bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Numbers 6
Numbers 6
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 7 →
1
Mukama n'ayogera ne Musa nti,
2
“Yogera n'abaana ba Isiraeri, obagambe nti, ‘Omusajja oba omukazi bw'aneeyamanga obweyamo ku bubwe yekka, obw'okwewonga, eri Mukama,
3
taanywenga mwenge oba ekitamiiza ekirala kyonna; era tanywanga ku mazzi g'ezzabbibu, wadde okulya ku zabbibu embisi oba enkalu.
4
Ennaku zonna ez'okwewonga kwe, talyanga kintu ekiva ku muzabbibu, zibeere nsigo newakubadde ebikuta.
5
Ennaku zonna ez'obweyamo bwe obw'okwewonga, taamwebwengako nviiri ze; anaabanga mutukuvu, anaalekanga enviiri ze okukula.
6
Ennaku zonna ez'okwewonga kwe, tasembereranga mulambo gwonna.
7
Teyeefuulanga atali mulongoofu lwa mulambo gwa kitaawe, newakubadde ogwa nnyina, newakubadde ogwa muganda we, newakubadde ogwa mwannyina; kubanga yeewonga ku bubwe yekka eri Katonda.
8
Ennaku zonna ez'okwewonga kwe anaabanga mutukuvu eri Mukama.
9
Singa omutwe gw'omuwonge gufuuka ogutali mulongoofu olw'omuntu afiiridde okumpi naye embagirawo, okwewonga kwe kunaabanga kwonoonese; kale anaalindanga ne wayitawo ennaku musanvu, n'alyoka amwa omutwe gwe, n'addamu okuba omulongoofu.
10
Ku lunaku olw'omunaana anaaleetanga eri kabona enjiibwa bbiri, oba amayiba amato abiri, ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu.
11
Kabona anaawangayo akamu okuba ekiweebwayo olw'ekibi, n'ak'okubiri okuba ekiweebwayo ekyokebwa, n'amutangirira; kubanga yeyonoona olw'abafu, anaddangamu n'atukuza omutwe gwe ku lunaku olwo.
12
Era anaddangamu okwewonga eri Mukama, ng'aleeta omwana gw'endiga omulume ogutannaweza mwaka gumu okuba ekiweebwayo olw'omusango; naye ennaku ziri ezaasooka ez'okwewonga kwe teziibalibwenga, kubanga kwayonooneka.’
13
“Era lino lye tteeka ery'omuwonge: ennaku ez'okwewonga kwe bwe zinaabanga ziweddeko anajjanga ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu,
14
n'awaayo ekiweebwayo kye eri Mukama. Anaawangayo omwana gw'endiga omulume gumu ogutannaweza mwaka era ogutaliiko bulema, okuba ekiweebwayo ekyokebwa, n'omwana gw'endiga omuluusi gumu ogutannaweza mwaka, ogutaliiko bulema okuba ekiweebwayo olw'ekibi, n'endiga ennume emu eteriiko bulema okuba ekiweebwayo olw'emirembe.
15
Era anaawangayo ekibbo eky'emigaati egitazimbulukusiddwa, ebitole eby'obutta obulungi obutabuddwamu amafuta, n'emigaati egy'empewere egitazimbulukusiddwa egisiigibbwako amafuta, n'obutta bwakwo, n'eby'okunywa byakwo ebiweebwayo.
16
Awo kabona anaabyanjulanga mu maaso ga Mukama, n'awaayo ky'awaayo olw'ekibi, n'ekyo ky'awaayo ekyokebwa;
17
n'awaayo endiga ennume okuba ssaddaaka ey'ekiweebwayo eky'emirembe eri Mukama, awamu n'ekibbo eky'emigaati egitazimbulukusiddwa; era kabona anaawangayo obutta bwakwo, n'eby'okunywa byakwo ebiweebwayo.
18
Era omuwonge anaamweranga omutwe gwe ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu, n'addira enviiri ezo, n'aziteeka mu muliro oguli wansi wa ssaddaaka ey'ekiweebwayo eky'emirembe.
19
“Awo kabona anaatwalanga omukono omufumbe ogw'endiga ennume, n'ekitole kimu ekitazimbulukusiddwa ng'akiggya mu kibbo, n'omugaati ogw'empewere gumu ogutazimbulukusiddwa, n'abiteeka mu ngalo z'omuwonge, ng'amaze okumwa omutwe gwe.
20
Awo kabona anaabiwuubawuubanga okuba ekiweebwayo ekiwuubibwawuubibwa mu maaso ga Mukama. Ebyo byayawulirwa kabona, awamu n'ekifuba ekiwuubibwawuubibwa n'ekisambi ekisitulibwa; oluvannyuma omuwonge n'alyoka ayinza okunywa omwenge.
21
Eryo lye tteeka ery'omuwonge eyeeyama obweyamo, n'ekiweebwayo kye ky'awa Mukama olw'okwewonga kwe; obutassaako ebirala byayinza okuwaayo. Ng'obweyamo bwe bw'aneeyamanga bwe bunaabanga, bwe kityo bwe kimugwanira okukola ng'etteeka ery'okwewonga kwe bwe liri.”
22
Mukama n'ayogera ne Musa nti,
23
Yogera ne Alooni ne batabani be obagambe nti bwe muti bwe munaasabiranga omukisa abaana ba Isiraeri; nga mugamba nti,
24
Mukama akuwe omukisa, akukuume;
25
Mukama akwakize amaaso ge, akukwatirwe ekisa;
26
Mukama akuyimusize amaaso ge, akuwe emirembe.
27
Bwe batyo bwe banaateekanga erinnya lyange mu baana ba Isiraeri; nange n'abawanga omukisa.
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 7 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36