bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Numbers 24
Numbers 24
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 23
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 25 →
1
Awo Balamu bwe yalaba nga Mukama asiimye okuwa Isiraeri omukisa, n'atagenda, kumala kwebuuza nga bwe yakola okusooka, wabula n'ayolekeza amaaso ge eri eddungu.
2
Balamu n'ayimusa amaaso ge, n'alaba Isiraeri nga batudde ng'ebika byabwe bwe biddiriraŋŋana. Omwoyo gwa Katonda ne gumujjako.
3
Balamu n'ayogera obunnabbi buno nti, “Balamu, mutabani wa Byoli, ayogera, Era omusajja alaba obulungi ayogera;
4
Ayogera oyo awulira ebigambo bya Katonda, Ng'atunula n'alaba okwolesebwa kw'Omuyinza w'ebintu byonna.
5
Nti Eweema zo nga nnungi, ggwe Yakobo, Ennyumba zo, ggwe Isiraeri!
6
Zeeyaliiridde ng'ebiwonvu, Ng'ensuku eziri ku lubalama lw'omugga, Ng'emiti egy'omugavu Mukama gye yasimba, Ng'emiti emyerezi egiri ku lubalama lw'amazzi.
7
Banaafunanga enkuba nnyingi, ne basiga ensigo zaabwe mu nnimiro ezifukiriddwa obulungi. Ne kabaka we anaasinganga Agagi ekitiibwa, N'obwakabaka bwe buliba bugazi
8
Katonda eyabaggya mu Misiri; Abalwanirira n'amaanyi ng'embogo. Basaanyizaawo ddala abalabe baabwe, Era bamenyeramenyera ddala amagumba gaabwe, Bazikiriza n'obusaale bwabwe.
9
Eggwanga lya Isiraeri liringa empologoma ey'amaanyi, Nga yeebase teri agyaŋŋanga okugizuukusa. Aweebwenga omukisa buli anaasabiranga Isiraeri omukisa, Era akolimirwenga buli anaakolimiranga Isiraeri.”
10
Awo obusungu bwa Balaki ne bubuubuukira Balamu, n'akuba mu ngalo. Balaki n'agamba Balamu nti, “Nakuyita okukolimira abalabe bange, ate ggwe obasabiridde ddala omukisa emirundi gino gyonsatule.
11
Kale kaakano ddayo ewammwe. Nali nkusuubizza okukukuza obe waakitiibwa nnyo, naye Mukama akuziyizza okuba n'ekitiibwa ekyo.”
12
Balamu n'agamba Balaki nti, “Era nnagamba n'ababaka bo be wantumira nti,
13
ne bwewalimpadde ennyumba yo ng'ejjudde effeeza n'ezaabu, sandivudde ku kigambo kya Mukama, okukola ebirungi newakubadde ebibi, nga nsinziira mu magezi gange nze. Mukama kye yaŋŋambye kye nkoze.
14
Kaakano nzirayo mu bantu bange, naye nga sinnagenda jjangu nkutegeeze abantu bano bye balikola ku bantu bo mu biseera ebijja.”
15
Balamu n'ayogera obunnabbi buno nti, “Balamu, mutabani wa Byoli, ayogera, Era omusajja alaba obulungi ayogera:
16
Oyo awulira ebigambo bya Katonda ayogera. Era amanyi okumanya kw'oyo ali waggulu ennyo, Alaba okwolesebwa kw'Omuyinza w'ebintu byonna, Ng'agwa wansi, n'amaaso ge nga gatunula n'ayolesebwa;
17
Nti Mmulaba, naye si kaakano: Mmutunuulira, naye tandi kumpi: Mu Yakobo muliva emmunyeenye, N'omuggo ogw'obwakabaka guliva mu Isiraeri, Gulikubira ddala ensonda za Mowaabu, Gulisaanyizaawo ddala abaana bonna aba Seezi.
18
Isiraeri alikola eby'obuzira, Aliwangula Edomu ne Seyiri abaali abalabe be N'atuula mu butaka bwabwe.
19
Era mu Yakobo muliva omufuzi, Alisaanyawo abalifikkawo mu kibuga.”
20
Awo Balamu N'atunuulira Amaleki n'ayogera obunnabbi buno nti, “Okusooka Amaleki yali asinga amawanga gonna amaanyi, Naye ku nkomerero alisaanyizibwawo ddala;”
21
Awo Balamu n'atunuulira Omukeeni, n'ayogera obunnabbi buno nti, “Ekifo kye mubeeramu kinywevu, Kiri ng'ekisu ekyekusifu ekyawanikibwa waggulu ku lwazi.
22
Naye Abakeeni mulinyagibwa, Abasuuli balibawamba ne babatwala nga muli basibe.”
23
Era Balamu n'ayogera ebigambo eby'obunnabbi nti, “Zitusanze! Katonda bw'alikola ekyo, ani alisigalawo nga mulamu
24
Naye ebyombo biriva e Kittimu, Biribonereza Asuli ne Eberi, Era naye alizikirizibwa.”
25
Awo Balamu n'asitula n'addayo ewaabwe, ne Balaki naye n'addayo ewuwe.
← Chapter 23
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 25 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36