bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Numbers 27
Numbers 27
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 26
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 28 →
1
Awo Maala, Noowa, Kogula, Mirika ne Tiruza, bawala ba Zerofekadi, mutabani wa Keferi, mutabani wa Gireyaadi, mutabani wa Makiri, mutabani wa Manase, abasibuka mu nda ya Manase mutabani wa Yusufu;
2
ne bajja eri Musa ne Eriyazaali kabona, ne mu maaso g'abakulembeze, n'ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri, ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu ne bagamba nti,
3
“Kitaffe yafiira mu ddungu, nga tazadde baana ba bulenzi. Teyali mu kibiina ky'abo abeekuŋŋaanya ne beetaba ne Koola okuwakanya Mukama, wabula ye yafa lwa kibi kye ye.
4
Lwaki erinnya lya kitaffe liggyibwawo okuva mu Isiraeri, lwakubanga teyazaala mwana wa bulenzi? Mutuwe obutaka mu kika kya kitaffe.”
5
Musa n'atwala ensonga yaabwe mu maaso ga Mukama.
6
Mukama n'agamba Musa nti,
7
“Bawala ba Zerofekadi boogera bya nsonga; oteekwa okubawa obutaka mu kika kya kitaabwe, era basikire omugabo gwa kitaabwe.
8
Era onoogamba abaana ba Isiraeri nti, ‘Omusajja bw'anaafanga nga tazadde mwana wa bulenzi, kale muwala we anaasikiranga ebintu bye.
9
Era bw'anaabanga talina mwana wa buwala, kale munaawanga baganda be obusika bwe.
10
Era bw'anaabanga talina ba luganda, kale obusika munaabuwanga baganda ba kitaawe.
11
Era kitaawe bw'anaabanga talina baganda be, kale munaawanga obutaka bwe oyo amuli okumpi mu luganda mu kika kye; Lino linaabanga etteeka Abaisiraeri lye banaakuumanga; nga Nze Mukama bwe nkulagidde ggwe Musa.’ ”
12
Awo Mukama n'agamba Musa nti, “Linnya ku lusozi luno Abalimu, olengere ensi gye mpadde abaana ba Isiraeri.
13
Kale bw'onoomala okugirengera, ofiire eyo nga muganda wo Alooni naye bwe yafa;
14
kubanga mwajeemera ekigambo kyange e Kadesi, mu ddungu Zini, ekibiina ky'abaana ba Isiraeri bwe beemulugunya olw'obutaba na mazzi, ne mutampa kitiibwa.” Ago ge mazzi ag'e Meriba e Kadesi mu ddungu Zini.
15
Awo Musa n'asaba Mukama nti,
16
“Mukama, Katonda, ensibuko y'obulamu, alonde omuntu omulala an'akulembera abantu be,
17
anaabakumakumanga, baleme kuba ng'endiga ezitalina musumba.”
18
Mukama n'agamba Musa nti, “Twala Yoswa mutabani wa Nuuni, omusajja alina omwoyo, omuteekeko omukono gwo;
19
omuyimirize mu maaso ga Eriyazaali kabona ne mu maaso g'ekibiina kyonna; omuteekewo era omukuutire byateekwa okukola mu maaso gaabwe bonna.
20
Era on'omuwa ku buyinza bwo, ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri kimugonderenga. Era onoomuteekako ku kitiibwa kyo, ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri kimuwulirenga.
21
Anaagendanga eri Eriyazaali kabona, ne Eriyazaali anaamubuulizanga Mukama, era Mukama anaamwanukulaga okuyita mu Ulimu; bw'atyo Eriyazaali anaaluŋŋamyanga Yoswa, n'ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri.”
22
Musa n'akola nga Mukama bwe yamulagira. N'atwala Yoswa n'amuyimiriza mu maaso ga Eriyazaali kabona, ne mu maaso g'ekibiina kyonna,
23
n'amuteekako emikono, n'amukuutira, nga Mukama bwe yamulagira.
← Chapter 26
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 28 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36