bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Numbers 3
Numbers 3
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 4 →
1
Lino lye zzadde lya Alooni ne Musa, mu kiseera Mukama kye yayogereramu ne Musa ku Lusozi Sinaayi.
2
Era gano ge mannya g'abaana ba Alooni: Nadabu, omubereberye, Abiku, Eriyazaali, ne Isamaali.
3
Ago ge mannya ga batabani ba Alooni; bakabona abaafukibwako amafuta, be yayawula okuweererezanga mu bwakabona.
4
Era Nadabu ne Abiku ne bafiira mu maaso ga Mukama, bwe baawaayo omuliro ogutali gugwe mu maaso ga Mukama, mu ddungu ly'e Sinaayi; ne bataba na baana. Awo Eriyazaali ne Isamaali ne baweerezanga mu bwakabona mu maaso ga Alooni kitaabwe.
5
Mukama n'agamba Musa nti,
6
“Sembeza ekika kya Leevi, obateeke mu maaso ga Alooni kabona, bamuweerezenga.
7
banaayambanga kabona n'abantu bonna okutuukiriza bye balagirwa okukola mu Weema ey'okusisinkanirangamu.
8
Era banaakuumanga ebintu byonna eby'omu Weema ey'okusisinkanirangamu, n'ebyo abaana ba Isiraeri bye baalagirwa, n'okukolanga okuweereza okw'omu Weema.
9
Era onooggyanga Abaleevi okuva mu baana ba Isiraeri baweerezenga Alooni ne batabani be.
10
Era onooteekawo Alooni ne batabani be, okukola omulimu gwabwe ogw'obwakabona. Omuntu omulala yenna anaagezangako okugukola, anattibwanga.”
11
Awo Mukama n'agamba Musa nti,
12
“Mu kifo ky'okutwala ababereberye ab'obulenzi mu baana ba Isiraeri, Nze ntuttemu Abaleevi okuba abange.
13
Ababereberye bonna bange; okuviira ddala ku lunaku lwe nnattirako ababereberye bonna mu nsi y'e Misiri, nneeroboza ababereberye bonna mu Isiraeri, okuva mu bantu era n'ensolo. Banaabanga bange, Nze Mukama.”
14
Awo Mukama n'agambira Musa mu ddungu ly'e Sinaayi nti,
15
“Bala abaana ba Leevi ng'ennyumba za bakitaabwe bwe ziri, ng'enda zaabwe bwe ziri, buli mwana mulenzi awezezza omwezi ogumu n'okusingawo onoomubala.”
16
Musa n'ababala ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali, nga bwe yalagirwa.
17
Era bano be baana ba Leevi ng'amannya gaabwe bwe gali: Gerusoni, Kokasi ne Merali.
18
Era gano ge mannya g'abaana ba Gerusoni ng'enda zaabwe bwe zaali: Libuni ne Simeeyi.
19
Abaana ba Kokasi ng'enda zaabwe bwe zaali be bano: Amulaamu, Izukali, Kebbulooni ne Wuziyeeri.
20
N'abaana ba Merali ng'enda zaabwe bwe zaali: Makuli ne Musi. Ezo ze nda z'Abaleevi ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali.
21
Mu Gerusoni mwe mwava enda y'Abalibuni, n'enda y'Abasimeeyi; ezo ze nda z'Abagerusoni.
22
Abo abaabalibwa ku bo ng'omuwendo gw'abasajja bonna bwe gwali, abawezezza omwezi ogumu n'okusingawo, baali kasanvu mu bitaano (7,500).
23
Ab'enda z'Abagerusoni banaasiisiranga emabega w'Eweema ku luuyi olw'ebugwanjuba.
24
Eriyasaafu, mutabani wa Laeri y'anaabanga omukulu w'ennyumba ey'Abagerusoni.
25
Omulimu gwa ba Gerusoni mu Weema ey'okusisinkanirangamu Mukama, gunaabanga gwa kugirabiriranga, awamu n'ebyo ebigibikkako munda ne kungulu, n'okulabirira olutimbe olw'omu mulyango gwayo,
26
n'entimbe ez'oluggya ezirwetooloola, n'ekyoto, n'olutimbe lw'omulyango gw'oluggya olwo, n'emiguwa gyalwo egikozesebwa ku mulimu gwalwo gwonna.
27
Ne mu Kokasi mwe mwava enda y'Abamulaamu, ey'Abaizukaali, ey'Abakebbulooni, n'ey'Abawuziyeeri; ezo ze nda z'Abakokasi.
28
Omuwendo gw'abasajja bonna abaali bawezezza omwezi gumu n'okusingawo gwali kanaana mu lukaaga (8,600). Abo be baalabiriranga awatukuvu nga bwe baalagirwa.
29
Enda z'abaana ba Kokasi banaasiisiranga ku luuyi olw'Eweema olw'obukiikaddyo.
30
Era Erizefani, mutabani wa Wuziyeeri y'anaabanga omukulu w'ennyumba y'Abakokasi.
31
Era omulimu gwabwe gunaabanga kulabirira ssanduuko, n'emmeeza, n'ekikondo, n'ebyoto, n'ebintu eby'omu watukuvu bye baweerezesa n'olutimbe n'okuweereza kwalwo kwonna.
32
Ne Eriyazaali, mutabani wa Alooni kabona, ye anaabanga omukulu w'abakulu b'Abaleevi, ng'alabirira abo abakuuma awatukuvu we balagirwa.
33
Mu Merali mwe mwava enda y'Abamakuli n'enda y'Abamusi; ezo ze nda za Merali.
34
Era abo abaabalibwa ku bo, ng'omuwendo gw'abasajja bonna bwe gwali, abawezezza omwezi ogumu n'okusingawo, baali kakaaga mu bibiri (6,200).
35
Era Zuliyeeri, mutabani wa Abikayiri ye mukulu w'enda ya Merali; abo banaasiisiranga ku luuyi lw'ennyumba olw'obukiikakkono.
36
N'omulimu ogw'abaana ba Merali gunaabanga okulabirira embaawo ez'e Weema, n'emisituliro gyayo, n'empagi zaayo, n'ebinnya byayo, n'ebintu byayo byonna, n'okuweereza kwayo kwonna;
37
n'empagi ez'oluggya olwetooloola Weema, n'ebinnya byazo, n'enninga zaazo, n'emiguwa gyazo.
38
Musa ne Alooni ne batabani be banaasiisiranga mu maaso g'Eweema ku luuyi olw'ebuvanjuba, mu maaso g'Eweema ey'okusisinkanirangamu okwolekera enjuba gy'eva, nga bakuuma awatukuvu we balagirwa. Omuntu yenna anaasemberanga anattibwanga.
39
Bonna abaabalibwa ku Baleevi, Musa ne Alooni be baabala olw'ekiragiro kya Mukama ng'enda zaabwe bwe zaali, abasajja bonna abawezezza omwezi ogumu n'okusingawo, baali emitwalo ebiri mu enkumi bbiri (22,000).
40
Mukama n'agamba Musa nti, “Bala abasajja ababereberye bonna ku baana ba Isiraeri abawezezza omwezi ogumu n'okusingawo, owandiike amannya gaabwe.
41
Era mu kifo ky'abasajja ababereberye bonna ku baana ba Isiraeri, njawulira Abaleevi babe bange, Nze Mukama. Era njawulira ebisibo by'Abaleevi bibe byange mu kifo ky'embereberye zonna, mu bisibo by'abaana ba Isiraeri.”
42
Awo Musa n'abala abasajja ababereberye bonna ku baana ba Isiraeri, nga Mukama bwe yamulagira.
43
N'abasajja ababereberye bonna abaali bawezezza omwezi ogumu n'okusingawo, omuwendo gwabwe gwali emitwalo ebiri mu enkumi bbiri mu bibiri mu nsavu mu basatu (22,273).
44
Mukama n'agamba Musa nti,
45
“Njawulira Abaleevi mu kifo ky'ababereberye bonna ku baana ba Isiraeri babe bange, n'ebisibo by'Abaleevi mu kifo ky'ebisibo by'abaana ba Isiraeri; binaabanga byange, Nze Mukama.
46
Olw'okununula abasajja ababereberye ebibiri mu ensanvu mu basatu (273) ab'oku baana ba Isiraeri abasukka ku muwendo gw'Abaleevi,
47
onoosoloozanga sekeri ttaano ku buli muntu, nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri, ze gera abiri (20),
48
era omuwendo ogwo ogw'okununula abo abasukkamu, onooguwanga Alooni ne batabani be.”
49
Musa n'abasoloozako ffeeza enunula abo abaasukka ku abo abataanunulibwa n'Abaleevi.
50
Omuwendo ogwasoloozeebwa ku abo abataanunulibwa n'Abaleevi gwali sekeri lukumi mu bisatu mu nkaaga mu ssatu (1,363), nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri.
51
Awo Musa n'awa Alooni ne batabani be omuwendo gwonna ogwasoloozeebwa, nga Mukama bwe yamulagira.
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
Recommended Reading
Commentary
Numbers Commentaries
→
Devotional
Numbers Devotional Guide
→
Get This Bible
LBR Study Bible
→