bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Numbers 33
Numbers 33
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 32
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 34 →
1
Bino bye bifo Abaisiraeri bye baasiisiramu nga bali mu bibinja byabwe, bwe baava mu nsi y'e Misiri nga bakulemberwa Musa ne Alooni.
2
Musa yawandiikanga, nga Mukama bwe yamulagira, ebifo bye baavangamu okweyongerayo mu lugendo lwabwe. Bino bye bifo bye baayitamu okuva mu kimu okutuuka mu kirala.
3
Abaana ba Isiraeri ne basitula okuva e Lameseesi ku lunaku olw'ekkumi n'ettaano, olw'omwezi ogwolubereberye, lwe lunaku olwaddirira Okuyitako, abaana ba Isiraeri ne bavaayo n'omukono gwa Mukama ogw'amaanyi ng'Abamisiri bonna balaba.
4
Abamisiri baali bakyaziika abaggulanda baabwe bonna, Mukama be yatta mu bo, n'alaga bw'ali ow'obuyiza okusinga bakatonda baabwe.
5
Abaana ba Isiraeri ne basitula okuva e Lameseesi, ne basiisira e Sukkosi.
6
Ne basitula okuva e Sukkosi, ne basiisira e Yesamu, ekiri ku mabbali g'eddungu.
7
Ne basitula okuva e Yesamu ne badda emabega okutuuka e Pikakirosi, ekyolekera Baalizefoni; ne basiisira okwolekera Migudooli.
8
Ne basitula okuva e Kakirosi, ne bayita wakati mu nnyanja ne bayingira mu ddungu; ne batambula olugendo lwa nnaku ssatu mu ddungu ery'e Yesamu, ne basiisira e Maala.
9
Ne basitula okuva e Maala ne batuuka e Erimu. Era mu Erimu waaliwo enzizi z'amazzi kkumi na bbiri (12), n'enkindu nsanvu (70); ne basiisira awo
10
Ne basitula okuva e Erimu, ne basiisira ku Nnyanja Emmyufu.
11
Ne basitula okuva ku Nnyanja Emmyufu, ne basiisira mu ddungu Sini
12
Ne basitula okuva mu ddungu Sini, ne basiisira e Dofuka.
13
Ne basitula okuva e Dofuka, ne basiisira e Yalusi.
14
Ne basitula e Yalusi, ne basiisira e Lefidimu, awataali mazzi bantu ge bayinza kunywa.
15
Ne basitula okuva e Lefidimu, ne basiisira mu ddungu ly'e Sinaayi.
16
Ne basitula okuva mu ddungu ly'e Sinaayi, ne basiisira e Kiberosukataava.
17
Ne basitula okuva e Kiberosukataava, ne basiisira e Kazerosi.
18
Ne basitula okuva e Kazerosi, ne basiisira e Lisuma.
19
Ne basitula okuva e Lisuma, ne basiisira e Limoniperezi.
20
Ne basitula okuva e Limoniperezi, ne basiisira e Libuna.
21
Ne basitula okuva e Libuna, ne basiisira e Lisa.
22
Ne basitula okuva e Lisa, ne basiisira e Kekerasa.
23
Ne basitula okuva e Kekerasa, ne basiisira ku lusozi Seferi.
24
Ne basitula okuva ku lusozi Seferi, ne basiisira e Kalada.
25
Ne basitula okuva e Kalada, ne basiisira e Makerosi.
26
Ne basitula okuva e Makerosi, ne basiisira e Takasi.
27
Ne basitula okuva e Takasi, ne basiisira e Tera.
28
Ne basitula okuva e Tera, ne basiisira e Misuka.
29
Ne basitula okuva e Misuka, ne basiisira e Kasumona.
30
Ne basitula okuva e Kasumona, ne basiisira e Moserosi.
31
Ne basitula okuva e Moserosi, ne basiisira e Beneyakani.
32
Ne basitula okuva e Beneyakani, ne basiisira e Kolukagidugada.
33
Ne basitula okuva e Kolukagidugada, ne basiisira e Yotubasa.
34
Ne basitula okuva e Yotubasa, ne basiisira e Yabulona.
35
Ne basitula okuva e Yabulona, ne basiisira e Ezyonigeba.
36
Ne basitula okuva e Ezyonigeba, ne basiisira mu ddungu lye Zini e Kadesi.
37
Ne basitula okuva e Kadesi, ne basiisira ku lusozi Koola, oluliraanye ensi ya Edomu.
38
Alooni kabona, n'alinnya ku lusozi Koola, nga Mukama bwe yalagira, n'afiira eyo, ku lunaku olusooka mu mwezi ogw'okutaano, ogw'omwaka ogw'ana (40), okuva Abaisiraeri lwe baava mu nsi y'e Misiri.
39
Era Alooni yali awangadde emyaka kikumi mu abiri mu esatu (123), bwe yafiira ku lusozi Koola.
40
Kabaka w'e Kanani eyabeeranga mu Yaladi, mu bukiikaddyo ddyo bw'ensi eyo Kanani, n'awulira nti Abaisiraeri bajja.
41
Ne basitula okuva ku lusozi Koola, ne basiisira e Zalumona.
42
Ne basitula okuva e Zalumona, ne basiisira e Punoni.
43
Ne basitula okuva e Punoni, ne basiisira e Yobosi.
44
Ne basitula okuva e Yobosi, ne basiisira e Iyeabalimu, ekiriraanye Mowaabu.
45
Ne basitula okuva e Iyimu, ne basiisira e Dibonugadi.
46
Ne basitula e Dibonugadi, ne basiisira e Yalumonudibulasaimu.
47
Ne basitula okuva e Yalumonudibulasaimu, ne basiisira ku nsozi za Abalimu, ezoolekera Nebo.
48
Ne basitula okuva ku nsozi ze Abalimu, ne basiisira mu nsenyi ze Mowaabu, ku Yoludaani okwolekera Yeriko.
49
Ne basiisira ku Yoludaani, okuva e Besuyesimosi okutuuka e Yaberisitimu mu nsenyi z'e Mowaabu.
50
Mukama n'agambira Musa mu nsenyi z'e Mowaabu ku Yoludaani okwolekera Yeriko nti,
51
“Yogera n'abaana ba Isiraeri obagambe nti, ‘Bwe mulisomoka Yoludaani ne muyingira mu nsi ya Kanani,
52
mugobangamu abantu bonna be mulisangamu, ne muzikiriza ebifaananyi byabwe ebyole ku mayinja n'ebiweeseddwa, ne musaanyawo n'ebifo byabwe byonna mwe basinziza ba katonda baabwe.
53
Mulyefuga ensi eyo, ne mugibeeramu, kubanga ngibawadde mmwe ebe yammwe.
54
Muligigabana mu bika byammwe ne mu nnyumba za bajjajjammwe, nga mukuba kalulu, abangi nga mubawa ekitundu ky'ensi kinene, n'abatono ne mubawa kitono. Buli muntu akalulu we kalimuwa, we waliba awawe, ng'agabanira mu kika kye.
55
Naye bwe mutalikkiriza kugobamu abo abatuula mu nsi mu maaso gammwe; kale abo be mulirekamu, balibafuukira ng'enfuufu mu maaso gammwe, n'amaggwa agabafumita mu mbiriizi, era banaabatawanyanga mu nsi eyo gye mulibeeramu.
56
Awo olulituuka, nga bwe nnali ndowooza okubakola bo, bwe ntyo bwe ndibakola mmwe.’ ”
← Chapter 32
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 34 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36