bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Numbers 32
Numbers 32
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 31
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 33 →
1
Abaana ba Lewubeeni n'abaana ba Gaadi baalina ensolo nnyingi nnyo ddala. Awo bwe baalaba ensi ya Yazeri, n'ensi ye Gireyaadi nga nnungi okulundiramu ensolo;
2
ebika byombi, ne bigenda eri Musa ne Eriyazaali kabona, n'abakulembeze b'abantu ne babagamba nti,
3
“Atalisi, Diboni, Yazeri, Nimula, Kesuboni, Ereale, Sebamu, Nebo ne Beoni,
4
ensi Mukama gye yawangula mu maaso g'ekibiina kya Isiraeri, nsi nnungi nnyo okulundiramu ensolo, ate naffe abaweereza bo tuli balunzi ba nsolo.”
5
Ne boogera nti, “Tusaba tuweebwe ensi eno okuba obutaka bwaffe, tuleme kusomoka Yoludaani.”
6
Musa n'addamu abaana ba Gaadi n'abaana ba Lewubeeni nti, “Baganda bammwe banaatabaala, mmwe nga musigadde wano?
7
Lwaki mwagala okuterebula baganda bammwe okubalemesa okusomoka okuyingira mu nsi Mukama gye yabawa?
8
Ekyo ne bakitammwe kye baakola, bwe n'atuma abakessi okuva e Kadesubanea okugenda okuketta ensi.
9
Kubanga bwe batuuka mu kiwonvu Esukoli ne baketta ensi; bwe badda Abaisiraeri ne baterebuka.
10
Mukama n'abasunguwalira nnyo ku lunaku olwo, n'alayira ng'agamba nti,
11
‘Mazima tewaliba n'omu ku basajja abaava e Misiri awezezza emyaka abiri (20) n'okusingawo, aliyingira mu nsi gye nnalayirira Ibulayimu, Isaaka ne Yakobo, kubanga tebaneesize,
12
okuggyako Kalebu, mutabani wa Yefune Omukenizi, ne Yoswa mutabani wa Nuuni: kubanga abo baneesigidde ddala.’
13
Mukama n'alyoka abonereza abaana ba Isiraeri n'ababungeeseza mu ddungu okumala emyaka ana (40), okutuusa ab'ezadde eryo lyonna abaakola ebibi, lwe baggweerawo ddala.
14
Nammwe, okufaanana bakitammwe, mwagala okukola ebibi, Mukama asunguwalire Isiraeri nate.
15
Kubanga bwe munaamujeemera, anaabaleka nate omulundi ogwokubiri mu ddungu, nammwe munaaletera abantu bano bonna okuzikirizibwa.”
16
Naye abaana ba Gaadi n'aba Lewubeeni ne baddamu Musa nti, “ Katusooke tuzimbire ensolo zaffe ebiraalo, n'abaana baffe abato ebibuga.
17
Oluvannyuma ffe bennyini tunaakwata eby'okulwanyisa, netukulembera abaana ba Isiraeri, okutuusa lwe tulimala okubayingiza mu butaka bwabwe bo, naye abaana baffe abato basigale mu bibuga ebigumu, ebiriko enkomera, olw'okwerinda abantu ab'omu nsi eno.
18
Tetulikomawo mu nnyumba zaffe, okutuusa abaana ba Isiraeri bwe balimala buli muntu okufuna obutaka bwe.
19
Ffe tetulifuna mugabo emitala wa Yoludaani n'okweyongerayo, kubanga obusika obwaffe tumaze okubufuna eno emitala, ebuvanjuba wa Yoludaani.”
20
Musa n'abagamba nti, “Bwe munaakola nga bwe mwogedde, ne mukwata eby'okulwanyisa mu maaso ga Mukama ne mugenda okutabaala,
21
era buli alina eby'okulwanyisa bw'anasomoka Yoludaani mu maaso ga Mukama okutuusiza ddala Mukama lwaliwangula abalabe be;
22
oluvannyuma ne mulyoka mukomawo, era temulibaako musango eri Mukama, n'eri Isiraeri, olwo ensi eno eneebanga obutaka gye muli mu maaso ga Mukama.
23
Naye bwe mutaakole nga bwe mwogedde, nga mwonoonye Mukama era mutegeerere ddala ng'okwonoona kwammwe kulibayigga.
24
Nga bwe mugambye mugende muzimbire abaana bammwe abato ebibuga, n'ebiraalo olw'ensolo zammwe.”
25
Abaana ba Gaadi n'abaana ba Lewubeeni ne bagamba Musa nti, “Mukama waffe, abaweereza bo banaakolanga bw'olagidde.
26
Abaana baffe abato, bakazi baffe, embuzi zaffe, n'ensolo zaffe zonna binaabeera eyo mu bibuga eby'e Gireyaadi:
27
Naye abaweereza bo banaasomoka, buli musajja nga akutte eby'okulwanyisa bye mu maaso ga Mukama okutabaala, nga ggwe mukama waffe bw'oyogedde.”
28
Awo Musa ebigambo ebyo eby'abaana ba Gaadi n'abaana ba Lewubeeni, n'abiragira Eriyazaali kabona, ne Yoswa mutabani wa Nuuni, n'abakulembeze abalala abakulu b'ebika by'Abaisiraeri.
29
Musa n'abagamba nti, “Abaana ba Gaadi n'abaana ba Lewubeeni bwe balisomoka Yoludaani awamu nammwe, buli musajja ng'akutte eby'okulwanyisa bye mu maaso ga Mukama, ne muwangula ensi; kale mulibawa ensi y'e Gireyaadi okuba obutaka bwabwe.
30
Naye bwe batalikkiriza kusomoka wamu nammwe nga bakutte eby'okulwanyisa, obutaka bwabwe buliba wamu n'obwammwe mu nsi ya Kanani.”
31
Abaana ba Gaadi n'abaana ba Lewubeeni ne baddamu nti, “Nga Mukama bw'agambye abaddu bo, bwe tutyo bwe tunaakola.
32
Tunaasomoka nga tukutte eby'okulwanyisa mu maaso ga Mukama okuyingira mu nsi ya Kanani okulwana, naye obutaka bwaffe bulibeera eno ebuvanjuba bwa Yoludaani.”
33
Musa n'awa abaana ba Gaadi n'abaana ba Lewubeeni, n'ekitundu ky'ekika kya Manase, mutabani wa Yusufu, obwakabaka obwali obwa Sikoni, kabaka w'Abamoli, n'obwali obwakabaka bwa Ogi, kabaka w'e Basani, ensi n'ebibuga byamu nga bwe byali, n'ebitundu ebyetoolodde wo.
34
Abaana ba Gaadi ne bazimba ebibuga ebiriko enkomera: Diboni, Atalosi, Aloweri;
35
Aterosisofani, Yazeri ne Yogubeka;
36
ne Besunimira ne Besukalaani; ne bazimba n'ebisibo by'endiga.
37
Abaana ba Lewubeeni ne bazimba Kesuboni, Ereale ne Kiriyasayimu;
38
Nebo, ne Baalumyoni, nga bakyusizza amannya gaabyo. Ne bazimba ne Sibima. Ebibuga ebyo bye baazimba, ne babituuma amannya amalala.
39
Abaana ba Makiri mutabani wa Manase ne bagenda e Gireyaadi, ne balwanyisa Abamoli abakirimu, bo ne batuula omwo.
40
Musa n'awa Makiri mutabani wa Manase ensi eya Gireyaadi; n'abeera omwo.
41
Yayiri mutabani wa Manase, n'agenda n'alumba ebimu ku byalo by'Abamoli n'abiyita Kavosuyayiri.
42
Noba n'alumba Kenasi, n'ebyalo byakyo, n'akituuma Noba, ng'erinnya lye ye bwe lyali.
← Chapter 31
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 33 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
Recommended Reading
Commentary
Numbers Commentaries
→
Devotional
Numbers Devotional Guide
→
Get This Bible
LBR Study Bible
→