bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Numbers 11
Numbers 11
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 12 →
1
Abantu ne beemulugunyinyiza Mukama olw'ebizibu ebyabatuukako; Mukama n'abawulira, obusungu bwe ne bubuubuuka; omuliro gwa Mukama ne gwaka mu bo ne gwokya ekitundu ekikomererayo mu lusiisira.
2
Abantu ne bakaabirira Musa; ne Musa n'asaba Mukama, omuliro ne guzikira
3
Ekifo ekyo ne kituumibwa erinnya Tabera; kubanga omuliro gwa Mukama gwa yakira mu bo.
4
Awo ekibiina ky'abannamawanga ekyali mu bo ne batandika okwoya ennyo nga beegomba okulya ku nnyama; n'abaana ba Isiraeri nabo ne beemulugunya nga bagamba nti, “Ani anaatuwa ennyama okulya?
5
Tujjukira ebyennyanja bye twaliiranga obwereere mu Misiri; wujju n'ensujju n'enva n'obutungulu ne katungulu ccumu.
6
Naye kaakano twetamiddwa. Tetulina kya kulya kyonna kirala, wabula emmaanu eno yokka buli lunaku.”
7
Era emmaanu yaliŋŋanga obusigo obutono nga bweruyeru.
8
Abantu ne bagenda ne bagikuŋŋaanya ne bagiseera ku mmengo, oba ne bagisekulira mu binu, ne bagifumba mu ntamu ne bagiggyamu emigaati; n'okuwooma kwayo kwaliŋŋaanga okuwooma kw'emigaati egisiikiddwa mu mafuta.
9
Era omusulo bwe gwagwanga mu lusiisira ekiro, n'emmaanu n'egwiranga wamu nagwo.
10
Musa n'awulira abantu nga beemulugunya, buli omu n'ab'omu maka ge, nga bali ku miryango gy'eweema zaabwe. Mukama n'asunguwala nnyo. Musa n'anakuwala.
11
Awo Musa n'agamba Mukama nti, “Kiki ekikunkozezza obubi bw'otyo, era lwaki tonsasiide, n'okussa n'onzisaako omugugu gw'abantu bano bonna.
12
Nze nnali olubuto lw'abantu bano bonna? Nze nnabazaala, n'okugamba n'oŋŋamba nti, ‘Basitule mu kifuba kyo ng'omulezi w'omwana bw'asitula omwana ayonka, okubatwala mu nsi gye walayirira bajjajjaabwe?’
13
Nze nzigye wa ennyama okugabira abantu bano bonna, abankaabirira nga boogera nti tuwe ennyama tulye?
14
Nze siyinza kusitula bantu bano bonna nzekka, kubanga banzitooweredde nnyo.
15
Oba nga bw'oti bw'ogenda okunkola, nkwegayiridde, nsaasira, onzitire ddala mangu kaakano, nneme kulaba nnaku bwe nti.”
16
Mukama n'agamba Musa nti, “Nkuŋŋaanyiza abasajja nsanvu (70) okuva mu bakadde ba Isiraeri, b'omanyi nga bakulu era abakulembeze abassibwamu ekitiibwa; obaleete ku weema ey'okusisinkanirangamu, bayimirire eyo wamu naawe.
17
Nange nnakka ne njogerera naawe eyo; era n'atoola ku mwoyo oguli ku ggwe, ne nguteeka ku bo; nabo banaasitulanga omugugu gw'abantu awamu naawe, gulemenga kubeera ku ggwe wekka.”
18
Era gamba abantu nti, “Mwetukulize olunaku olw'enkya, era munaalya ennyama kubanga Mukama awulidde okukaaba kwammwe nga mwemulugunya nti ani anaatuwa ennyama okulya? Kubanga mugamba nti twali bulungi mu Misiri; Mukama ky'anaava abawa ennyama ne mulya.
19
Temugiriireko lunaku lumu, oba bbiri, oba ttaano, oba kkumi, wadde abiri;
20
naye mwezi mulamba, okutuusa lw'erifulumira mu nnyindo zammwe, ne muginyiwa; kubanga mugaanyi Mukama ali mu mmwe, ne mukaabira amaziga mu maaso ge nga mwemulugunya nti, ‘twaviiraki e Misiri?’ ”
21
Musa n'agamba nti, “Abantu be ndi nabo, abasajja abatambuza ebigere bawera emitwalo nkaaga (600,000), naye ogambye nti ndibawa ennyama bagiriireko omwezi omulamba!
22
Banaabattiranga endiga n'ente nezibamala? Oba banaabavubiranga ebyennyanja byonna eby'omu nnyanja biryoke bibamale?”
23
Mukama n'agamba Musa nti, “Omukono gwa Mukama guyimpawadde? Kaakano onoolaba oba ng'ekigambo kyange kinaatuukirira gy'oli oba nedda.”
24
Musa n'afuluma n'abuulira abantu ebigambo bya Mukama; n'akuŋŋaanya abasajja nsanvu (70) okuva mu bakadde b'abantu, n'abassaawo okwetooloola Eweema.
25
Mukama n'akkira mu kire n'ayogera naye, n'atoola ku mwoyo ogwali ku Musa; n'aguteeka ku bakadde ensanvu (70) awo olwatuuka omwoyo bwe gwatuula ku bo ne balagula, naye ne balekera awo.
26
Naye ne musigala mu lusiisira abasajja babiri, erinnya ly'omu Eridaadi, n'erinnya ly'omulala Medadi: omwoyo ne gutuula ku bo; era baali ku muwendo gw'abo abaawandiikibwa, naye baali tebafulumye okugenda ku Weema, ne balagulira mu lusiisira.
27
Omulenzi n'adduka n'abuulira Musa, n'agamba nti, “Eridaadi ne Medadi balagulira mu lusiisira.”
28
Yoswa mutabani wa Nuuni, omuweereza wa Musa, omu ku basajja be abalonde n'addamu n'agamba nti, “Mukama wange Musa, bagaane.”
29
Musa n'agamba nti, “Okwatibbwa obuggya olw'ekifo kyange? Nze nnandyagadde wakiri, Mukama abantu bonna abawe Omwoyo gwe, bonna babe bannabbi.”
30
Musa n'abakadde ba Isiraeri ne baddayo mulusiisira.
31
Embuyaga n'eva eri Mukama, n'ereeta enkwale okuva mu nnyanja nga zibuukira mu bugulumivu nga bwa mikono ebiri okuva ku ttaka, n'ezisuula okwetooloola olusiisira, mu bbanga nga lya lugendo lwa lunaku olumu.
32
Abantu ne bagenda ne bazibya olunaku olwo, ne bakeesa obudde, ne bazibya n'olunaku olwaddirira nga bakuŋŋaanya enkwale. Eyakuŋŋaanya entono, yakuŋŋaanya Komeri kkumi; ne bazaanika wonna okwetooloola olusiisira.
33
Ennyama bwe yali ng'ekyali wakati mu mannyo gaabwe, nga tebannaba kugigaaya, obusungu bwa Mukama ne bubuubuuka ku bantu, Mukama n'abasuulamu kawumpuli.
34
Ekifo ekyo ne kituumibwa erinnya Kiberosukataava, kubanga we baaziika abantu abaaluvuwalira ennyama.
35
Abantu ne basitula e Kiberosukataava ne batambula ne bagenda e Kazerosi; ne basiisira eyo.
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 12 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36