bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Numbers 13
Numbers 13
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 14 →
1
Awo Mukama n'agamba Musa nti,
2
“Tuma abantu bakette ensi ya Kanani, gyempa abaana ba Isiraeri: onooggya omuntu omu, omukulembeze mu buli kika omutume.”
3
Awo Musa n'abatuma ng'ayima mu ddungu lye Palani ng'ekiragiro kya Mukama bwe kyali; abasajja bonna abaali abakulembeze be bika by'abaana ba Isiraeri.
4
N'amannya gaabwe ge gano: mu kika kya Lewubeeni, Semuwa mutabani wa Zakula.
5
Mu kika kya Simyoni, Safati mutabani wa Koli.
6
Mu kika kya Yuda, Kalebu mutabani wa Yefune.
7
Mu kika kya Isakaali, Igali mutabani wa Yusufu.
8
Mu kika kya Efulayimu, Koseya mutabani wa Nuuni.
9
Mu kika kya Benyamini, Paluti mutabani wa Lafu.
10
Mu kika kya Zebbulooni, Gadyeri mutabani wa Sodi.
11
Mu kika kya Yusufu, kye kika kya Manase, Gaadi mutabani wa Susi.
12
Mu kika kya Ddaani, Ammiyeri mutabani wa Gemali.
13
Mu kika kya Aseri, Sesula mutabani wa Mikaeri.
14
Mu kika kya Nafutaali, Nakabi mutabani wa Vofesi.
15
Mu kika kya Gaadi, Geweri mutabani wa Maki.
16
Ago ge mannya g'abantu Musa be yatuma okuketta ensi. Musa n'atuuma Koseya, mutabani wa Nuuni, Yoswa.
17
Musa n'abatuma okuketta ensi ya Kanani n'abagamba nti, “Mwambukire mu kkubo lino ery'obukiikaddyo mulinnye ku nsozi,
18
mulengere ensi bw'eri; n'abantu abagituulamu oba nga ba maanyi oba nga banafu, oba nga batono oba nga bangi;
19
era ensi bw'eri gye batuulamu, oba nga nnungi oba nga mbi; n'ebibuga bwe biri bye batuulamu, oba nga nsiisira, oba nga bigo ebigumu;
20
era ensi bw'eri, oba nga ngimu oba nga nkalu, oba nga mulimu emiti oba temuli. Mugume omwoyo, muleete ku bibala byamu.” Ebiro ebyo byali biro bya zabbibu ezisooka okwengera.
21
Awo ne bambuka, ne baketta ensi okuva mu ddungu lya Zini, Lekobu, n'okutuusa w'oyingirira e Kamasi.
22
Ne bambukira mubukiikaddyo obwa ddyo, ne batuuka e Kebbulooni; era abaana ba Anaki: Akimaani, Sesayi, ne Talumaayi baali babeera eyo. Kebbulooni kyali kyakamala emyaka musanvu okuzimbibwa, ne balyoka bazimba ne Zowani ekiri mu Misiri.
23
Abakessi ne batuuka mu kiwonvu e Esukoli, ne batemayo ettabi eryaliko ekirimba kimu eky'ezabbibu, abantu babiri ne bakisitulira ku misituliro, era ne baleetayo ne ku makomamawanga ne ku ttiini.
24
Ekifo ekyo ne kiyitibwa ekiwonvu Esukoli, olw'ekirimba abaana ba Isiraeri kye baatemayo.
25
Awo ne bakomawo nga bamaze okuketta ensi okumala ennaku ana (40).
26
Ne bakomawo eri Musa ne Alooni n'eri ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri, ekyali mu ddungu lye Palani, e Kadesi; ne bababuulira byonna bye baalaba, ne babalaga n'ebibala by'ensi.
27
Ne bababuulira nti, “Twatuuka mu nsi gye watutuma, era mazima ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki; era bino bye bibala byayo.
28
Naye abantu abatuula mu nsi eyo ba maanyi, n'ebibuga byabwe biriko enkomera, binene nnyo: era twalabayo n'abaana ba Anaki.
29
Abamaleki batuula mu nsi ey'obukkiikkaddyo, Abakiiti, Abayebusi, Abamoli, batuula ku nsozi: n'Abakanani batuula kumpi n'ennyanja, ku lubalama lwa Yoludaani.”
30
Kalebu n'asirisa abantu mu maaso ga Musa, n'agamba nti, “Twambuke mangu ago, tugirye; kubanga tuyinziza ddala okugiwangula.”
31
Naye abantu abaayambukira awamu naye ne bagamba nti, “Tetuyinza kwaŋŋaanga bantu abo kubanga batusinza nnyo amaanyi.”
32
Ne basaasaanya mu Baana ba Isiraeri amawulire amabi ag'obulimba agafa ku nsi gye baali bakesse, ne bagamba nti, “ Ensi gye twagenda okuketta, nsi nkalu, etebaza mmere eyinza okumala abantu abagituulamu, n'abantu bonna be twalabayo baali bawagguufu.
33
Era twalabayo Abanefiri, bazzukulu ba Anaki. Tweraba nga tuli basirikitu ng'obwacaaka, era nabo bwe batyo bwe baatulaba.”
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 14 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36