bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Numbers 28
Numbers 28
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 27
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 29 →
1
Mukama n'agamba Musa nti,
2
“Lagira abaana ba Isiraeri obagambe nti, ‘Ekirabo kyange eky'emmere, ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eky'evvumbe eddungi kye nsanyukira, munaakiwangayo mu kiseera kyakyo ekyalagirwa.’ ”
3
Era onoobagamba nti, “Kino kye kiweebwayo ekyokebwa n'omuliro kye munaawangayo eri Mukama: abaana b'endiga abalume abataliiko bulema, abawezezza omwaka gumu, buli lunaku babiri, okuba ekiweebwayo ekyokebwa ekitaliggwaawo.
4
Omwana gw'endiga ogumu onooguwangayo enkya, n'ogwokubiri onooguwangayo akawungeezi;
5
n'ekitundu eky'ekkumi ekya efa ey'obutta obulungi okuba ekiweebwayo eky'obutta, ekitabuddwamu ekitundu ekyokuna ekya ini ey'amafuta agasinga obulungi.”
6
Ekyo kye kiweebwayo ekyokebwa n'omuliro ekitaliggwaawo, ekyalagirwa ku lusozi Sinaayi, okuba evvumbe eddungi, ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eri Mukama.
7
N'ekiweebwayo eky'okunywa ekigendera ku mwana gw'endiga oguweebwayo enkya, kinaabanga kitundu kya kuna ekya ini. Ekiweebwayo ekyo kinaabanga kika, era onookifukanga mu watukuvu eri Mukama.
8
Ne ku mwana gw'endiga ogwokubiri oguweebwayo akawungeezi, onoowangayo eky'okunywa kyakwo nga bwe kiragirwa. Bw'otyo bw'onoowangayo eri Mukama ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eky'evvumbe eddungi.
9
“Ne ku Ssabbiiti munaawangayo endiga ento ennume ezitaliiko bulema, eziwezezza omwaka, bbiri; n'ebitundu eby'ekkumi bibiri ebya efa ey'obutta obulungi obutabuddwamu amafuta, okuba ekiweebwayo eky'obutta, wamu n'ekiweebwayo eky'okunywa kyakwo.
10
Ekyo kye kiweebwayo ekya buli Ssabbiiti, ekyongerwa ku kiweebwayo ekyokebwa ekya buli lunaku, n'ekiweebwayo eky'okunywa kyakwo.”
11
“Era ku buli lunaku olusooka olwa buli mwezi, munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama: ente envubuka bbiri, endiga ennume emu, endiga ento musanvu ezitaliiko bulema eziwezezza omwaka;
12
n'ebitundu eby'ekkumi bisatu ebya efa ey'obutta obulungi obutabuddwamu amafuta, okuba ekiweebwayo eky'obutta ku buli nte; n'ebitundu eby'ekkumi bibiri eby'obutta obulungi obutabuddwamu amafuta ku buli ndiga;
13
n'ekitundu ekirala eky'ekkumi eky'obutta obulungi obutabuddwamu amafuta okuba ekiweebwayo eky'obutta ku buli ndiga nto; kye kiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eky'evvumbe eddungi eri Mukama.
14
N'ebiweebwayo eby'okunywa ebigenderako bye bino: ku nte; ekitundu eky'ekkumi eky'evinnyo. Ku ndiga ennume, ekitundu eky'okusatu ekya ini; ku ndiga ento ekitundu ekyokuna ekya ini. Ekyo kye kiweebwayo ekyokebwa ekya buli lunaku olusooka olw'omwezi okumalako omwaka gwonna.
15
Ku ebyo byonna on'ogattangako ekiweebwayo eri Mukama, embuzi ennume emu.
16
“Era ku lunaku olw'ekkumi n'ennya, olw'omwezi ogwolubereberye mu mwaka, wanaabangawo embaga ey'Okuyitako kwa Mukama.
17
Ne ku lunaku olw'ekkumi n'ettaano olw'omwezi ogwo, wanaabangawo embaga Ey'emigaati egitazimbulukusiddwa, eginaaliibwanga okumala ennaku musanvu.
18
Ku lunaku olwolubereberye olw'embaga eyo wanaabangawo okukuŋŋaana okutukuvu; temulukolerangako mulimu gwonna.
19
Munaawangayo ekiweebwayo eky'okebwa n'omuliro eri Mukama: ente envubuka bbiri, endiga ennume emu n'endiga ento ennume musanvu eziwezezza omwaka ezitaliiko bulema.
20
Era munaawangayo ekiweebwayo eky'obutta obulungi obutabuddwamu amafuta, ebitundu eby'ekkumi bisatu ku buli nte, n'ebitundu eby'ekkumi bibiri olw'endiga ennume;
21
n'ekitundu ekirala eky'ekkumi ku buli ndiga ento omusanvu;
22
n'embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi, okubatangirira.
23
Munaawangayo ebyo, ne mugattako ekiweebwayo eky'okebwa eky'enkya ekya buli lunaku.
24
Bwe mutyo bwe munaawangayo buli lunaku, okumalako ennaku musanvu, eky'okulya eky'ekiweebwayo ekyokebwa n'omuliro, eky'evvumbe eddungi eri Mukama awamu n'eky'okunywa kyakwo.
25
Ne ku lunaku olw'omusanvu munaabanga n'okukuŋŋaana okutukuvu; temulukolerangako mulimu gwonna.
26
“Ku lunaku olusooka olw'embaga ey'amakungula, emala ennaku omusanvu, kwe munaaweerangayo ekiweebwayo eky'obutta obuggya eri Mukama, wanaabangawo okukuŋŋaana okutukuvu. Temulukolerangako mulimu gwonna.
27
Naye munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa, okuba evvumbe eddungi eri Mukama: ente envubuka bbiri, endiga ennume emu, abaana b'endiga ento ennume musanvu, eziwezezza omwaka;
28
n'ekiweebwayo eky'obutta obulungi obutabuddwamu amafuta, ekigenderako ebitundu eby'ekkumi bisatu ku buli nte, ebitundu eby'ekkumi bibiri olw'endiga ennume;
29
Era munaawangayo ekitundu ekirala eky'ekkumi ku buli ndiga ento omusanvu,
30
n'embuzi ennume emu okubatangirira.
31
Awamu n'ebyo, munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa ekya buli lunaku, n'ekiweebwayo eky'okunywa ekigenderako. Mugenderere, mulabe ng'ebiweebwayo byonna tebiriiko bulema.
← Chapter 27
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 29 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36