bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Numbers 21
Numbers 21
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 20
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 22 →
1
Kabaka Omukanani, ow'e Yaladi, ekiri mu bukiikaddyo, n'awulira nga Isiraeri ajjira mu kkubo ery'e Asalimu; n'alwana ne Isiraeri n'awamba abamu ku bo.
2
Isiraeri ne yeeyama obweyamo eri Mukama, n'agamba nti, “Bw'onoogabulira ddala abantu bano mu mukono gwange, ndizikiririza ddala ebibuga byabwe.”
3
Mukama n'awulira eddoboozi lya Isiraeri, n'agabula Abakanani mu mukono gw'Abaisiraeri. Abaisiraeri ne babazikiririza ddala, bo n'ebibuga byabwe. Ekifo ekyo ne kituumibwa erinnya Koluma.
4
Ne basitula okuva ku lusozi Kooli ne bagenda mu kkubo ery'Ennyanja Emmyufu, okwetooloola ensi ya Edomu. Abantu ne beetamwa nnyo olw'olugendo.
5
Abantu ne beemulugunyiza Katonda ne Musa nga bagamba nti, “Lwaki mwatuggya mu Misiri okutuleeta okufiira mu ddungu? Temuli mmere, so temuli mazzi; n'okwetamwa twetamiddwa eky'okulya kino ekyangu.”
6
Mukama n'asindikira abantu emisota egy'obusagwa, ne gibabojja; Abantu bangi ku Baisiraeri ne bafa.
7
Abantu ne bajja eri Musa ne bagamba nti, “Twonoonye kubanga twemulugunyiza Mukama naawe; saba Mukama atuggyeko emisota gino.” Musa n'asabira abantu.
8
Mukama n'agamba Musa nti, “Weekolere omusota ogw'ekikomo, oguteeke ku mulongooti; awo olunaatuuka, buli abojjeddwa bw'anagutunulako, anaawona.”
9
Musa n'akola omusota ogw'ekikomo, n'aguteeka ku mulongooti, awo olwatuuka omusota bwe gwabanga gubozze omuntu yenna, bwe yatunuuliranga omusota ogw'ekikomo, ng'awona.
10
Abaana ba Isiraeri ne batambula ne basiisira mu Obosi.
11
Ne basitula e Obosi ne batambula ne basiisira mu Iyeabalimu, mu ddungu eryolekera Mowaabu, ku luuyi olw'ebuvanjuba.
12
Ne bavaayo, ne batambula, ne basiisira mu kiwonvu kya Zeredi.
13
Ne bavaayo ne batambula ne basiisira emitala w'omugga Alunoni, oguli mu ddungu, ogusibuka mu nsalo y'Abamoli; kubanga Alunoni ye nsalo wakati wa Mowaabu, n'Abamoli.
14
Kyekyava kyogerwa mu Kitabo eky'Entalo za Mukama nti, “Wakebu ekya Sufa N'ebiwonvu bya Alunoni,
15
N'ebikko eby'ebiwonvu Ebiserengetera eri ennyumba za Ali, Era ebyesigama ku nsalo ya Mowaabu.”
16
Ne bavaayo ne batambula ne bagenda e Beeri; olwo lwe luzzi Mukama lwe yabuulirako Musa nti, “Kuŋŋaanya abantu, nange n'abawa amazzi.”
17
Isiraeri n'alyoka ayimba oluyimba luno: “Weesere, ggwe oluzzi; muluyimbire;
18
Oluzzi abakulu lwe baasima, Abakungu b'abantu lwe baayerula, N'omuggo ogw'obwakabaka, n'emiggo gyabwe.” Ne bava mu ddungu ne batambula ne bagenda e Matana:
19
ne basitula e Matana ne bagenda e Nakalieri: ne basitula e Nakalieri ne bagenda e Bamosi:
20
ne basitula e Bamosi ne bagenda mu kiwonvu ekiri ku ttale lya Mowaabu, ku ntikko ya Pisuga, kw'oyima okulengera eddungu.
21
Isiraeri n'atuma ababaka eri Sikoni, kabaka w'Abamoli ng'ayogera nti,
22
“ Tukwegayiridde katuyite mu nsi yo; tetuliyita mu nnimiro newakubadde mu lusuku lw'emizabbibu, so tetulinywa ku mazzi ag'omu nzizi; naye tulitambulira mu luguudo kabaka lw'alitulagira. Tetulikyamira ku mukono ogwa ddyo, newakubadde ogwa kkono, okutuusa lwe tulimalira ddala okuyita mu nsi yo.
23
Sikoni n'ataganya Isiraeri kuyita mu nsi ye; naye n'akuŋŋaanya eggye lye lyonna n'alumba Isiraeri mu ddungu, n'atuuka e Yakazi n'alwana nabo.
24
Isiraeri n'alwana n'amaanyi n'amuwangula n'awamba ensi ye, okuva ku mugga Alunoni okutuuka ku Yabboki, n'okutuusizza ddala ku baana ba Amoni; kubanga ensalo y'Abamoni yali ekuumibwa n'amaanyi.
25
Isiraeri n'atwala ebibuga by'Abamoli byonna, omuli ne Kesuboni, n'obubuga bwonna obwali bukyetoolodde, ne babibeeramu.
26
Kesuboni kye kyali ekibuga ekikulu ekya Sikoni kabaka w'Abamoli, eyali amaze okulwanyisa kabaka wa Mowaabu mu kusooka, n'amuwangula, n'awamba ensi ye yonna, okutuukira ddala ku Mugga Alunoni.
27
Aboogerera mu ngero kyebaava boogera nti, “Mujje e Kesuboni, Ekibuga kya Sikoni kizimbibwe, kinywezebwe:
28
Kubanga omuliro gufulumye mu Kesuboni, Ennimi z'omuliro mu kibuga kya Sikoni: Gwokezza Ali ekya Mowaabu, Abakungu ab'ebifo ebigulumivu ebya Alunoni.
29
Zikusanze, Mowaabu! Mufudde, mmwe abantu ba Kemosi: Agabudde batabani be okuba abadduse, Ne bawala be okuba abasibe, Eri Sikoni kabaka w'Abamoli.
30
Twabasimbako; Kesuboni kyazikirira okutuuka ku Diboni, Era twazisa okutuuka ku Nofa, Ekituuka ku Medeba.”
31
Isiraeri n'atuula bw'atyo mu nsi y'Abamoli.
32
Musa n'atuma okuketta ekibuga Yazeri, n'obubuga obwali bukyetoolodde ne babiwamba, ne bagobamu Abamoli abaalimu.
33
Abaisiraeri ne bakyuka ne bambukira mu kkubo ly'e Basani; Ogi kabaka w'e Basani n'abalumba n'eggye lye lyonna n'abalwanyisiza e Derei.
34
Mukama n'agamba Musa nti, “Tomutya, kubanga mmugabudde mu mukono gwo, n'abantu be bonna, n'ensi ye; era olimukola nga bwe wakola Sikoni kabaka w'Abamoli, eyatuulanga e Kesuboni.”
35
Awo ne batta Ogi ne batabani be, n'abantu be bonna, ne watasigalawo n'omu, ne batwala ensi ye.
← Chapter 20
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 22 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36