okulabirako mu bantu bo, ng'akoozimbya ekisambi kyo, n'atumbiiza n'olubuto lwo;
22
n'amazzi gano agaleeta ekikolimo ganaagenda mu byenda byo, ne gatumbiiza olubuto lwo, ne gakoozimbya ekisambi kyo. Omukazi n'addamu nti Amiina, Amiina.”
23
“Awo kabona anaawandiikanga ebikolimo ebyo mu kitabo, n'abyozaako n'amazzi agakaawa;
24
n'anywesa omukazi amazzi agakaawa agaleeta ekikolimo; amazzi agaleeta ekikolimo ne gayingira mu ye ne gakaawa.
25
Awo kabona anaaggyanga ekiweebwayo eky'obutta eky'obuggya mu mukono gw'omukazi, n'awuuba ekiweebwayo eky'obutta mu maaso ga Mukama, n'akitwala ku kyoto;
26
kabona n'addira olubatu olw'obutta obuweebwayo, okuba ekijjukizo, n'abwokera ku kyoto, oluvannyuma n'anywesa omukazi amazzi ago.
27
Awo bw'anaamalanga okumunywesa amazzi, era bw'anaabanga ayonoonese, nga tabadde mwesigwa eri bbaawe, amazzi agaleeta ekikolimo ganaayingiranga mu ye ne gakaawa, n'olubuto lwe ne lutumbiira, n'ekisambi kye ne kikoozimba: n'omukazi anaabanga kikolimo mu bantu be.
28
Era omukazi bw'anaabanga tayonoonese, nga mulongoofu; kale taabengako kabi konna, era anaasobolanga okuzaala abaana.”
29
Eryo lye tteeka ery'obuggya, omukazi bw'aba ng'afugibwa bba bw'ataabenga mwesigwa n'ayonooneka;
30
oba obuggya bwe bunaakwatanga omusajja, anaaleetanga mukazi we mu maaso ga Mukama, ne kabona anaakolanga byonna ng'etteeka bwe liri.
31
Omusajja taabengako butali butuukirivu, naye omukazi oyo anaabangako obutali butuukirivu bwe.
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 6 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36