bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Numbers 7
Numbers 7
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 8 →
1
Awo olwatuuka ku lunaku Musa lwe yamalirako okusimba Eweema, era ng'amaze okugifukako amafuta n'okugitukuza, n'ebintu byayo byonna, n'ekyoto n'ebintu byakyo byonna, era ng'amaze okubifukako amafuta n'okubitukuza;
2
awo abakulembeze ba Isiraeri, abakulu be nnyumba za bakitaabwe, be baali abakulu b'ebika, era abaafuganga abo abaabalibwa, ne bawaayo:
3
ne baleeta ekiweebwayo kyabwe mu maaso ga Mukama. Amagaali amabikkeko mukaaga, n'ente kkumi na bbiri (12); nga buli bakulembeze babiri baleese eggaali limu ate nga buli mukulembeze aleese ente emu.
4
Mukama n'agamba Musa nti,
5
“bibaggyeeko bibeerenga bya kukola omulimu ogw'okuweereza ogw'omu weema ey'okusisinkanirangamu; era onoobiwa Abaleevi, buli muntu ng'okuweereza kwe bwe kuli.”
6
Musa n'abaggyako amagaali n'ente, n'abiwa Abaleevi.
7
Amagaali abiri n'ente nnya n'abiwa ab'olulyo lwa Gerusoni, ng'okuweereza kwabwe bwe kwali;
8
n'amagaali ana n'ente munaana n'abiwa ab'olulyo lwa Merali, ng'okuweereza kwabwe bwe kwali; wansi w'omukono gwa Isamaali mutabani wa Alooni kabona.
9
Naye ab'olulyo lwa ba Kokasi bo tebaaweebwa; kubanga ebintu ebitukuvu bye baaweebwa okusitula, babisituliranga ku bibegabega byabwe.
10
Awo abakulembeze ne bawaayo olw'okuwonga ekyoto ku lunaku lwe kyafukibwako amafuta; bawaayo ekiweebwayo kyabwe mu maaso g'ekyoto.
11
Mukama n'agamba Musa nti, “Buli mukulembeze anaawangayo ekiweebwayo kye ku lunaku lwe olw'okutukuza ekyoto.”
12
N'oyo eyawaayo ekiweebwayo kye ku lunaku olwolubereberye yali Nakusoni, mutabani wa Amminadaabu, ow'omu kika kya Yuda:
13
n'ekiweebwayo kye kyali: ssowaani emu ya ffeeza, obuzito bwayo sekeri kikumi mu asatu, ekibya kimu ekya ffeeza ekya sekeri nsanvu, nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri; byombi nga bijjudde obutta obulungi obutabuddwamu amafuta okuba ekiweebwayo eky'obutta;
14
ekijiiko kimu ekya zaabu ekya sekeri kkumi, ekijjudde obubaane;
15
ente ennume envubuka emu, endiga ennume emu, omwana gw'endiga omulume gumu oguwezezza omwaka ogumu, okuba ekiweebwayo ekyokebwa;
16
embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi;
17
era okuba ssaddaaka ey'ekiweebwayo eky'emirembe, ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, abaana b'endiga abalume bataano abawezezza omwaka. Ekyo kye kyali ekiweebwayo kya Nakusoni mutabani wa Amminadaabu.
18
Ku lunaku olwokubiri Nesaneeri mutabani wa Zuwaali, omukulu wa Isakaali, n'awaayo.
19
Ekiweebwayo kye kyali: essowaani emu eya ffeeza, obuzito bwayo sekeri kikumi mu asatu (130), ekibya kimu ekya ffeeza ekya sekeri ensanvu (70), nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri; byombi nga bijjudde obutta obulungi obutabuddwamu amafuta okuba ekiweebwayo eky'obutta;
20
ekijiiko kimu ekya zaabu ekya sekeri kkumi (10), ekijjudde obubaane;
21
ente ennume envubuka emu, endiga ennume emu, omwana gw'endiga omulume gumu oguwezezza omwaka, okuba ekiweebwayo ekyokebwa;
22
embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi;
23
era okuba ssaddaaka ey'ekiweebwayo eky'emirembe, ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, abaana b'endiga abalume bataano abawezezza omwaka. Ekyo kye kyali ekiweebwayo kya Nesaneeri mutabani wa Zuwaali.
24
Ku lunaku olwokusatu Eriyaabu mutabani wa Keroni, omukulu w'abaana ba Zebbulooni n'awaayo.
25
Ekiweebwayo kye kyali: ssowaani emu eya ffeeza, obuzito bwayo sekeri kikumi mu asatu (130), ekibya kimu ekya ffeeza ekya sekeri ensanvu (70), nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri; byombi nga bijjudde obutta obulungi obutabuddwamu amafuta okuba ekiweebwayo eky'obutta;
26
ekijiiko kimu ekya zaabu ekya sekeri kkumi (10), ekijjudde obubaane;
27
ente envubuka emu, endiga ennume emu, omwana gw'endiga omulume gumu oguwezezza omwaka, okuba ekiweebwayo ekyokebwa;
28
embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi;
29
era okuba ssaddaaka ey'ekiweebwayo eky'emirembe, ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, abaana b'endiga abalume bataano abawezezza omwaka. Ekyo kye kyali ekiweebwayo kya Eriyaabu mutabani wa Keroni.
30
Ku lunaku olwokuna, Erizuuli mutabani wa Sedewuli, omukulu w'abaana ba Lewubeeni, n'awaayo.
31
Ekiweebwayo kye kyali: ssowaani emu eya ffeeza, obuzito bwayo sekeri kikumi mu asatu (130), ekibya kimu ekya ffeeza ekya sekeri ensanvu (70), nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri; byombi nga bijjudde obutta obulungi obutabuddwamu amafuta okuba ekiweebwayo eky'obutta;
32
ekijiiko kimu ekya zaabu ekya sekeri kkumi (10), ekijjudde obubaane;
33
ente envubuka emu, endiga ennume emu, omwana gw'endiga omulume gumu oguwezezza omwaka, okuba ekiweebwayo ekyokebwa;
34
embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi;
35
era okuba ssaddaaka ey'ekiweebwayo eky'emirembe, ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, abaana b'endiga abalume bataano abawezezza omwaka. Ekyo kye kyali ekitone kya Erizuuli mutabani wa Sedewuli.
36
Ku lunaku olw'okutaano Serumiyeeri mutabani wa Zulisadaayi, omukulu w'abaana ba Simyoni, n'awaayo.
37
Ekiweebwayo kye kyali: ssowaani emu eya ffeeza, obuzito bwayo sekeri kikumi mu asatu (130), ekibya kimu ekya ffeeza ekya sekeri nsanvu (70), nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri; byombi nga bijjudde obutta obulungi obutabuddwamu amafuta okuba ekiweebwayo eky'obutta;
38
ekijiiko kimu ekya zaabu ekya sekeri kkumi (10), ekijjudde obubaane;
39
ente envubuka emu, endiga ennume emu, omwana gw'endiga omulume gumu oguwezezza omwaka, okuba ekiweebwayo ekyokebwa;
40
embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi;
41
n'okuba ssaddaaka ey'ekiweebwayo eky'emirembe, ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, abaana b'endiga abalume bataano abawezezza omwaka. Ekyo kye kyali ekitone kya Serumiyeeri mutabani wa Zulisadaayi.
42
Ku lunaku olw'omukaaga Eriyasaafu mutabani wa Deweri, omukulu w'abaana ba Gaadi, n'awaayo.
43
Ekiweebwayo kye kyali essowaani emu eya ffeeza, obuzito bwayo sekeri kikumi mu asatu (130), ekibya kimu ekya ffeeza ekya sekeri nsanvu (70), nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri; byombi nga bijjudde obutta obulungi obutabuddwamu amafuta okuba ekiweebwayo eky'obutta;
44
ekijiiko kimu ekya zaabu ekya sekeri kkumi (10), ekijjudde obubaane;
45
ente envubuka emu, endiga ennume emu, omwana gw'endiga omulume gumu abawezezza omwaka, okuba ekiweebwayo ekyokebwa;
46
embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi;
47
n'okuba ssaddaaka ey'ekiweebwayo eky'emirembe, ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, abaana b'endiga abalume bataano abawezezza omwaka. Ekyo kye kyali ekiweebwayo kya Eriyasaafu mutabani wa Deweri.
48
Ku lunaku olw'omusanvu Erisaama mutabani wa Ammikudi omukulu w'abaana ba Efulayimu, n'awaayo.
49
Ekiweebwayo kye kyali: essowaani emu eya ffeeza, obuzito bwayo sekeri kikumi mu asatu (130), ekibya kimu ekya ffeeza ekya sekeri nsanvu (70), nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri; byombi nga bijjudde obutta obulungi obutabuddwamu amafuta okuba ekiweebwayo eky'obutta;
50
ekijiiko kimu ekya zaabu ekya sekeri kkumi (10), ekijjudde obubaane;
51
ente envubuka emu, endiga ennume emu, omwana gw'endiga omulume gumu oguwezezza omwaka, okuba ekiweebwayo ekyokebwa;
52
embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi;
53
n'okuba ssaddaaka ey'ekiweebwayo eky'emirembe, ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, abaana b'endiga abalume bataano abawezezza omwaka. Ekyo kye kyali ekitone kya Erisaama mutabani wa Ammikudi.
54
Ku lunaku olw'omunaana Gamalyeri mutabani wa Pedazuuli, omukulu w'abaana ba Manase, n'awaayo.
55
Ekiweebwayo kye kyali essowaani emu eya ffeeza, obuzito bwayo sekeri kikumi mu asatu (130), ekibya kimu ekya ffeeza ekya sekeri nsanvu (70), nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri; byombi nga bijjudde obutta obulungi obutabuddwamu amafuta okuba ekiweebwayo eky'obutta;
56
ekijiiko kimu ekya zaabu ekya sekeri kkumi (10), ekijjudde obubaane;
57
ente envubuka emu, endiga ennume emu, omwana gw'endiga omulume gumu oguwezezza omwaka, okuba ekiweebwayo ekyokebwa;
58
embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi;
59
n'okuba ssaddaaka ey'ekiweebwayo eky'emirembe, ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, abaana b'endiga abalume bataano abawezezza omwaka. Ekyo kye kyali ekitone kya Gamalyeri, mutabani wa Pedazuuli.
60
Ku lunaku olw'omwenda Abidaani mutabani wa Gidiyooni, omukulu w'abaana ba Benyamini, n'awaayo.
61
Ekiweebwayo kye kyali: ssowaani emu eya ffeeza, obuzito bwayo sekeri kikumi mu asatu (130), ekibya kimu ekya ffeeza ekya sekeri nsanvu (70), nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri; byombi nga bijjudde obutta obulungi obutabuddwamu amafuta okuba ekiweebwayo eky'obutta;
62
ekijiiko kimu ekya zaabu ekya sekeri kkumi (10), ekijjudde obubaane;
63
ente envubuka emu, endiga ennume emu, omwana gw'endiga omulume gumu abawezezza mwaka, okuba ekiweebwayo ekyokebwa;
64
embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi;
65
n'okuba ssaddaaka ey'ekiweebwayo eky'emirembe, ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, abaana b'endiga abalume bataano abawezezza omwaka. Ekyo kye kyali ekiweebwayo kya Abidaani mutabani wa Gidiyooni.
66
Ku lunaku olw'ekkumi Akiyezeeri mutabani wa Amisadaayi, omukulu w'abaana ba Ddaani n'awaayo,
67
ekiweebwayo kye kyali essowaani emu eya ffeeza, obuzito bwayo sekeri kikumi mu asatu (130), ekibya kimu ekya ffeeza ekya sekeri nsanvu (70), nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri; byombi nga bijjudde obutta obulungi obutabuddwamu amafuta okuba ekiweebwayo eky'obutta;
68
ekijiiko kimu ekya zaabu ekya sekeri kkumi (10), ekijjudde obubaane;
69
ente envubuka emu, endiga ennume emu, omwana gw'endiga omulume gumu abawezezza omwaka, okuba ekiweebwayo ekyokebwa;
70
embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi;
71
n'okuba ssaddaaka ey'ekiweebwayo eky'emirembe, ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, abaana b'endiga abalume bataano abawezezza omwaka. Ekyo kye kyali ekiweebwayo kya Akiyezeeri mutabani wa Amisadaayi.
72
Ku lunaku olw'ekkumi n'olumu Pagiyeeri mutabani wa Okulaani, omukulu w'abaana ba Aseri, n'awaayo.
73
Ekiweebwayo kye kyali: ssowaani emu eya ffeeza, obuzito bwayo sekeri kikumi mu asatu (130), ekibya kimu ekya ffeeza ekya sekeri nsanvu (70), nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri; byombi nga bijjudde obutta obulungi obutabuddwamu amafuta okuba ekiweebwayo eky'obutta;
74
ekijiiko kimu ekya zaabu ekya sekeri kkumi (10), ekijjudde obubaane;
75
ente envubuka emu, endiga ennume emu, omwana gw'endiga omulume gumu oguwezezza omwaka, okuba ekiweebwayo ekyokebwa;
76
embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi;
77
n'okuba ssaddaaka ey'ekiweebwayo eky'emirembe, ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, abaana b'endiga abalume bataano abawezezza omwaka. Ekyo kye kyali ekiweebwayo kya Pagiyeeri mutabani wa Okulaani.
78
Ku lunaku olw'ekkumi n'ebbiri Akira mutabani wa Enani, omukulu w'abaana ba Nafutaali, n'awaayo.
79
Ekiweebwayo kye kyali: ssowaani emu eya ffeeza, obuzito bwayo sekeri kikumi mu asatu (130), ekibya kimu ekya ffeeza ekya sekeri nsanvu (70), nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri; byombi nga bijjudde obutta obulungi obutabuddwamu amafuta, okuba ekiweebwayo eky'obutta;
80
ekijiiko kimu ekya zaabu ekya sekeri kkumi (10), ekijjudde obubaane;
81
ente envubuka emu, endiga ennume emu, omwana gw'endiga omulume gumu oguwezezza omwaka, okuba ekiweebwayo ekyokebwa;
82
embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi;
83
n'okuba ssaddaaka ey'ekiweebwayo eky'emirembe, ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, abaana b'endiga abalume bataano abawezezza omwaka. Ekyo kye kyali ekiweebwayo kya Akira mutabani wa Enani.
84
Kuno kwe kwali okutukuza ekyoto, ku lunaku kwe kyafukibwako amafuta mu mikono gy'abakulembeze ba Isiraeri: essowaani kkumi na bbiri eza ffeeza, ebibya kkumi na bibiri ebya ffeeza, ebijiiko kkumi na bibiri (12) ebya zaabu;
85
buli ssowaani eya ffeeza sekeri kikumi mu asatu (130), na buli kibya sekeri nsanvu (70); effeeza yonna ey'ebintu sekeri enkumi bbiri mu bina (2,400), nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri;
86
ebijiiko ebya zaabu kkumi na bibiri (12), ebijjudde obubaane, buli kijiiko sekeri kkumi (10), nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri, zaabu yonna ey'omu bijiiko sekeri kikumi mu abiri (120).
87
Ente zonna okuba ekiweebwayo ekyokebwa, kkumi na bbiri endiga ennume kkumi na bbiri (12), abaana b'endiga abalume abawezezza omwaka, kkumi na babiri (12), n'obutta bwabyo obuweebwayo; n'embuzi ennume okuba ekiweebwayo olw'ekibi kkumi na bbiri (12).
88
Ente zonna okuba ssaddaaka ey'ekiweebwayo eky'emirembe abiri mu nnya (24), endiga ennume nkaaga (60), embuzi ennume nkaaga (60), abaana b'endiga abalume abawezezza omwaka nkaaga (60). Okwo kwe kwali okutukuza ekyoto, bwe kyamala okufukibwako amafuta.
89
Awo Musa bwe yayingira mu Weema ey'okusisinkanirangamu okwogera ne Mukama, n'alyoka awulira Eddoboozi nga lyogera naye nga liyima waggulu ku ntebe ey'okusaasira eyali ku ssanduuko ey'obujulirwa, wakati wa bakerubi bombi. Mukama n'ayogera naye.
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 8 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
Recommended Reading
Commentary
Numbers Commentaries
→
Devotional
Numbers Devotional Guide
→
Get This Bible
LBR Study Bible
→