bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Numbers 10
Numbers 10
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 11 →
1
Mukama n'agamba Musa nti,
2
“Weeweeseze amakkondeere abiri ga ffeeza; ganaabanga ga kuyita kibiina, era n'okutambuza olusiisira.
3
Era bwe banaagafuuwanga gombi, ekibiina kyonna kinaakuŋŋaaniranga gy'oli ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu.
4
Naye bwe banaafuuwangako erimu lyokka, olwo abakulu b'ebika bya Isiraeri bokka banaakuŋŋaaniranga gy'oli.
5
Era bwe munaagafuuwanga nga musirisaamu, ensiisira eziri ku ludda lw'ebuvanjuba banaatandikanga okutambula.
6
Era bwe munaagafuuwanga nga musirisaamu omulundi ogwokubiri, ensiisira eziri ku luuyi olw'obukiikaddyo zinaatambulanga. Kale banaafuuwanga nga basirisaamu olw'okulagira abantu okutambula.
7
Naye bwe kunaabanga okuyita abantu okukuŋŋaana, munaagafuuwanga naye nga temusirisaamu.
8
Ne batabani ba Alooni, bakabona, banaafuuwanga amakkondeere; era ganaabanga gye muli etteeka eritaliggwaawo mu mirembe gyammwe gyonna.
9
Era bwe munaatabaalanga omulabe abajooga mu nsi yammwe, munaafuuwanga amakkondeere nga mugasirisaamu; era munajjukirwanga mu maaso ga Mukama Katonda wammwe, naye anaabalokolanga okuva eri balabe bammwe.
10
Ku lunaku olw'essanyu lyammwe ne ku mbaga zammwe ezaalagirwa, n'emyezi gyammwe we ginaatandikiranga, munaafuuwanga amakkondeere ago ku biweebwayo byammwe ebyokebwa ne ku ssaddaaka ez'ebyammwe ebiweebwayo olw'emirembe; era ganaabanga gye muli ekijjukizo mu maaso ga Katonda wammwe: nze Mukama Katonda wammwe.
11
“Awo olwatuuka mu mwaka ogwokubiri, mu mwezi ogwokubiri, ku lunaku olw'abiri olw'omwezi, ekire ne kiggibwa kungulu ku Weema ey'obujulirwa.
12
Abaana ba Isiraeri ne basitula ng'ebiramago byabwe bwe byali ne bava mu ddungu lya Sinaayi; ekire ne kiyimirira mu ddungu lya Palani.
13
Ne batandika okutambula ng'ekiragiro kya Mukama bwe kyali kye yalagira Musa.
14
Ebendera ey'olusiisira olw'abaana ba Yuda n'ekulembera, n'esitula ng'eggye lyabwe bwe lyali: n'omukulu w'eggye yali Nakusoni mutabani wa Amminadaabu.
15
N'omukulu w'eggye ly'ekika ky'abaana ba Isakaali yali Nesaneeri mutabani wa Zuwaali.
16
N'omukulu w'eggye ly'ekika ky'abaana ba Zebbulooni yali Eriyaabu mutabani wa Keroni.
17
Eweema n'esimbulibwa; batabani ba Gerusoni ne batabani ba Merali, abagyetikkanga ne batambula.
18
Ebendera y'olusiisira lwa Lewubeeni n'etambula ng'eggye lyabwe bwe lyali: n'omukulu w'eggye yali Erizuuli mutabani wa Sedewuli.
19
N'omukulu w'eggye ly'ekika ky'abaana ba Simyoni yali Serumiyeeri mutabani wa Zulisadaayi.
20
N'omukulu w'eggye ly'ekika ky'abaana ba Gaadi yali Eriyasaafu mutabani wa Deweri.
21
Abakokasi ne beetikkanga ebintu ebitukuvu. We baatuukiranga, basanga nga Weema emaze okusimbibwa.
22
Ebendera ey'olusiisira lw'abaana ba Efulayimu n'esitula ng'eggye lyabwe bwe lyali: omukulu w'eggye yali Erisaama mutabani wa Ammikudi.
23
Omukulu w'eggye ly'ekika ky'abaana ba Manase yali Gamalyeri mutabani wa Pedazuuli.
24
Omukulu w'eggye ly'ekika ky'abaana ba Benyamini yali Abidaani mutabani wa Gidiyooni.
25
Ebendera y'olusiisira lw'abaana ba Ddaani, eyasembangayo mu ensiisira zonna, n'esitula ng'eggye lyabwe bwe lyali: omukulu w'eggye yali Akiyezeeri mutabani wa Amisadaayi.
26
Omukulu w'eggye ly'ekika ky'abaana ba Aseri yali Pagiyeeri mutabani wa Okulaani.
27
N'omukulu w'eggye ly'ekika ky'abaana ba Nafutaali yali Akira mutabani wa Enani.
28
Okwo kwe kwali okutambula kw'abaana ba Isiraeri ng'eggye lyabwe bwe lyali nga batambula.”
29
Awo Musa n'agamba Kobabu mutabani wa Leweri Omumidiyaani, mukoddomi wa Musa, nti Tutambula okugenda mu kifo Mukama kye yayogerako nti Ndikibawa: jjangu tugende ffenna tunakuyisanga bulungi; kubanga Mukama yasuubiza Isiraeri ebirungi.
30
N'amuddamu nti, “Sijja kugenda: naye kanzireyo mu nsi y'ewaffe eri baganda bange.”
31
N'amugamba nti, “Totuleka, nkwegayiridde; kubanga ggwe omanyi bwe tusiisira mu ddungu era ggwe maaso gaffe.
32
Bw'onoogenda naffe, buli kirungi Mukama ky'anaatuwanga naawe on'okigabanangako.”
33
Ne bava ku lusozi lwa Katonda, ne batambula olugendo lwa nnaku ssatu. Essanduuko ey'Endagaano ya Mukama n'ebakulemberamu okubanoonyeza ekifo eky'okusiisiramu.
34
Ekire kya Mukama kyabanga ku bo emisana, bwe baasitulanga okuva mu lusiisira.
35
Awo olwatuukanga essanduuko bwe yasitulwanga Musa n'ayogera nti, “Golokoka, ayi Mukama, abalabe bo basaasaanyizibwe; n'abo abakukyaye badduke mu maaso go.”
36
Era bwe yayimiriranga n'ayogera nti, “Komawo, ayi Mukama, eri emitwalo n'emitwalo gy'Abaisiraeri.”
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 11 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36