bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Numbers 34
Numbers 34
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 33
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 35 →
1
Mukama n'agamba Musa nti,
2
“Lagira abaana ba Isiraeri obagambe nti, Bwe mulituuka mu nsi y'e Kanani, eyo y'ensi eriba obutaka bwammwe, ensalo zaayo zonna ziriba bwe ziti:
3
ensalo yammwe ey'omu bukiikaddyo eriva ku ddungu ly'e Zini, n'eyita ku nsalo ya Edomu. Ebuvanjuba, ensalo yammwe eyo ey'ebukiikaddyo, eritandikira ku nkomerero y'Ennyanja ey'omunnyo.
4
Ensalo yammwe erikyukira e bukiikaddyo okwolekera ekkubo eryambuka ku Akulabbimu, ne yeyongerayo n'etuuka e Zini, n'etuukira ddala e Kadesubanea, mu bukiikaddyo. Olwo erikyukira e Kazaladali ne yeyongerayo mu Yazimoni.
5
Ensalo erikyuka okuva mu Yazimoni, n'eyolekera omugga gwa Misiri, n'ekoma ku Nnyanja Eyawakati.”
6
“Ensalo yammwe ey'ebugwanjuba, eriba Ennyanja Eyawakati.”
7
“Ensalo yammwe ey'ebukiikakkono eriva ku Nnyanja Eyawakati okwambukira ddala okutuuka ku lusozi Koola.
8
Okuva ku lusozi Koola mulyeyongerayo okutuukira ddala w'oyingirira e Kamasi, era ensalo eryeyongerayo okutuuka ku Zedada.
9
Okuva awo eryeyongerayo okutuuka e Zifuloni n'ekoma ku Kazalenaani; eyo y'eriba ensalo yammwe ey'obukiikakkono.”
10
“Era muliramba ensalo yammwe ey'ebuvanjuba okuva e Kazalenaani okutuuka e Sefamu.
11
Ensalo eyo eriva ku Sefamu n'ekka e Libula, ku ludda lw'ebuvanjuba bwa Yaini, n'ekkirira okutuuka ku lubalama olw'ebuvanjuba lw'ennyanja ey'e Kinneresi.
12
Era ensalo erikka n'etuuka ku Yoludaani, n'enkomerero yaayo eriba ku Nnyanja Ey'omunnyo. Eyo y'eriba ensi yammwe ng'ensalo zaayo bwe ziriba enjuyi zonna.”
13
Musa n'alagira abaana ba Isiraeri ng'ayogera nti, “Eyo ye nsi gye mulisikira nga mukuba obululu, Mukama gy'alagidde okuwa ebika omwenda n'ekitundu,
14
kubanga ekika ky'abaana ba Lewubeeni ng'ennyumba za bakitaabwe bwe ziri, n'ekika ky'abaana ba Gaadi ng'ennyumba za bakitaabwe bwe ziri, n'ekitundu ky'ekika kya Manase baamala okuweebwa obusika bwabwe.
15
Ebika ebyo ebibiri n'ekitundu, byamala dda okuweebwa obutaka obwabyo emitala wa Yoludaani, ku ludda olw'ebuvanjuba, okwolekera Yeriko.”
16
Mukama n'agamba Musa nti,
17
“Gano ge mannya g'abasajja abaligabanyaamu ensi okuba obutaka: Eriyazaali kabona, ne Yoswa mutabani wa Nuuni.
18
Era mulitwala omukulembeze omu okuva mu buli kika, okugabanyaamu ensi.
19
Gano ge mannya g'abasajja: okuva mu kika kya Yuda, Kalebu mutabani wa Yefune;
20
Okuva mu kika kya Simyoni, Semweri mutabani wa Ammikudi;
21
Okuva mu kika kya Benyamini, Eridaadi mutabani wa Kisuloni;
22
Okuva mu kika kya Ddaani, Buki mutabani wa Yoguli.
23
Okuva mu baana ba Yusufu, mu kika kya Manase, Kanieri mutabani wa Efodi;
24
Okuva mu kika kya Efulayimu, Kamweri mutabani wa Sifutani;
25
Okuva mu kika kya Zebbulooni, Erizafani mutabani wa Palunaki.
26
Okuva mu kika kya Isakaali, Palutieri mutabani wa Azani.
27
Okuva mu kika kya Aseri, Akikuda mutabani wa Seromi.
28
Okuva mu kika kya Nafutaali, Pedakeri mutabani wa Ammikudi.”
29
Abo be basajja Mukama be yalagira okugabira abaana ba Isiraeri obutaka mu nsi ya Kanani.
← Chapter 33
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 35 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36